TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi yankweka omwana anfudde bbanka

Omukazi yankweka omwana anfudde bbanka

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2017

NZE Umar Muhammad Katende, 22, ndi musuubuzi mu butale obw’enjawulo naye nga kati mbeera Luzira Kirombe.

Kyusa1 703x422

Mu 2016, nasanga mwana muwala Namulindwa e Kamwokya ku Firebase ne mukwana n’akkiriza. Twakwatagana bulungi n’andaga ne gye yali abeera kuba yali akola bwa yaaya mu kitundu awo.

Olw’omukwano gwe nali mpulira, nasalawo okumuwasa mu wiiki bbiri ne mutwala n’ewange.

Wabula nga wayise emyezi esatu, yaηηamba nti ali lubuto ne mugamba tewali buzibu era tujja kuzaala.

Olubuto bwe lwaweza omwezi gumu yatandika ebyokunyombanga n’okunnangira obwenzi era n’anoba n’agenda ewaabwe.

Yagenda okudda ng’olubuto lwa myezi musanvu. Yabeerawo ebbanga ttono n’agamba nti ayagala kugenda kuzaalira waabwe era ne muwa ssente.

Yazaala omwana omulenzi n’akomawo ng’omwana wa mwezi gumu ne wiiki emu ne tubeerawo. Nga wayise emyezi esatu, yansaba ssente agende ewaabwe nti waaliyo okwabya olumbye.

Mu kiseera ekyo nali sirina ssente era awo we yatabukira wadde nga yasigalawo. Nga wayise ebbanga, nafuna safaali ne ηηenda ne muleka awaka n’omwana.

Ku safaali namalayo wiiki emu ne nkomawo, naye nagenda okutuuka mu nnyumba nga mwasigalamu kikooti n’empale yange emu byokka nga n’omwana wange amututte.

Kino kyannuma kuba ewaabwe nnali simanyiiyo wadde abantu be naye nga mpulira nti ava Mubende.

Bwe yali yaakagenda, yasooka n’aggyako essimu, naye nga wayiseewo omwaka, yagizzaako n’ankubira ng’ansaba obuyambi bw’omwana naye nga mugamba kimu akomewo awaka abunone.

Kati omwana wa mwaka gumu n’emyezi musanvu era akyankubira muweereze obuyambi naye yagaana okudda wadde ng’omutima gw’omwana wange gunnuma.

Olumu manyi n’okulowooza nti oba omwana oyo si wange kuba omukazi tayagala kumundaga kati n’ekimwagala kigenda kinzigwako.

Neesunze okumulaga bazadde bange n’aboolugnda lwange, naye nange simanyi bw’afaanana kati waakiri ssinga omukazi oyo annyamba n’amundagako omulundi gumu omutima gujja kutereera.

Omukugu mu kubuulirira abantu Yasin Ssewankambo agamba nti sooka weekkaanye ensonga eyaviirako ekyo n’entandikwa y’omukwano gwammwe yali etya kuba oyinza okuba wamutandikira mu kumulaga ssente nnyingi nga kati zaakendeera oba nga yalinayo omuvubuka omulala.

Genda ku poliisi oweeyo sitetimenti yo ogulewo ne fayiro kuba ebyo byakukubira essimu ng'asaba obuyambi ayinza okugenda ku poliisi n’agamba nti wamusuulira omwana so kati kirungi ggwe n’omusookayo ne batakutegkako musango.

Kisaana onoonyereze ne ku mikwano gye oleme kulowoolereza buli kimu kuba awo nga we yali akolera walina okuba nga waliwo mikwano gye nga girina kye gimumanyiiko kubanga tali wala naawe era tayinza kudda Mubende.

Osobola okukyusa ebirowoozo byo n’obimuggyako n’otaddamu kumulowozaako ate tomuwa wadde ennusu okuggyako ng'owulira okyamwagala bw’anaawulira nga bimusimbye ajja kujja ng’anonye buyambi omulage ebbaluwa ya poliisi nti wamuloopa dda ku poliisi awo ajja kutya.

Bw’oba nga wamukoowa, ebya ddala, ggyako essimu zonna z’akozesa okukufuna, kujja kumuwaliriza okukomyaawo omwana wo bw’oba omwagala.

Oba sooka omwesonyiwe omwana ye kennyini bw’anaakula ajja kumubanja kitaawe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hit1 220x290

Obulabirizi bw’e Mukono bukyusizza...

Obulabirizi bw’e Mukono bukyusizza abasumba

Kola1 220x290

Ab’e Kawempe balaajanidde KCCA...

ABATUUZE b’e Kawempe basabye ekitongole kya KCCA okukola ku nguudo ezirimu ebinnya ze bagamba nti zifuuse mpuku...

Han1 220x290

Omulabirizi Mutebi bamujjanjabye...

Omulabirizi Mutebi bamujjanjabye ne bamussaako obukwakkulizo

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...