TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Baze bwe yafuna omulimu n’ansuulawo

Baze bwe yafuna omulimu n’ansuulawo

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2017

Baze bwe yafuna omulimu ogw’obuvunaanyizibwa yasalawo kunsuulawo nga yeekwasa nti sikyali kiraasi ye.

Pala1 703x422

Nze Milly Nakalyowa, mbeera Mpereerwe. Baze namufumbirwa nkyali wa myaka 15.

Kino kyaddirira okunfunyisa lubuto n’anzigya mu ssomero oluvannyuma lwa bakadde bange be nnali mbeera nabo okungoba awaka.

Entandikwa y’obufumbo bwaffe yali nnungi kuba twali tukwatagana mu nsonga ezisinga obungi. Baze yali musuubuzi wa mmwaanyi nga tubeera naye mu maka gaffe agasangibwa e Nazigo Bugerere.

Yali musajja mukulu ng’emirimu egisinga agikolera mu kitundu gye twali tubeera n’okuliraanawo.

Olw’okuba nnali nkyali muwala muto omusajja yatandika okweyisa nga bwalaba, olumu ng’andaga abakazi bakwana ekyatuleetera okutabuka n’entalo ezitatadde.

Obufumbo bwaffe bwali butambulira mu mbeera ey’okuyuugayuuga olw’embeera z’omusajja ze yali ataddewo.

Ebyenfuna bya bazze byatuuka ekiseera ne bisannyalala oluvannyuma lw’emwaanyi okukendeera mu kitundu.

Oluvannyuma twatuula naye ne muwa ekirowoozo agende mu Kampala asobole okunoonya omulimu ogusobola okumuwa ku ssente eziwerako kuba twali tumaze okufunayo ku zzadde.

Ekirowoozo kyange yakisanyukira era n’ankakasa nga bwe yali agenda okukola buli kimu ekisoboka okulaba nga tubeera bulungi.

Wabula omwami wange bwe yamala okufuna omulimu teyaddayo kuntegeera nti ndi mukazi we n’eby’okumpeereza obuyambi mu kyalo n’abikomya.

Obuvunaanyizibwa bwonna yabusuulawo n’abundekera. Ekyannyamba nnali nnima n’okulunda nga nfuna mu ku ssente ezannyamba okulabirira abaana bange.

Abaana bandwaliriranga olutatadde naye nga bwe mutumira abantu ng’abasaba bantegeeze nga bwe batandabyeeko.

Ekiseera ekyo nali sirina ssimu naye nga ne bwemba nfunye omukisa okumukubira essimu nga bwategeera nti nze mukubidde ng’agifuula bbize.

Twamala emyaka egiwera nga tutambulira mu mbeera bwetyo okutuusa bwe natendewalira ne nsalawo okuviira omusajja mu makaage okudda ewaffe.

Wabula kigambibwa nti ekiseera kyonna baze kyamaze e Kampala abakazi azze abakyusa nga ngoye.

Nagezaako okukola kyonna ekisoboka okulaba ng’obufumbo bwaffe bubeera bulungi naye omusajja nannemesa nga kirabika yali yankoowa takyanjagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.

Blackcouplefightrelationshipsadangryunhappye1471357042435690450crop80 220x290

‘Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba’...

ABAKAZI emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Easy 220x290

Ebireetedde abaagalana okutya okusiba...

OMUWENDO gw’abaagalana abatya okukola embaga gulinnye ebitundu 60 ku buli kikumi okuva mu 2002 okutuuka kati.

Napolivsliverpool1 220x290

Liverpool ne Napoli zeewulira amaanyi...

Ancelotti, atendeka Napoli agamba nti Liverpool temutiisa.

Nagiriinya1nu 220x290

Eyaliko yaaya wa Nagirinya bamukutte...

ABEEBYOKWERINDA bongedde amaanyi mu kunoonyereza ku batemu abaawamba oluvannyuma ne batta omuwala Maria Nagirinya....