TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obusolosolo abasajja bwe beekola okwegobako abakazi nga babakooye

Obusolosolo abasajja bwe beekola okwegobako abakazi nga babakooye

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd August 2017

OMUSAJJA bw’asiima omukazi akola kyonna okulaba ng’amusigaza. Wabula bw’amukyawa ayinza okwekola obusolosolo n’amutamya amaka.

Yomba1 703x422

Abaagalana nga bayomba. Omusajja bw’akyawa omukazi atandika okuyombera n’ebitaliimu.

OMUSAJJA bw’asiima omukazi akola kyonna okulaba ng’amusigaza. Wabula bw’amukyawa ayinza okwekola obusolosolo n’amutamya amaka.

Waliwo abeevaamu ne baatulira abakazi nti tebakyabaagala, naye abo be batono.

Abasinga akozesa bikolwa olwo mukazi wattu n’asoberwa. Ebimu ku bye bakola mulimu;

1 Obutakomawo waka era omukazi ne kamutanda n’amubuuza lwaki tekyasula waka, ayinza okumugamba nti yamutamyawo.

2 Bakomya okulabirira awaka ne bwe muba mupangisa tasasula ssente za bupangisa era n’abaana ayinza obutabafaako nga ky’ayagala omukazi amuviire.

3 Afunayo omukyala omulala akukakase nti tokyamusaanira, era kino okukinogaanya afunayo asinga mukazi we eddaala okumukakasa nti takyamusaanira.

4 Taggwaako bimunyiiza awaka, akambuwala buli kiseera. Okugeza ayinza okutandika okuyomba nga bw’otadde ssukaali omungi mu caayi, ng’omunnyo bwe guli omungi mu nva, n’okweronda olutatadde.

5 Eby’okukufaako abiviirako ddala, era amala n’ebbanga nga takukubidde ssimu, ate bw’omukubira takwata oba okukuwoleza nga bw’alina ebyokukola ebingi.

6 Tabeera na budde bwo, era muyinza okwesanga nga mumazeeko omwaka nga temufunyeeyo kadde ng’abafumbo oba abaagalana okwesanyusaamu.

7 Ne bw’ofuna obuzibu tafaayo kukulaga nti bimukwatako kubanga abeera yakuggya dda mu birowoozo bye.

8 Akomya okwegatta naawe kubanga aba takyalina bwagazi era tayagala wadde okumukwatako nga muli mu kisenge.

9 Waliwo n’abatandika okwegaana abaana okwongera okulaga omukazi gw’akyaye nti tebalina kibagatta.

10 Bw’akwana akulaga nga tafuddeeyo bw’onookitwala era abamu batuuka n’okuleeta abakazi mu maka nga ne mukazi we mwali ne beesanyusa.

11 Bazira emmere y’awaka n’ataddamu kugikombako nga yeekwasa nti omukazi ayinza okumuwa obutwa, oba nti emmere gy’alya awaka emulumya olubuto kubanga wacaafu.

12 Omukazi atandika okumulaba nga takyanyirira era n’akimugamba nga talinaamu wadde entengereze.

Engeri abaana gye bakosebwa ng’omusajja yeekola obusolosolo.

1 Kireetera abaana ebirowoozo n’obulumi kubanga buli lwe balowooza ku mbeera eri awaka bafuna obulumi ku mitima kubanga buli mwana asanyuka ng’alaba abazadde be bali mu ssanyu.

2 Eby’okusoma by’abaana bitaataaganyizibwa oluusi ne balemwa n’okusoma olw’empuliziganya obutabaawo.

3 Abaana okukula n’omuzadde omu oluusi ekiyinza okubakosa nga bakuze.

4 Abaana batandika okutya kitaabwe olw’okutulugunya nnyaabwe.

5 Omukwano gw’abazadde n’abaana tegubaawo ate nga kikulu ng’abaana bakula.

6 Abaana bayinza okukoppa empisa za kitaabwe nabo bwe bakula ne batandika kukola kitaabwe bye yali akikola.

7Abaana abava mu famire nga mulimu obusambattuko tebakola bulungi mu kibiina kubanga embeera eri ewaka ebeera ebanyiga.

Omukazi ali mu mbeera eyo kola bino;

  • Sooka omanye obuzibu kwe buva naawe weekubemu ttooci mu nneeyisa.
  • Gezaako okukola ebisanyusa munno ayinza okweddako.
  • Ensonga zitwale mu bakulu muzigonjoole, kiyinza okutaasa obufumbo bwammwe.
  • Yingira mu kusaba kuba kye kyokulwanyisa ekisinga, ojja kulabawo enjawulo.
  • Beera mugumiikiriza ojja kulaba ng’akyusaamu.
  • Tosuulawo buvunaanyizibwa bwo ng’omukazi mu maka kubanga abaana baba bakyakwetaaga.

Mariam Namatovu omukugu mu kubudaabuda abantu yategeezezza nti omukyala ali mu mbeera eno kirungi abeeko abantu be yeebuuzaako nga tannasalawo kuva mu maka.

Kirungi atuule n’omwami we kiyinza okubayamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Osire1 220x290

Bakutte abadde yeeyita dokita n'abba...

POLIISI eriko omusajja gw'ekutte abadde yeeyita omusawo mu ddwaaliro lya Kawempe National Refferal Hospital. Kigambibwa...

Gamba1 220x290

Eddy Kenzo akomyewo ku butaka:...

Eddy Kenzo akomyewo ku butaka: Bamwanirizza nga muzira

Mukadde1xx 220x290

Asobeddwa kibuyaga bw'asudde ennyumba...

Nanfuka agamba nti ennyumba yagudde ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde mu nkuba eyatonnye ng’erimu ne kibuyaga

Bpmutebipix 220x290

Omulabirizi Lubowa akyalidde Mutebi...

E Bungereza yayaniriziddwa Abakristaayo ne Rev. Nathan Ntege. Mu maka ga Ntege Omulabirizi Mutebi ne mukyala we...

Tta 220x290

Poliisi erambuludde engeri gy'okufunamu...

OLUVANNYUMA lw’omugagga Ali Jabar okuyingira n’emmundu mu ddwaaliro lya Kampala Independent Hospital n’agikwasa...