TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Maama w’abaana yankubira mu nju ne ngimulekera

Maama w’abaana yankubira mu nju ne ngimulekera

By Musasi wa Bukedde

Added 26th August 2017

BW’OGAMBA abantu nti naffe abasajja tubonaabonera mu maka abasinga balowooza nti si bituufu.

Wanga1 703x422

Nsubuga

Abakazi ab’omulembe guno basusse okutulugunya abasajja, era kino nkirinako bwino.

Nze Steven Nsubuga 48, ndi musajja muzimbi nga nkolera Nakawuka. Naganza omuwala ne tukkiriziganya.

Wadde yalina amalala saagitwala nga nsonga nga ndowooza nti osanga emyaka gye gimuwaga. Obufumbo twabutambuza ne tuzaala n’abaana basatu.

Twatandikira mu muzigo ne twezimba era ne tuzimba n’enju yaffe. Ku gw’okuzimba nagattako okulunda enkoko n’okulunda ente era nga nnina abakozi abaddukanya ogw’obulunzi.

Twazimba n’emizigo gy’abapangosa era ne ngikwasa maama w’abaana nga y’asolooza.

Wabula lumu nakomawo awaka maama w’abaana n’atandika okuyomba nga yeekwasa nti engeri ssente gye ziweze ηηenda kukyuka.

Kuno yagattako okunnyima akaboozi. Byonna nnali mbigumidde naye bwe yatandiika okunneegezaamu okunkuba awaka ne wantamira ddala era nga bwenva ku mulimu mbeera ne mikwano gyange gye mpisiza obudde.

Lumu bwe nnadda awaka, ng’obudde bukyali n’ankuba ebikonde ng’ankazakkaza lwaki nnywa omwenge.

Wadde kyansukkako naye saamuddiza kubanga nnayagala okukuuma obuntubulamu. Kw’olwo nayingira mu kisenge ne nzigyamu ebintu byange byonna ne mmuviira.

Oluvannyuma lw’akabanga, maama w’abaana oyo yagenda ewa mukwano gwange n’amugamba ansabe ekyapa awali ennyumba gye twazimba n’ekyemizigo ng’agamba nti bintu bya baana be.

Yagattako nti oba njagala nfune omukazi omulala, kyokka ng’amazima ebintu byonna nze nabikola kuba ye yasigalanga waka.

Kati ebbanga liweze nga ndi muwuulu naye n’obulamu mpulira buntamye.

Bwe wabaayo omukazi ali wakati w’emyaka 30 ne 48 nga mwetegefu okunjagala nga bwendi wabula nga si mukambwe ankubire ku 0781018907.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte