TOP

Nkole ntya okukomya okwemazisa?

By Musasi wa Bukedde

Added 8th August 2017

Nnina ekizibu ky’okwemazisa ng’olunaku nnyinza okukikola emirundi ebiri.

Newsengalogob 703x422

NZE George, mbeera Masaka. Nnina ekizibu ky’okwemazisa ng’olunaku nnyinza okukikola emirundi ebiri. Ekizibu nti oluusi obusajja bunnuma, olowooza tekindeetere ebizibu? Nkole ntya?

George lwaki tofuga bwagazi? Kirabika obwongo tobufuga bulungi. Obusajja bulina okukuluma kubanga buli kiseera obutawaanya nga weemazisa.

Kati ku mbeera gy’olina weetaaga obuyambi. Olina okwogeramu n’omukugu ku nsonga eno. Ekintu kyonna ssinga kiyitirira kifuuka ekizibu gy’oli.

Omuze guno guleeta obukodo anti bw’ofuna omukyala osigala weerowoozaako wekka, bwe mutuuka okwegatta weesanga nga buli kiseera tomumatiza anti omanyidde okubeera obwomu nga weesanyusa wekka.

Ekirala bw’okyemanyiiza otandika obutafa ku mukyala wo. Kale omuze guno gusobola okukuttira amaka, era olina okuguvaako.

Naye olina okumanya nti ky’oteeka mu bwongo ky’ofuna kale naawe wasalawo okuteeka mu bwongo ebirowoozo bino.

Kuba 0772455645 oba 0772458823 ofune obuyambi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....