TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebireetera abakyala okufuna embuto nga bali ku ffamire pulaningi

Ebireetera abakyala okufuna embuto nga bali ku ffamire pulaningi

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd August 2017

Kiwaawaaza amatu okulaba omukazi ali ku famire ate n’agifunirako olubuto,

Contraceptive1 703x422

Omukyala ow'olubuto

MU kaco kano tewali mukazi yandifunye lubuto lw’ateeyagalidde kuba enkola z’ekizaalaggumba nnyingi eziriwo ate nga za bwereere. Wabula kiwaawaaza amatu okulaba omukazi ali ku famire ate n’agifunirako olubuto, nga Namulindwa bw’annyonnyola.

“Nze Shakira Namulindwa, mbeera mu Kibwa Zooni e Lugoba. Bwe nazaala omwana asooka ne ntandika famire kuba nali saagala kumuzzaako mangu. Bwe yaweza omwaka gumu n’ekitundu, ne ntandika okumira obukerenda bwa famire.

Wabula bwatuuka ne buntama era ne bunnema okumira mu butuufu bwabwo, ng’oluusi mbwerabira. Natandika okubumira buli lwe nabanga nneegasse ne baze olwo ng’ennaku endala sitawaana.

Ekyava mu kino lwali lubuto era bwe nagenda mu ddwaaliro ne mbannyonnyola ne bantegeeza nti obuweke nabusobya, era bwe namala okuzaala ne banziza ku mpiso.

Nnaakamala ku famire emyaka esatu era buli luvannyuma lwa myezi esatu, nzirayo ne nfuna empiso endala.”

Ate Justine Komuhendo ow’e Kisaasi yagambye nti famire agimazeeko emyaka etaano era ng’akozesa kapiso eziteekebwa mu mukono (implant)“

Lumu ekiseeta kya kapiso eno kyaggwaako naye ne siddayo kunteekamu kapya naye nga nneeraliikirira okufuna olubuto kuba nali saagala kuzzaako mu kiseera ekyo.

Oluvannyuma, naddayo mu ddwaaliro ne bankuba empiso ya famire ey’emyezi esatu. Kyokka bwe waayitawo ekiseera, ηηenda okulaba nga mpulira sikyetegeera, era bwe nagenda mu ddwaaliro ne bantegeeza nti nnina olubuto.

Saasooka kukikkiriza naye omusawo n’aηηamba nti we banteekera ku mpiso ya famire nali mmaze okufuna olubuto kuba eddagala lyali liweddemu mu mubiri. Nakigumira kuba zaali nteekateeka za Mukama.”

 kaweta nga bwe kafaanana Akaweta nga bwe kafaanana.

 

ENGERI ABAKAZI GYE BASOBYA FAMIRE PULAANINGI

Dr. Tonny Kapsandul omusawo w’abakyala okuva mu Amref Health Uganda yagambye nti omukyala okufuna olubuto ng’ali ku nkola ya famire kiva ku kukozesa obubi eddagala.

Kuno agattako nti n’okugenda mu malwaliro agatalina basawo bakugu mu kugaba enkola za famire so ng’abalala batendekebwa naye tebekkiririzaamu ne baziteekamu bubi ekivaako abakyala okuzifunirako embuto.

Eno y’engeri abakyala gye basobyamu enkola za famire pulaaningi.

1 Obuweke

Musawo Lillian Namuli asomesa n’okugaba enkola za famire e Mulago yagambye nti obuweke abakyala babufunirako nnyo embuto kubanga babukozesa bubi.

Abamu balowooza nti omwami lw’azze lw’alina okumira akaweke ka famire, sso nga bukolera mu budde awatali kwosaamu.

Oluusi abakyala bwe baba n’ebizibu nga okweraliikirira ekisusse naddala nga baayombye, omwana mulwadde oba ng’alina abagenyi, kyangu okwerabira okubumira ekirinnyisa emikisa gy’okufuna olubuto.

2 Kapiso (Implants)

Buno bwefaanaanyiriza obuti nga buteekebwa mu mukono okumala ekiseera ekigere. Waliwo obw’emyezi esatu (Implanon) n’obw’emyezi etaano (Jedella).

Namuli yagambye nti omwaka oguwedde kyazuulibwa ng’abakyala 32 ku 100 abaali bakozesa kapiso bafunirako embuto naddala mu bakyala abalina akawuka ka siriimu.

Yagambye nti kino kibaawo kubanga eddagala erimu lye bakozesa linafuya amaanyi g’eddagala erya famire eno ekivaako okugifunirako embuto.

Mu ngeri y’emu, oluusi omukyala ayinza okuba nga yakateekamu ng’olubuto mweruli.

3 Empiso (Deprovera). Eno ekola okumala wiiki 2 wabula abakyala abamu bazifunira mu bulwaliro obutono awatali basawo balina bukugu. Oluusi bazitabulamu amazzi, abamu babawa ddoozi ntono, ate waliwo n’abazikunya ekinafunya eddagala nga tesobola kumalako kiseera kituufu ekyabalirirwa.

Ekirala, abakyala abamu baddayo ng’ekiseera mw’alina okufunira empiso endala kiyiseeko ate ne basigala nga bakyegatta nga tebeekuumye ekivaamu kufuna mbuto.

4 Akaweta.

Dr. Kapsandul yannyonnyodde nti eno y’emu ku nkola esinga obulungi kubanga teriimu ddagala era ng’akaweta tekakyusa mbeera za mubiri gwa mukyala.

Akaweta kimu ku bika bya famire ezitali za mu musaayi era nga kateekebwa mu bukyala okusobola okutta obutoffaali bw’enkwaso okuziyiza okufuna olubuto.

Akaweta kakola bulungi ebitundu 99 ku buli 100 era ng’akatundu akamu akasigalayo (1%), buba bunafu bwa mukyala ssinga abeera afunye olubuto.

 ondomu yemu ku nkola za famire pulaaningi ezitatera kuyiwa bweba ekozeseddwa bulungi Kondomu y’emu ku nkola za famire pulaaningi ezitatera kuyiwa bw’eba ekozeseddwa bulungi.

 

Okugeza;

 Osobola okufuna olubuto ssinga akaweta kaba tekaateekebwamu bulungi oba okuvaamu naddala ng’oli mu nsonga z’ekikyala.

Noolwekyo bw’oba okakozesa olina okukebera obuwuzi bwako kubanga buyinza okugendako omusaayi nga mungi ne gukasindika ne kaseeseetuka oba okuvaayo n’ofuna olubuto.

 Bw’obeera mu nsonga, kebera paadi okukakasa nti tekavuddeeyo, era bw’osanga kavuddeyo genda ew’omusawo akakuzzeemu.

5 Kondomu z’abasajja.

Zino zikozesebwa mu kutangira embuto n’endwadde eziyita mu kwegatta.

Wabula abaagalana abettanira okwegatta mu bifo eby’enjawulo gamba nga mu ffumbiro, mu kinaabiro, mu ddiiro n’awalala kyangu obutazambala kuba kizibu okuzikuumira mu bifo ebyo.

Ate bwe ziba zambaddwa, kyangu obutazambala bulungi omukyala n’afuna olubuto.

Mu ngeri y’emu, kondomu abakyala batera okuzifunirako embuto naddala ng’omusajja agyambadde ng’obusajja tebwereeze bulungi, kubanga kigiremesa okunywera obulungi n’eyingiramu empewo eyinza okugyabya, omukyala n’afuna olubuto.

6 Okuyonsa.

Namuli annyonnyola nti enkola eno nnungi naddala ng’omukyala asiiba n’omwana n’amuyonsa wonna w’ayagalira okumala emyezi mukaaga egisooka kubanga ‘hormones’ ezireeta amata ze ziziyiza eggi okuvaayo mu kisu.

Wabula abakyala abamu bagabirira abaana nga bwe babayonsa mu kiseera ekyo ne balowooza nti tebajja kufuna mbuto, okwekanga nga bazifunye.

 

7 Enkola y’okumalira ebbali.

Eno etera okuleeta obuzibu kuba abasajja batono abasobola okupima ekiseera ekituufu we balina okufulumira.

Kubanga mu kiseera ng’agenda okutuuka ku ntikko oluusi kizibuwala okuva mu bukyala, y’ensonga lwaki enkola eno teyeesigika.

Bweba nga gye mukozesa mulina okugigattako enteekateeka endala omuli kondomu, embira ne kalenda okusobola okumanya ennaku zo ez’ekikyala nga bwe zitambula ne weekuuma.

8 Okubala ennaku.

Eno muteekwa okukkaanya bwe muba mwakugikozesa era ne mugattako n’enkola endala nga kondomu oba okumalira ebbali. Bala ennaku 10 okuva lw’otandika ensonga ng’obaliddemu n’ezo ng’oli mu nsonga.

Ennaku 7 eziddako ziba za bulabe era bwe weegatta kyangu okufuna olubuto. Wabula bwe ziggwaako oba waddembe okwegatta okutuusa bw’oddamu okugenda mu nsonga.

Ekizibu kwe kubala obubi ennaku zino oba okulemwa okugumiikiriza naddala ng’omukazi ali mu nnaku mw’asobola okufunira olubuto.

9 Kalenda.

Eno bwe muba baakugikozeaa eteekeddwa okubeera mu kifo kye mutunulako buli lunaku, wabula era eno ekola nga mugigasseeko enkola endala nga kondomu.

Obuzibu we buva kwe kubala obubi oba okwerabira okutonnyeza olunaku mw’ogendedde mu nsonga, olwo n’otomanya bulungi nnaku mw’osobola okufunira olubuto.

10 Embira (moon beads).

Zino nazo zikola nga kalenda n’okubala ennaku. Embira ziba ne langi nnya, emmyuufu, kitaka, enjeru n’enzirugavu. Otandika okutambuza ng’ogenze mu nsonga era otandikira ku langi emmyuufu.

Bw’otuuka ku langi eya kitaka, kiraga nti ennaku z’olimu nnungi, tosobola kufuniramu lubuto. Bw’otuuka mu langi enjeru tewetantala kwegatta nga teweekuumye naddala nga tolina kigendererwa kya kuzaala kubanga mu kiseera kino, eggi liba livuddeyo nga lirinze kusisinkana enkwaso.

Bw’otuuka mu langi enzirugavu obeera osemberedde okugenda mu nsonga era kirungi otambule nga weetegese.

Mu kiseera kino oyinza okufuna olubuto oba obutalufuna, kirungi bw’oba weegatta ne weekuuma.

  

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...