TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebbugumu owolubuto ly’aba nalyo limufuula wa njawulo...’

Ebbugumu owolubuto ly’aba nalyo limufuula wa njawulo...’

By Musasi wa Bukedde

Added 15th August 2017

ABASAJJA abamu munne bw’afuna olubuto olwo ng’ebyokwegatta naye abiwummula, sso ng’ate abalala ebeera mmanduso y’obwagazi eri mukazi we.

Bbuto 703x422

Omusajja ng’awuliriza bbebi ali mu lubuto.

ABASAJJA abamu munne bw’afuna olubuto olwo ng’ebyokwegatta naye abiwummula, sso ng’ate abalala ebeera mmanduso y’obwagazi eri mukazi we. Waliwo n’abasajja abeegomba okwegatta n’abakazi b’embuto wadde teziba zaabwe.

Bano bagamba nti akaboozi k’onyumizza n’omukazi w’olubuto kaba ka njawulo kubanga;

1 Omukyala bw’aba olubuto aba n’ebbugumu lingi mu mubiri ate guba muweweevu era bwe mwegatta toyinza butafuna katuuyo.

2 Omukyala bw’afuna olubuto omubiri gutandika okunyirira, olususu ne lulongooka, enviiri ne zinyirira, amabeere gagejja ne gaguma. Bino byonna byongera okusikiriza omusajja.

3 Abakyala abamu baba n’obwagazi bungi nga bali mbuto, y’ensonga lwaki abamu batuuka n’okugendako ebbali naddala nga basajja baabwe babasuddewo.

4 Akaboozi ak’ekika kino tekatera kubaamu maanyi mangi engeri omukyala gy’abeera omuzito. Kino kyongera abaagalana okunyumirwa kuba tewaba kupakuka.

5 Ku baagalana abakozesa kondomu okwewala embuto, mu kiseeera omukazi w’abeerera olubuto, olwo ebintu babirya nga teri kweraliikirira oba anaamufunyisa olubuto olulala.

6 Abakyala bwe baba embuto bafaayo ku buyonjo kubanga ne bwe bagenda okunywa eddagala babakuutira okuba abayonjo. Kino kyongera okusikiriza omwami we okwegatta ennyo naye.

7.Abasajja oluusi beegatta ne bakyala baabwe nga bali mbuto olw’okutya nti osanga bwe bataakikole, omukyala ayinza okugenda ebbali ate n’asobya omwana.

8 Waliwo abakikola nga bagamba nti y’emu ku ngeri gye basobola okukwatagana n’abaana nga bakyali mu lubuto ne batuuka okuzaalibwa nga babamanyi era nga balina omukwano gye bali.

MUKOMA DDI OKWEGATTA

Okusinziira ku musawo Liz Mutesi akolera ku ddwaaliro e Kawaala, omusajja kirungi okwegatta ne mukyala we ali olubuto okuva nga lwa myezi esatu okutuusa lw’azaala, kasita baba nga bawulira tebalina ngeri yonna gye bakosebwamu.

SITAYIRO EZIKOZESEBWA

Mutesi agamba nti okusinziira ku buzito n’embeera omukyala ono gy’abeeramu kiba kirungi abaagalana ne bakozesa obukodyo obuteetaagisa maanyi mangi kubanga akazannyo kano kalina kuba ka kimpoowooze okusobola obutakosa mwana ali mu lubuto, n’okwewala omukyala okukoowa ennyo.

Wabula agamba nti waliwo abasawo lwe balabula abakyala b’embuto obuteegatta, okugeza;

Ssinga omukyala bamusiba akaweta ku mumwa gwa nnabaana takkirizibwa kwegatta kubanga ekifo ekyo tekyetaaga binywa kweta ne kwemiima kuba kiyinza okuleeta ebisa ng’omwana tannatuuka.

 Ssinga kizuulibwa ne kikakasibwa abasawo nti ekisawo ekirimu omwana kyatuula ku mumwa gwa nnabaana omukyala oyo aba tateekeddwa kwegatta.

 Omukyala bw’aba amanyiddwa okuzaala abaana abatannatuuka oyo naye takkirizibwa kwegatta na musajja ng’ali lubuto kubanga kiyinza okukosa omwana ali mu lubuto n’afuluma nga tannatuusa.

EBIRUNGI BY’OWOLUBUTO OKWEGATTA

1 Okwegatta n’omukyala ng’ali lubuto tekikoma ku mukyala kunyumirwa kw’oka wabula abeera akola dduyiro ekiyamba okukuuma omubiri gwe nga mulamu bulungi.

2 Kyongera okussaawo enkolagana wakati w’abaagalana era omukyala w’atuukira okuzaala nga bbebi bombi bamwesunga.

3 Kirina engeri gye kiyamba ku mukyala obutalwawo kuzaala naddala ng’omwana atuuse kubanga ekkubo liba liggule bulungi.

4 Kiyamba okulongoosa entambula y’omusaayi mu mubiri gw’omukyala kubanga mu biseera by’akaboozi ebirowoozo by’omukyala biba wamu n’atafuna puleesa.

Ssenga Margaret Nakate: Okusinziira ku basajja abamu, abakyala b’embuto baba n’ebbufgumu nga y’ensonga lwaki baba baagala okwegatta nabo.

Edith Nakangu: Abasajja nze ndowooza banyumirwa nnyo omukwano guno lwa nsonga nti abakyala mu biseera by’embuto abasinga baba bayonjo. Patrick Ndawula: Nze ndowooza nti abasajja abamu baba baagala kufuna mukwano gwa baana ababeera munda mu lubuto ate nga n’abamu baba bategeera omugaso gwakyo

Vincent Ssempala: Ekituufu kiri nti abakyala b’embuto baba bamanyi okweyonja nga ne bwe muba mukikola ebintu obirya n’omutima gumu nga tolina kye weekengera.

Abembuto baba bayonjo 5 Kyongera omukwano wakati w’abaagalana kubanga omukyala amanya nti omusajja we talinaayo balala.

Ssinga omusajja azira mukyala we owolubuto kiyinza okumukosa mu bwongo kuba aba yeeraba ng’atakyasaanira.                                                  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...