TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebirungi ebiri mu mukazi okutyaba enku ne ziwera

Ebirungi ebiri mu mukazi okutyaba enku ne ziwera

By Musasi wa Bukedde

Added 8th August 2017

OKUTYABA enku mu Buganda kalombolombo akatadibizibwa. Omuwala bw’aweza emyaka 11, Ssenga atandika okumuwunda mu ngeri y’omukazi Omuganda entuufu ng’amutwala mu kibira okutyaba enku.

Nku1 703x422

Abawala nga bava okutyaba enku. Emirundi egisinga abawala bwe baagendanga okutyaba enku nga gye bakolera n’akalombolombo k’okukyalira ensiko.

OKUTYABA enku mu Buganda kalombolombo akatadibizibwa. Omuwala bw’aweza emyaka 11, Ssenga atandika okumuwunda mu ngeri y’omukazi Omuganda entuufu ng’amutwala mu kibira okutyaba enku.

Okutyaba enku ne ziwera weetaaga eddagala ettuufu wamu n’obunyiikivu. Ssinga omuwala aba anyiikidde asobola okutyabira wiiki bbiri ne bawera, wabula ng’abeera alina okuba nga tayosa.

OMUGASO GW’ABALONGO

  • Bayamba omukyala okukuuma ebbugumu mu bukyala munne n’amutuukako ng’abuguma bulungi.
  • Batwalibwa nga kyakuzannyisa ky’abasajja nga mwesanyusa, kubanga b’akonkonako ng’agenda okutandika emikolo. Ate era bayamba omusajja bw’aba anoonya munne okusobola okufuna obwagazi kuba balina ennyonyoogeze ez’amaanyi eziyamba omukazi okufuna amangu obwagazi.
  • Baweesa omukyala ekitiibwa naddala bw’asanga omusajja amanyi omugaso gwabwe, era kiba kizibu okwegatta mwembi ne mutanyumirwa.

Omulimu gw’okutyaba enku guteekeddwa kukola omuwala yennyini oba omukazi mpozzi ne ssenga we.

Era edda abawala bwe baagendanga ne bassenga baabwe ku mikolo egy’ekika kino, beewalanga nnyo abalenzi okubagoberera.

 

Eno y’ensonga lwaki omusajja ssinga afuna omuwala nga teyagendako wa ssenga Nabikande, ekituufu kyandibadde kya kumuzzaayo ewa ssenga we ow’ensonga n’asooka amaliriza ensonga ezo, okusinga omusajja okuzeekolerako.

Bw’aba tamuzzizza waabwe, waakiri ayinza okumutwala ewa bassenga abali mu bibuga ennaku zino abayamba abakazi okukyalira ensiko ne bamukolako bulungi n’atereera.

Ate omukyala eyatwala obudde n’akyalira ensiko era n’enku ne ziwera bulungi, ssinga afuna omusajja atalaba makulu mu nsonga zino, kirungi mwewale obukodyo obubaggyayo ennyo okwewala okumukanga.

Wabula ate osobola okumuyigiriza engeri gy’asobola okubeeyambisa okukuyamba okufuna obwagazi.

Bw’aba akwagalira ddala ajja kufaayo okuyiga okusobola okukusanyusa.

Ssenga Mellane Namatovu ow’e Wakaliga agamba nti kituufu ensonga y’abalongo ekyatwalibwa nga nkulu ddala naddala wano mu Buganda, lwakuba oluusi abawala tebakyabanguya nnyo kukola mikolo gino, kubanga abamu baba bali mu bisulo.

Agattako nti ekirala n’abatali Baganda nabo baatandika okukola emikolo gino oluvannyuma lw’okukizuula nti omukyala bw’atyaba enku kirina engeri gye kimuyamba okufuna obwagazi, n’okukuuma ebbugumu mu bitundu bino.

Bino byonna biyamba okunyumisa omukwano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako