TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omuwala lw’akaluubirirwa okweyabiza munne amangu

Omuwala lw’akaluubirirwa okweyabiza munne amangu

By Musasi wa Bukedde

Added 15th August 2017

ABAWALA babeera mu mukwano naye nga bakyetegereza baganzi baabwe.

Yabiza1 703x422

Abawala abamu bamanyi okutambula ne mikwano gyabwe bwe baba badigida ne baganzi baabwe.

ABAWALA babeera mu mukwano naye nga bakyetegereza baganzi baabwe.

Abalala ne babeera n’abasajja nga baagala kubaggyamu ssente okukola ku byetaago byabwe.

Ab’engeri eno batera okwekwasa obusongasonga oba okubuzaabuza ne balwawo okwegatta ne baganzi baabwe oba okubalemeseza ddala.

Okwegatta kibeera kisuubirwa oba nga tekyewalika mu mukwano naddala ng’ abaagalana bali mu kifo ekibasobozesa okukkirira e Namboole.

Wabula abawala abamu basobola okussaawo embeera eremesa omusajja ayagala okwegatta naye ng’akozesa obukodyo buno.

1 Okwambala engoye ezibakwata oba ennyingi: Omuwala bw’aba agenda ew’omusajja ng’alina ky’amwagalako naye nga tayagala kwegatta naye atera okwambala engoye ezimukwata ng’omusajja tasobola na kufuna mukisa kusoobya ngalo kumuweeweeta mu bifo ebireeta obwagazi.

Omuwala abeera mumalirivu nti omusajja talina w’amuyita kumusendasenda kwegatta naye.

2 Okutambula ne mikwano gye: Abasajja abasinga batya okwegatta n’omuwala nga waliwo omuntu omulala mu nnyumba.

Omuwala bw’aba tayagala yeegatte na musajja, okutambula ne mikwano gye abeera akikozesa ng’akakodyo okulemesa muganzi we okusinda naye omukwano.

Omusajja bw’agezaako okulemerako ng’amujuliza nga bwe bajja okuswala mu maaso ga mikwano gyabwe. Beewala okutuula ku buliri.

Abawala bwe baba beewala okwegatta na baganzi baabwe tebetantala kutuula ku buliri nga bakyaddeyo kuba baba bawulira ng’abagwa mu katego okugenda mu kikolwa ky’okwegatta.

3 Bafuna essimu ez’okumukumu: Abawala abamu bwe babeera bagenda mu baganzi baabwe nga tebaagala kwegatta nabo kyokka ng’oluusi balina kye babaagaza, beekobaana ne bannaabwe ne babakubira amasimu buli kiseera nga kibeera kizibu ate okutandika okumuzza mu by’okwegatta.

Essimu bagikozesa ng’akakodyo akakuggya ku mulamwa gw’okwegatta. Abamu beefuula be beetaaga oba nga waliwo munnaabwe afunye ekizibu.

4 Okugenda mu nsonga. Abawala bamanyi nti abasajja tebaagala kuwulira nti omuwala ali mu nsonga olunaku lw’agenze ewuwe.

Abasajja abamu oluwulira nti munne ali mu nsonga bw’aba abadde anyumya ku byakwegatta abivaako amangu ago. Wabula mulimu abasajja b’otanyumiza ebyo ng’asooka kukukebera okukakasa ky’oyogerako.

5 Okwefuula akola kino na kiri n’atawa musajja mwagaanya kwegatta. Abawala abamu nga tebaagala kwegatta na baganzi baabwe beefuula abakola ennyo okugeza okulongoosa awaka, okusoma ebitabo abalala babeera balaba firimu oba okuva ku mirimu nga balojja nga bwe bakooye ennyo.

6 Emboozi ezennyamiza: Ebiseera ebimu abawala banyumya emboozi ezikwasa abasajja ennaku, wano nga boogera ku ngeri gye babonyeebonyemu oba engeri gye bayisiddwamu embi mu mukwano gwabwe omukadde nga balaga nti batya okuddamu okugwa mu mukwano oba okukola ekikolwa kyonna eky’omukwano ne badda mu mbeeera gye baayitamu.

Kino oluusi kiwa n’omusajja endowooza nti tekijja kulabika bulungi okugezaako okutandikawo embeera y’okwegatta mu bwangu.

7 Okwefuula abatalina mirembe: Ebiseera ebimu abawala bateekawo embeera eraga omusajja nti tebalina mirembe okugeza ku mulimu, okubeera n’ensonga z’awaka oba ezikwata ku booluganda lwabwe.

Abasajja bafuna okutya nti ssinga beetantala okutandika eby’okwegatta bayinza obutanyumirwa oba ebintu obutabagendera bulungi.

 

OKUWABULA KWA KANSALA

Kansala Yasin Ssewankambo owa Namasuba College of Commerce agamba abawala beekwasa kino na kiri naye nga kiva ku nsonga ezitali zimu nga waliwo ezeekuusa ku basajja.

Agamba nti abasajja abamu balina omuze gw’okulimba nga banoonya kwegatta na muwala okumanya ky’ali era olumala ng’amusuulawo. Agamba nti ekiwalirira abawala okubuzaabuza abasajja kwe kwagala okumanya oba tayagala kumukozesa bukozesa oluvannyuma amusuulewo.

Waliwo abawala abatalina mukwano ng’okugenda ew’omusajja abeera alina ky’amwagalako nga ssente olwo n’assawo buli kintu okumulemesa okwegatta.

Ssewankambo agamba nti omuwala yandibadde asooka kwetegereza munne naddala nga baagala okubeera mu mukwano ogwa nnamaddala.

Mu mbeera eno batera okuteekawo embeera eremesa omusajja okwegatta naye asooke yeetegereze munne ku bintu ng’omukwano amwagalira ddala, obugumiikiriza, embeera y’obulamu bwabwe okuzuula oba si mulwadde n’ebirala.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba