TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nakuba omuwala baze gwe yaleeta awaka

Nakuba omuwala baze gwe yaleeta awaka

By Musasi wa Bukedde

Added 4th August 2017

BANNANGE kyandibadde kirungi omuntu obuteerabira munno gw’ovudde naye ewala kubanga y’abeera amanyi ebiwonvu n’ebikko bye mubeera muyiseemu so nga gw’obeera waakafuna abeera tayinza kubimanya.

Ma 703x422

Amannya nze Josephine Namutebi nga mbeera Gayaza ku kyalo Gita. Nasisinkana baze ku kyalo Gita ne tusalawo tutandike obufumbo era ne tukkiriziganya okubeera ffenna.

Mu kutandika baze yanjagala era nga buli atulaba atwegomba. Wabula kye saategeera mu kiseera ekyo nti yali anjagaza kajanja.

Olw’omukwano omungi gwe twalina nnalaba ng’omusajja ono y’asaanidde okubeera taata w’abaana bange era tewaayita bbanga ddene ne nfuna olubuto ne nzaala omwana eyasooka.

Mbeera nkyali awo ne nzaala owookubiri n’owookusatu ne tubeera basanyufu.

Naye okumanya abasajja si bangu baze eyali anjagala okuzaama yatuuka n’afuna abakazi abalala ekyavaako kumpi okunneerabira era yajooga nze n’adda ne mu kati ne yeewogoma.

Ekiseera kyatuuka ng’abawala b’ayagala abaleeta mu nnyumba yange nga siriiwo nga ηηenze ku mulimu.

Ekikwasa ensonyi n’obusungu nti yasindanga omukwano n’abakazi bano ng’abaana baffe weebali awaka.

Wabula nga mbitegedde nasooka ne nsirika naye nagenda okulaba nga kafuuse kamanyiiro kubanga yali abaleese emirundi egisoba mu esatu.

Lumu naddayo awaka ng’aleese omuwala ayitibwa Shamim nga bali mu nnyumba basinda omukwano.

Nnayingira ne nkwata omuwala ono ne mukuba nga bwe mukomekkereza okukomya okusigula basajja ba banne.

Bwe namala okumukuba nagenda ne muwaabira ku poliisi era ne bamulabula obutaddamu kwetantala kulinnya mu maka gange.

Ekirala ekinnuma baze, abaana abange abakozesa emirimu egy’okukuba bbulooka wabula bwe batuuka okufuna ssente tabawa, zonna azimalira mu bakazi be nga n’okubawa ebyetaago by’essomero zibeera nkalu.

Ekizibu ekirala kye nafuna kye kya nnyina w’omusajja okweyingiza mu by’amaka gaffe kuba buli kadde abeera aperereza mutabani we okutunda amaka gaffe. Mpulira njagala atwesonyiwe n’amaka gaffe agaleke mu mirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi