TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyasooka okuganza maama w’abaana yadda n’amuntwalako

Eyasooka okuganza maama w’abaana yadda n’amuntwalako

By Musasi wa Bukedde

Added 15th August 2017

Yamukyaza ku Ssande era n’ansangawo, wabula okuva olwo omusajja yatandika okunjooga ekiyitiridde.

Kakembo1 703x422

Kakembo

NZE Steven Kakembo 51, mbeera Nakawuka mu Wakiso. Bwe nnaweza emyaka 30 nasisinkana mwana muwala ne twagalana.

Omuwala ono yalina emyaka 21 era n’ankakasa nti yali ayagala musajja amusinga ku myaka nga nze, kuba gwe yasooka okuganza baali benkana emyaka era kye kyabaawukanya.

Twayagalana ne tuzaala n’abaana bataano n’antwala ne mu bazadde be n’annyanjula. Wabula mu bbanga eryo yali ankakasa nti tamanyi bikwata ku muganzi we gwe yasooka okwagala.

Wabula wano jjuuzi mu 2015, mukyala wange yali agenzeeko mu Kampala gye yasanga eyali muganzi we n’amuwa essimu ye. Bwe yakomawo yakingamba kuba yali amanyi sirina kwekengera kwonna era nange saakitwala bubi.

Wabula omusajja ono yatandika okukubira mwana muwala essimu buli kiseera okuzibya obudde ng’amubuuza ne bye simubuuza nga bba.

Yamubuuzanga bwe yasuze, bw’asiibye, bye yalidde ssaako abaana.

Bwenalaba ng’asusse kwe kugamba mukazi wange akomye okukwata essimu ze wabula yanziramu nti oli mukwano gwe sirina kweraliikirira.

Lumu nagenda okulaba nga maama w’abaana akyaza omusajja ono awaka era n’aηηamba nti yali amusabye ajje andabeko nga bwe nfaanana.

Yamukyaza ku Ssande era n’ansangawo, wabula okuva olwo omusajja yatandika okunjooga ekiyitiridde.

Yatandika okuleetera abaana bange obulabolabo nga obumotoka ne ddole, ssaako engoye nga maama w’abaama awoza kimu nti abaagala bwagazi naye tewali kiriwo wakati waabwe n’eyali muganzi we.

Oluvannyuma lw’akaseera katono munnange yeesonsaako akantu katono n’anoba naye nange saafaayo kumunoonya kubanga we yatuukira okugenda nga nange mu mutima mpulira mukooye.

Yagenda n’omwana eyali asembayo obuto olwo abakulu n’abandekera.

Wabula waliwo eyaηηamba nti yabalabako e Nansana mu kafo akamu ng’ali n’omusajja oyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa Bobi Wine luli mu...

POLIISI eyiye abaserikale baayo mu Ndeeba okuziyiza olukiiko lwa Bobi Wine lw’ategeseeyo olwaleero; okwebuuza ku...

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere