TOP

Ensobi za munno toziraalaasa

By Musasi wa Bukedde

Added 8th August 2017

ENSONGA z’obufumbo zitambulira nnyo ku kubeera n’emmizi. Bwekityo bwe munyiigagana ne mukyala wo fuba nnyo okulaba ng’abaana tebategeera kiriwo.

Gossip1 703x422

Abaana nga banyumirwa emboozi yaabwe

ENSONGA z’obufumbo zitambulira nnyo ku kubeera n’emmizi. Bwekityo bwe munyiigagana ne mukyala wo fuba nnyo okulaba ng’abaana tebategeera kiriwo.

Ne bwe bayingira mu kisenge nga mubadde muyomba, waakiri mubunire oba ggwe fuluma.

Kubanga abaana bwe bamanya nti bazadde baabwe batabuse, kibakosa.

Era ebyo ebivumo by’ovuma maama waabwe nga bawulira nabyo bibakosa. Ate oluusi tomanya ddi lwe balibikuddiza; olwo amaka galyoke gaake omuliro!

Kino kizingiramu obutalaalaasa nsonga z’amaka gammwe. Waliwo abasajja abalina akamwa ako.

Ng’ekibadde mu maka ge akiraalaasa mu bantu bangi. Kino kyonoona kubanga mu b’ogamba mwe muli abajja okukuwa amagezi amakyamu, kubanga bonna tebayinza kuba nga babaagaliza obufumbo obulungi.

Ate n’ekirala mukyalawo omumalamu ekitiibwa ng’ogenze omulonkoma ku buli nsobi eba ebaddewo.

Ate nno oluusi nga muba muwaayiriza, nga mmwe abasajja mwe muba abakyamu kyokka ne mugenda nga mwagala okwerungiya ne mutegeeza nga bakyala bammwe bwe bali ababi.

Amaka gye gakoma okubaamu abawi b’amagezi nga bangi tegatera kutereera.

Kubanga mu abo abakubuulirira, mubaamu ababa baagala okugazimbulula.

Noolwekyo abasajja abalina enkola eno mulondeemu abantu be munyumya nabo. eby’omunda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...