TOP
  • Home
  • Ssenga
  • EBINTU 14 EBIBUZA ESSANYU MU MAKA ENSANGI ZINO

EBINTU 14 EBIBUZA ESSANYU MU MAKA ENSANGI ZINO

By Musasi wa Bukedde

Added 8th August 2017

Obwavu bwa bulabe nnyo mu bafumbo era omuntu omwavu tasoboka kuba aba n’obusungu olw’ebintu ebingi by’aba alowoozaako naye nga tasobola kubikolako.

Luyi1 703x422

Omukyala ng’akutte munne ettaayi. Obusambattuko nga buno mu maka bumalawo essanyu mu bufumbo. Ebirala ebimalawo essanyu mu maka, Laba P14 ne 15.

OMWAMI n’omukyala bwe basiimagana  bakola amaka era ne bafuuka  omuntu omu.

Naye ebiseera  bingi gye biggweera ng’essanyu  eryaliwo mu luberyeberye lyafuuka  lufumo.

 Olwo ng’eyayitanga munne  amannya g’olusuusuuto amweyitira,  ‘Ono, Oli, Kitammwe,  Nnyammwe, n’amalala agataliimu  wadde ddoozi ya laavu.

Essanyu  bwe libula mu maka ebintu bingi  ebikyuka.  

Bw’otuukako mu bifo abafumbo  gye batera okutwala ensonga  zaabwe okubaluηηamya oyinza  okwewuunya kuba buli lunaku wabaawo  abaleeta ensonga zaabwe  ezibamazeeko essanyu.

 baagalana abafunye obutakkaanya luusi embeera eno ebuza essanyu mu maka ne gasaanawo Abaagalana abafunye obutakkaanya. Oluusi embeera eno ebuza essanyu mu maka ne gasaanawo.

 

 Ebimu ku bisinga okumalawo  essanyu mu maka mulimu;

1 Obwavu. Obwavu bwa  bulabe nnyo mu  bafumbo era omuntu  omwavu tasoboka  kuba aba n’obusungu  olw’ebintu ebingi  by’aba alowoozaako  naye nga tasobola  kubikolako.

Kino  kivaako ab’ewuwe  okuba mu nnaku  nga n’emirundi mingi  abakulu n’abakulu babeera mu  kuyomba.

Obwavu bukosa nnyo  omuntu eyalina ku ssente ne ziggwaawo  okusinga oyo atabeerangako  nazo.

2 Obugagga. Abasajja abamu  baagala nnyo bakyala baabwe  mu biseera nga tebalina ssente,  wabula oluusi ate ssente bwe zijja  mu maka ate ne zifuuka ensibuko  y’ennaku mu maka.

Okugeza  omusajja bw’aba  abadde mu bwavu  ne mukazi we  nga bakwatagana,  omusajja bw’afuna  ssente olwo  ng’omukazi atandika  kumutunuulira  kyamuli, ng’olwo  anoonyaayo abayidde  entumbwe  b’aba ayagala okulya  nabo ssente.

 

 

Kino era kye bibaawo  ne ku bakazi.  Omukazi abadde  omwavu bw’afuna  ssente n’aziwulira  olwo ng’atandika  okulengezza bba  kuba aba alaba  ng’atakyamusaana.  Olwo essanyu  liyinza okubukala  mu maka ag’ekika  ekyo?

3 Endwadde  naddala siriimu.  Emirundi mingi  abafumbo ssinga  omu afuna obulwadde  ng’omulala  tabulina kireetera  omu okukyawa  munne kuba  bw’aba mukyala  nga y’abulina  omwami tasobola  kumwesiga ate  era ssinga omwami  y’abufuna  n’omukyala taddamu  kumwesiga.

 Ekiddirira kuba  kusika muguwa  era gye biggweera  oluusi nga  baawudde ebisenge  olwo ng’essanyu  libulira ddala.

4 Omwenge  ne sigala. Abantu  abamu basanga  oba basiimagana ne  bannaabwe nga balina  ebintu bye batakozesa gamba nga  omwenge  naye oluvannyuma omu n’aguyiga  ate ne weesanga nga bw’aba  musajja obuvunaanyibwa abusudde  ekiddirira kuba kutandika  ntalo era gye biggweera essanyu  mu bufumbo wamu n’amaka liba  terikyasobola kubaawo.

5 Enjawukana mu ddiini. Mu  kusiimagana abantu abamu batera  okukkiriziganya omu okukyuka  okudda mu ddiini ya munne  oba buli omu okusigala mu yiye,  wabula oluusi wabaawo obukwakkulizo  obutasobola kwewalika  nga kino ebiseera ebisinga kibuza  enkwatagana mu maka.

6 Obutaba na mmizi. Ssinga  omu ku bafumbo taba na mmizi  oluusi kireetawo obuzibu kubanga  ebigambo gye bikoma okusaasaana  bisobola okubakosa n’ekivaamu  oluusi kutabuka.

7 Eηηanda n’emikwano. Ensangi zino abantu abatubeera  okumpi naddala abeηηanda  n’emikwano oluusi beenyigira  butereevu mu bufumbo oluusi  ekireetawo obuzibu, naddala bwe  baba tebaagaliza bufumbo obwo  okubeerawo. Bano basobola  okubatabula essanyu ne liggwa mu  maka gammwe.

8 Okweraguza. Kino kisinga  kubeera mu bakazi. Ssinga agenda  mu basawo ne bamubuulira ebitasanyusa  ku bba, oluusi kireetawo  ennyiike mu mutima gwe. Sso nga  n’omusajja bw’amanya nti omukazi  yeeraguza ate nga takolagana  nabyo, kyangu obufumbo okuggweerawo  ddala.  

9 Obutakulaakulana.  Enkulaakulana  kasita  ebula mu maka  essanyu  libaamu ttono.  Oluusi okukulaakulana  tekugaana lwa  butabaawo ssente, wabula kiva mu  buteesigaηηana nga teri ayagala  kutoola ku ssente ze okubaako  ekikolebwa. Amaka ag’ekika kino  tegabaamu ssanyu.

10 Enjawulo mu myaka.  Oluusi omu bw’aba asinga nnyo ku  munne mu myaka, essanyu liyinza  okubula mu maka, kuba buli omu  abeera alowooza bibye, ate nga  n’ebireeta essanyu oluusi byawukana  okusinziira ku myaka.

Okugeza  omusajja bw’aba wa myaka 60  n’awasa omuwala ow’emyaka 26,  omuwala ebimuwa essanyu biba  birala nnyo ku kisanyusa omusajja.

11 Obuteesigaηηana. Obufumbo  bwe bujjamu omu okwekengera  munne mu nsonga yonna, essanyu  lifuuka lufumo kubanga kizibu  okusanyukira omuntu gw’oteesiga  oba gw’olinako akabuuza.

12 Obwenzi. Buno bwe  buyingira mu nnyumba nga  buyita mu luggi, essanyu lufulumira  mu ddirisa. Teri musajja oba  mukyala ayagala kutunula wadde  okumanya omuntu gw’agabana  naye omwagalwa we. Ekizibu nti  ensangi zino abasajja n’abakazi  basindana mu bwenzi. Amaka agali  mu mbeera eno kizibu okubaamu  essanyu.  

13 Obubbi. Nazzikuno  ng’omuntu tasobola kubba munne  gwe bagatta naye ekitanda. Naye  ensangi zino owulira abasajja abasooba  ne babba ssente mu nsawo  za bakazi baabwe, ssaako abakazi  abayaza mu ngoye z’abaami  baabwe ne babbamu ssente.

14 Omusajja obuteesobola  mu nsonga z’omu kisenge.  Omukyala yenna ng’oggyeeko  emmere gy’alya aba yeetaaga  okusanyusibwa mu kisenge. Ssinga  kino kimulema olw’amaanyi okukendeera  kyangu okuba ensibuko  y’obusambattuko mu maka era  essanyu ne liggweerawo ddala.


Rev. Enock Musasizi
 ow’ekkanisa ya All Saints e Lukaya  mu Kalungu alaze bwati ebivaako  abaagalana okutabuka ensangi  zino:   

  • Ensangi zino naffe bannaddiini  abamu tetukyafaayo nnyo  kulondoola bafumbo okuzuula  oba nga waliwo ebitatambula  bulungi mu maka gaabwe, so nga  bangi beetaaga okubudaabudibwa  olubeerera. Olumala okubagatta  tetufaayo kumanya biki biddirira,  ekyo no kyetaaga okukyusa kubanga  kati sitaani yeegiriisa nnyo mu  baagalana.  
  • Obwavu bwe buyitirira mu  maka nagwo mutawaana gwennyini.  Buli omwami lw’abulwa  ensimbi ezigula ebimu ku byetaago  ebibeezaawo amaka, okuteesa  kutuuka ekiseera ne kuggwaawo  ekiddirira kuba kuyombanga buli  kiseera.  
  • Abakyala ennaku zino  abasinga bafumbirwa bintu so si  kwagala munne nga bwe kyalinga  edda, ky’ova olaba omukyala  olubaza nti awezezza ebbanga  eggere mu bufumbo, atandika  okwesuulamu akambaayaaya  afune w’ayawukanira n’omusajja  nti bagabane ebintu.
  • Obwenzi mu maka ku  njuyi zombi efuuse emmanduso  y’okutabula amaka. Omukyala  bw’amanya nti bba ayenda abasinga  abeera ayagala naye kwesasuza  ekivaako obutawaηηana  kitiibwa, omu bw’alaba takyasobola  kugumiikiriza mbeera bwetyo  ng’asibamu ebyanguwa olwo  ng’obufumbo buggweerawo ddala.  
 ev usaasizi Rev. Musaasizi

 

Rev. Musasizi agamba nti okumalawo  embeera eno, abafumbo  kirungi bakole bino;

1 Katonda n’eddiini tebisaana  kubula mu baagalana kubanga bubeera bulabe  bwennyini.  Noolwekyo, abafumbo  kirungi beekwate ku nnono za  Katonda ng’ekyawandiikibwa  mu Bayibuli, ekitabo kya  Engero 5:15-18 bwe kigamba  nti; “..Onyweranga amazzi mu  kidiba kyo ggwe, n’amazzi  gakulukutenga mu luzzi lwo,  gabeererenga ddala gago so  ssi ga bagenyi,era sanyukiranga  omukazi w’obuvubuka  bwo”.

2 Abaagalana mwewale  okuvuganya  n’okwegeraageranya ku  balala naddala ababasingako,  ate si mu ssente zokka  wabula n’endabika, oluusi  kivaako okuwankawanka  eno neeri nakyo ekitabula  amaka, so ng’omwami kyangu  okufuula munno ky’oyagala  abeere kasita obeera  ng’omukkiririzaamu.

Florence Nakato akola ku  nsonga z’amaka ku poliisi  y’e Nakulabye agamba nti  buli lunaku bafuna emisango  gy’abaagalana abasoowaganye  mingi era nga gyetooloolera  ku kukyawagana,  obwenzi, obutalabirira maka  n’ebiringa ebyo.

Nakato agamba nti okukendeeza  ku bizibu ebimalawo  essanyu mu maka, abantu  bandisazewo okutandika  amaka nga beetegese okukolera  awamu okusobola  okulwanyisa enkyukakyuka  yonna eyinza okugezaako  okumalawo essanyu wakati  waabwe.

Nakato era awa abafumbo  amagezi okwewala ebigambo,  ate bwe baba bafunye obutakkaanya  bagezeeko okulaba  nga baddukira mangu  eri abasobola okubatuuza  ne bagonjoola ensonga nga  tezinnagenda wala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako