TOP

Nkole ntya okumutuusa ku ntikko?

By Musasi wa Bukedde

Added 18th August 2017

SSENGA nze Ronald e Rakai, mukazi wange sisobola kumutuusa ku ntikko. Nkole ntya? Ronald, toli wekka.

Ssenga1 703x422

Abasajja abasinga tebasobola kuyamba bakyala kutuuka ku ntikko.

Era embeera eno ereese ebizibu mu maka ku bakyala abamu abatalina bugumiikiriza kuba batandika obwenzi.

Edda abakyala abasinga baali tebamanyi okutuuka ku ntikko kye ki.

Naye ennaku zino abakyala bakimanyi nti balina okutuuka ku ntikko.

Ekirala abakyala baagendanga mu bufumbo nga mbeerera era ng’omusajja ne ssenga w’omuwala be bayigiriza omuwala embeera z’okwegatta.

Ate nga n’abasajja bamanyi nti be balina okufuna essanyu mu kwegatta. Naye kati abakyala bangi bamanyi kye baagala.

Ate ng’omusajja alina obuvunaanyizibwa okulaba nti omukyala atuuka ku ntikko.

Ekisooka mwana wange olina okwegatta n’omuntu gw’omanyi nti akwagala ate naawe omwagala.

Kubanga awatali mukwano omukazi tasobola kufuna bwagazi. Ekirala olina okuyiga omubiri gwa munno.

Obusimu bwe obusumulula obwagazi buli ludda wa? Mu mbeera eno kyangu nnyo omukyala okutuuka ku ntikko.

N’ekirala, oluusi abakyala abamu baba n’ebirowoozo ebibagaana okutuuka ku ntikko, era kino okimanyira ku butafuna bwagazi.

Anti atafunye bwagazi tasobola kutuuka ku ntikko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup