TOP

Omukyala agabye omwana wange

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd August 2017

NZE Borris Kigozi Nakeera nga mbeera Kamwokya. Omulimu gwange gwa bidongo ng’era ebiseera byange ebisinga mbimalira mu safaali.

Pamba 703x422

Nnina omuwala omu gwe naganza naye atuuse okuntamya ebya laavu.

Emyaka ebiri egiyise, omuntu wange ono yafuna olubuto era n’azaala era nga mulabirira bulungi.

Lumu nagenda n’omwana ono mu bazadde bange era mu kumwetegereza, baagamba nti omwana wange tewali kubuusabuusa kuba yali yanfaanana mu buli kimu.

Mbadde siwulirangako lugambo lwonna nti mukyala wange ono akukuta naye omwaka guno, ebigambo yabimmazeeko.

Yasooka kuntegeeza nga bwe yali ayagala okutwalako omwana ewa muganda we omuto ow’e Kyebando amulabeko nange ne nzikiriza.

Oluvannyuma nantandika okulaba embeera etaali ntuufu awaka nga n’olulala yasulangayo n’antegeeza nga bw’atagenda kukomawo naye nga sikirinaamu buzibu.

Mu mwezi oguwedde twafuna obutakkaanya ng’era obuzibu buva ku kubeera nti ewa muganda we waali watandise okumusingira amaka ge.

Oluvannyuma lw’okuyomba, wano omukyala we yatandikira okwogera ebitakwatagana era n’aηηamba ng’omwana bwatali wange nti era alina kitaawe era gy’abaddenga amutwala ng’annimba nti amutwala wa muganda we.

Oluvannyuma lw’okuηηamba ebyo, nasazeewo okuddayo mu safaali zange era bwatyo olwalabye nga siriiwo n’akwatamu ebibye n’agenda gye saategedde.

Joel Bagatya omuwabuzi ku nsonga z’abantu ng’akolera ne New Chapter Clinic e Katwe agamba nti Kigozi asooka olinde okwevuma abakyala kubanga bonna tebafaanana mpisa naye ekikulu kwetegereza oyo gw’osiimye nga tonamuzaalamu mwana.

Amusabye obutasooka kusalawo mu busungu wabula agende ku DNA akebeze omwana amanye ekituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...

Ssengalogo 220x290

Lwaki saagala kwegatta?

NNINA ekizibu saagala kwegatta na musajja yenna. Mu kusooka nnali ntya siriimu naye kaati ntya abasajja saagala...

Ssengalogo 220x290

Mukyala muto alumba omukulu

SSENGA nnina bakyala ababiri, naye omukyala omuto alina ekizibu nti ayagala nnyo okulumba munne ate nga nabagamba...