TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okweraga amapenzi lwe kwesittaza abalala

Okweraga amapenzi lwe kwesittaza abalala

By Musasi wa Bukedde

Added 8th August 2017

OMUKWANO bwe gubeera gwakatandika naddala mu bavubuka, bakola ebintu bingi ate ebivaako okusammuliza abalala.

Penzi1 703x422

Bano baasangiddwamu kifo ekisanyukirwa e Kavumba nga beeraga amapenzi.

OMUKWANO bwe gubeera gwakatandika naddala mu bavubuka, bakola ebintu bingi ate ebivaako okusammuliza abalala. Mubaamu oluusi ebyesittaza naddala nga babikoledde mu lujjudde ekireetala ababalabye okuboogerako.

1 Okwenywegera mu bantu: Abavubuka abamu bwe bagwa mu mukwano naddala nga gwakatandika bamanyi okwenywegera mu bantu nga baagala okweraga amapenzi. Kino bwe kikolebwa mu lujjude ababalaba batandika okwesooza n’okubageya nga baboogerako ng’abakalaba. Kino kikola bubi naddala nga waliwo abaana.

2 Okwerera mu bantu: Abavubuka abamu bwe babeera mu mukwano nga gwakatandika bamanyi okwerera nga tebafuddeyo ku balala ababalaba. Okwerera kutera okuwerekerwa okwemoola, okwekwatirira olwo ababalaba ne babalumba okwekoza ng’abaakalaba.

3 Okweweweetera mu bantu: Waliwo abaagalana abeeraga omukwano mu lujjudde ne bayita we bandikomye naddala nga baakeefuna. Ate waliwo n’abawala bamanyi okukola ebintu nga balumya bannaabwe nga bayita mu kuweweeta abalenzi baabwe mu ngeri esoomooza. Kino kitera okunyiiza abalala ababalaba.

4 Okwogera mu ngeri y’okusinda. Abavubuka abamu okulaga bannaabwe nti babafa bitole, batera okwogera mu ngeri y’okusinda ng’abali mu buliri. Kino kitera kukolebwa bawala okulaga abalenzi baabwe nti balina omukwano mungi gye bali.

5 Okwekwatirira mu bitundu byekyama. Abavubuka abamu ensangi zino tebakyalina nsonyi nga bakola bibanyumira. Mulimu abatakwatibwa nsonyi kwekwatirira mu bitundu ebyekyama bwe baba mu lujjudde ate olwo mmwe ababalaba ne mufa ekitiibwa.

6 Okweriisa mu lujjudde. Wadde ng’ekikolwa ky’okweriisa kiringa ekya bulijo abaagalana abasinga tebamanya budde na kifo we balina okweragira omukwano mu ngeri y’okweriisa. Okugeza abamu bamanyi okugula ebyokulya mu takisi ne batandika okweriisa nga ne basaabaze bannaabwe babatunuulidde ekiddirira kubasunga.

7 Okwambala enkunamyo mu bantu b’obuvunaanyizibwa. Abawala abasinga tebafa nnyo ku nnyambala yaabwe naddala nga bagenda mu bantu b’obuvunaanyizibwa okugeza; waliwo abawala lwe bambala busikaati obumpi ne bagenda ku mikolo oba obubaga olwo ne beegiriisa n’abaagalwa baabwe ate ne kitalabika bulungi eri abalala.

8 Amannya ge mukozesa mu bantu. Waliwo abaagalana abassa akajanja mu laavu olwo ne beeyita amannya agawulikika obulala mu bantu abaliwo. Waliwo abatijja nga beeyita Swiiti bbebi, kawoomera n’ebirala.

9 Okwekwata mu kiwato. Abaagalana abamu ng’omukwano gukyabasaza mu kabu batera okutambula nga beekutte mu kiwato ekitera okubeera eky’ensonyi naddala nga waliwo abaana oba abantu abakulu. Abawala abamu bakikola kulumya balala.

EBIRAGA OMUKWANO NE BITEESITTAZA BALALA

1 Osobola okumuwa ‘haga’. Abaagalana nga muli mu bantu osobola okuwa munno akafuba ng’oliko ky’omusiima okukukolera oba nga wakamulaba. Kino tekirina nnyo bwe kyesittaza babalaba kuba kyabulijo ne bw’abeera mugandawo asobola okukuwa ‘haga’ era tekirina we kinyiiriza babalaba.

2 Osobola okumukwata ku mukono ne mutambula. Abagalana nga muli mu bantu osobola okukwata munno ku mukono ne mutambula. Kiba kirabika ng’ekya bulijjo era wano ababalaba bayinza obutakifaako kuba tekyesittaza.

3 Osobola okukwatirako omwami wo ku kkooti ye. Omukyala nga muli n’omwami mutambula naddala mu budde bw’ebbugumu omwami wo mukwatireko ekkooti ye mutambule.

Ekikolwa kino kiraga omukwano n’okufaayo kwolina eri omwagalwa wo era n’ababalaba tewali we kibeesittaliza. Florence Nakato omukugu mu nsonga z’amaka agamba nti tekyandibadde kibi okulaga munno omukwano nga bw’osobola kuba buli muntu kimukakatako okukikola naye n’ekifo we mweragidde omukwano nakyo kikulu.

Omukwano gwokweraga gusobola obuteesittaza bantu ssinga mubeera mu bifo nga nabyo bibeeramu abantu abekikula ng’ekyammwe okugeza nga ku bbiiki oba ennyanja, mu kirabu ne ku biz

alt=''

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

OMUKWANO bwe gubeera
gwakatandika naddala mu bavubuka,
bakola ebintu bingi ate
ebivaako okusammuliza abalala.
Mubaamu oluusi ebyesittaza
naddala nga babikoledde mu
lujjudde ekireetala ababalabye
okuboogerako.
1 Okwenywegera mu bantu:
Abavubuka abamu bwe bagwa
mu mukwano naddala nga
gwakatandika bamanyi okwenywegera
mu bantu nga baagala
okweraga amapenzi. Kino bwe
kikolebwa mu lujjude ababalaba
batandika okwesooza
n’okubageya nga baboogerako
ng’abakalaba. Kino kikola bubi
naddala nga waliwo abaana.
2 Okwerera mu bantu:
Abavubuka abamu bwe babeera
mu mukwano nga gwakatandika
bamanyi okwerera nga tebafuddeyo
ku balala ababalaba.
Okwerera kutera okuwerekerwa
okwemoola, okwekwatirira
olwo ababalaba ne babalumba
okwekoza ng’abaakalaba.
3 Okweweweetera mu bantu:
Waliwo abaagalana abeeraga
omukwano mu lujjudde ne
bayita we bandikomye naddala
nga baakeefuna. Ate waliwo
n’abawala bamanyi okukola
ebintu nga balumya bannaabwe nga bayita mu kuweweeta abalenzi
baabwe
mu ngeri
esoomooza.
Kino kitera
okunyiiza
abalala
ababalaba.
4 Okwogera
mu ngeri
y’okusinda.
Abavubuka
abamu okulaga
bannaabwe
nti
babafa bitole,
batera
okwogera
mu ngeri
y’okusinda
ng’abali
mu buliri.
Kino kitera
kukolebwa
bawala
okulaga
abalenzi
baabwe
nti balina
omukwano
mungi gye bali.
5 Okwekwatirira mu bitundu
byekyama. Abavubuka abamu
ensangi zino tebakyalina nsonyi
nga bakola bibanyumira. Mulimu
abatakwatibwa nsonyi kwekwatirira
mu bitundu ebyekyama bwe
baba mu lujjudde ate olwo mmwe
ababalaba ne mufa ekitiibwa.
6 Okweriisa mu lujjudde.
Wadde ng’ekikolwa ky’okweriisa
kiringa ekya bulijo abaagalana
abasinga tebamanya budde
na kifo we balina okweragira
omukwano mu ngeri y’okweriisa.
Okugeza abamu bamanyi
okugula ebyokulya mu takisi
ne batandika okweriisa nga ne
basaabaze bannaabwe babatunuulidde
ekiddirira kubasunga.
7 Okwambala enkunamyo
mu bantu b’obuvunaanyizibwa.
Abawala abasinga tebafa nnyo
ku nnyambala yaabwe naddala
nga bagenda mu bantu
b’obuvunaanyizibwa okugeza;
waliwo abawala lwe bambala
busikaati obumpi ne bagenda ku
mikolo oba obubaga olwo ne beegiriisa
n’abaagalwa baabwe ate
ne kitalabika bulungi eri abalala.
8 Amannya ge mukozesa
mu bantu. Waliwo abaagalana
abassa akajanja mu laavu olwo
ne beeyita amannya agawulikika
obulala mu bantu abaliwo.
Waliwo abatijja nga beeyita Swiiti
bbebi, kawoomera n’ebirala.
9 Okwekwata mu kiwato.
Abaagalana abamu
ng’omukwano gukyabasaza mu
kabu batera okutambula nga beekutte
mu kiwato ekitera okubeera
eky’ensonyi naddala nga waliwo
abaana oba abantu abakulu.
Abawala abamu bakikola kulumya
balala.
EBIRAGA OMUKWANO
NE BITEESITTAZA BALALA
1 Osobola okumuwa ‘haga’.
Abaagalana nga muli mu bantu
osobola okuwa munno akafuba
ng’oliko ky’omusiima okukukolera
oba nga wakamulaba.
Kino tekirina nnyo bwe kyesittaza
babalaba kuba kyabulijo ne
bw’abeera mugandawo asobola
okukuwa ‘haga’ era tekirina we
kinyiiriza babalaba.
2 Osobola okumukwata
ku mukono ne mutambula.
Abagalana nga muli mu bantu
osobola okukwata munno ku
mukono ne mutambula. Kiba
kirabika ng’ekya bulijjo era wano
ababalaba bayinza obutakifaako
kuba tekyesittaza.
3 Osobola okukwatirako omwami
wo ku kkooti ye. Omukyala
nga muli n’omwami mutambula
naddala mu budde bw’ebbugumu
omwami wo mukwatireko ekkooti
ye mutambule. Ekikolwa kino
kiraga omukwano n’okufaayo
kwolina eri omwagalwa wo era
n’ababalaba tewali we kibeesittaliza.
Florence Nakato omukugu
mu nsonga z’amaka agamba
nti tekyandibadde kibi okulaga
munno omukwano nga
bw’osobola kuba buli muntu
kimukakatako okukikola naye
n’ekifo we mweragidde omukwano
nakyo kikulu. Omukwano
gwokweraga gusobola obuteesittaza
bantu ssinga mubeera mu
bifo nga nabyo bibeeramu abantu
abekikula ng’ekyammwe okugeza
nga ku bbiiki oba ennyanja, mu
kirabu ne ku biz

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...