TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omuwala yannemesa okumukubira essimu

Omuwala yannemesa okumukubira essimu

By Musasi wa Bukedde

Added 8th August 2017

Mbadde naye okumala ekiseera, naye essimu yange ‘yagi blockinga’ era ne bwe nkuba simufuna.

Simu2 703x422

NNINA emyaka 25 omuwala  gwe njagala wa myaka 28.  Mbadde naye okumala  ekiseera, naye essimu yange  ‘yagi blockinga’ era ne bwe  nkuba simufuna.

Ekirala  omuwala ono alina abaana  babiri naye bwe namugamba  nti sisobola kulabirira  baana ba musajja mulala  ate ng’omusajja ono waali,  n’akyuka mu mpisa.

Ssenga  nkoze ntya omuwala ono  mmwagala.  

OKUSOOKEERA ddala  omuwala oba omuntu  yenna okuku ‘blockinga’ ku  ssimu kitegeeza nti tayagala  kukuwuliza.

Jjukira nti  ono ye muntu gw’oyagala  era ng’obadde osuubira  kubeera naye. Omuwala  ono takwagala y’ensonga  lwaki takyayagala kukuwuliza.

 Ayagala okukuwuliza  ng’alina ky’akwagalako.

Ekirala  omuwala ono akusinga  ndowooza ayagala olabirire  abaana be.

Era ennaku  zino abawala bangi baagala  abasajja okulabirira abaana  baabwe. Naye ne weebuuza  nti oba omusajja gyali lwaki  talabirira baana be naddala  ennaku zino kubanga  akasente kafuuse akasente.  

Sigaanyi omusajja oba omukazi  ayinza okusalawo okulabirira  omwana atali wuwe,  naye kino kirungi okukikola  ng’oyagala. Kubanga oluusi  bwe weeteekako obuvunaanyizibwa  obwo manya  nti tebugenda kukuvaako  okutuusa ng’omwana akuze.  

Ekirala olina okwebuuza  ddala ggwe tolina bantu bo  b’osobola kuteekamu ssente  ezo. Kubanga owuwo asigala  wuwo. Omuwala omwagala  naye ayagala kukukozesa era  mwesonyiwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.