TOP

Lwaki mukyala wange mufunda?

By Musasi wa Bukedde

Added 26th August 2017

MUKYALA wange mufunda nnyo naye simanyi kya kukola.

Ssenga1 703x422

MUKYALA wange mufunda nnyo naye simanyi kya kukola.

OMUKYALA ono muwala muto? Kubanga abawala abato babeera bafunda kubanga obukyala bwabwe buba buto nga tebunnafuna lasitiika kunaanuuka ng’obukyala obw’omuwala akuze oba omuvubuka.

Ekirala omukyala oba muwala ne bw’aba akuze bulungi naye nga tafunye bwagazi asigala mufunda.

Anti omukyala bw’afuna obwagazi, obukyala bugaziwa era ne buleeta amazzi agayamba omukyala n’omusajja okwegatta obulungi.

Kale obufunda ebiseera ebisinga buva ku mukyala oba omuwala obutafuna bwagazi.

Ekirala, omuwala bw’akula n’afuuka omukyala katugambe ng’aweza emyaka 19, obukyala bwe tebubeera bufunda kubanga lasitiika zibeera za kikulu nga zifunda ate ne zigaziwa.

Era tukimanyi nti omuwala ng’akuze asobola okuzaala omwana nga tebamupasudde kubanga omutwe gw’omwana gusobola okuyita mu bukyala. Kati lowooza ku mutwe gw’omwana n’obusajja.

Kale mwana wange weetegereze obufunda kwe buva. Naye ffenna tulina obusobozi kasita tufuna obwagazi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga