TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obukodyo abayaaye bwe bakozesa okutengula emitima gy’abawala

Obukodyo abayaaye bwe bakozesa okutengula emitima gy’abawala

By Musasi wa Bukedde

Added 1st August 2017

ABASAJJA ab’amazima batono. Eno y’enjogera n’endowooza abawala abakyanoonya ababeezi gye balina.

Badboy 703x422

Omuvubuka

ABASAJJA ab’amazima batono. Eno y’enjogera n’endowooza abawala abakyanoonya ababeezi gye balina.

Kino kivuddeko abawala abamu okusigala ku mudaala olw’okutya okugwa mu mitawaana.

Wabula wadde omulyammamba abeera omu n’avumaganya ekika kyonna, kino tekisaanye kumalamu bawala abato abakyanoonya ababeezi essuubi.

Buno bwe bukodyo abasajja abayaaye bwe bakozesa okutengula emitima gy’abawala bwe balina okwegendereza;

1.Bakulembeza nnyo ssente; Omukwano gwandibadde tegugulwa, kyokka bo abavubuka abalina ebigenderwa ebyabwe gamba nga okukwabula n’okunyaga abawala kye basinga okukozesa. Alaga omuwala ssente era mukazi wattu naye olw’okuba alabye ku ssente talwa ng’asumulira sikaati era olufuna ky’agala ng’adduka.

2. Bakozesa akakodyo k’okusuubiza ebintu ebinene. Abavubuka abayaaye balimba nnyo abawala nga babasuubiza ebintu ebinene ng’emmotoka, amayumba naye ng’ekigenderwa kuba kukuggyako bibyo agende. Kale omuntu ow’ekika kino bw’omusanga mwegendereze.

3. Okwambala eby’ebbeeyi Wadde nga sibuli ayambala eby’ebbeeyi nti muyaaye naye n’abavubuka abayaaye kino bakikola nnyo okusobola okutengula abawala, era olumala okukozesa ng’akusuulawo.

4.Bakozesa akakodyo k’okwanjula ‘eηηanda zaabwe’ mu bwangu. Abavubuka bakimanyi nti omuwala bw’omulaga abeηηanda zo akutwala nti oli wa mazima. Bano olumu aba amanyi n’okubakubira ku ssimu, ogenda okukiteegera nga yali akulimba ng’oli lubuto.

5.Akakodyo kokwekebeza omusaayi Omuwala ky’alina okumaya nti si buli muyaaye nti mulwadde, kati n’abavubuka oba abasajja abumu abayaaye bakimanyi nti omuwala ali siriyaasi asookera ku kwebeza musaayi era olukufuna akusabirawo mukikole kuba ye aba akimanyi nti mulamu.

Ate abamu aba yasasudde dda ssente gye bakeberera bakulimbe nti mulamu era wano ekiddirira kuba kukukozesa kubanga naawe omwesize.

6.Beefuula abakola ennyo. Abavubuka bano buli lw’omusisinkana akulaga nga bw’alina ebyokukola era obudde bwo aba na butono nga tayagala kumumanya nnyo. Ekiddirira omuwala ng’amweyabiza n’okumuwa ebibye olubikombako ng’adduka.

7. Beefuula abeηηanda z’abantu abalina amanya amanene. Okugeza asobola okweyita mutabani wa minisita oba wa mmemba wa palamenti sinakindi okweyita mu ganda w’omuyimbi owerinnya era olw’okuba mukaziwattu weegomba okufuuka omunene weekanga olugudemu ng’akukwabuddeko ebibyo.

8. Okukyusa amannya. Abavubuka abamu bamanyi okweyita amannya g’abanene naddala abo abatabatera kweraga mu lujjudde okusobola okukkirizisa omuwala nti ddala omuntu gwaliko mutuufu.

9.Tebatera kutwala bawala waka waabwe. Ebiseera ebisinga omuyaaye akutwala wa mukwano gwe oba mu loogi kubanga aba amanyi nti akwagalako byakiyaaye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam