TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebiremesa omusajja okumalamu akagoba

Ebiremesa omusajja okumalamu akagoba

By Musasi wa Bukedde

Added 30th August 2017

OMUKUGU Markus MacGill ow‛omu Yuniversity ya Illinois-Chicago, School of Medicine mu Amerika azudde ng‛embeera y‛abasajja okulwawo okutuuka ku ntikko ejojobya bangi, naye ng‛abasinga tebagyogerako.

Ssenga1 703x422

Vva ku bino abasajja bye balya emmwanyi mbu bawangaalire mu kisaawe.

Naye waliwo abasajja abatatuuka ku ntikko, bambi n‛obusajja ne butuuka okubaluma naye ng‛ebintu bigaanyi.

Ate nga bw‛atatuuka ku ntikko, taweweera era takkakkana, omukazi n‛atuuka n‛okumusindika amuveeko naye ng‛alemereddwa okumalamu akagoba.

Abo be batuusa omukazi mu mbeera y‛okukuba enduulu abali ebweru babataase anti nga kisusse.

Waliwo bannaffe abagaaya ebiragala abamanyiddwa ennyo olw‛ekikolwa kino. Naye abakugu ku bano bazuddeyo ebipya.

Okulwawo ennyo okumalamu akagoba oba okulemererwa okukamalamu kikumma essanyu ate nga ne munno talifuna.

Kubanga bambi amazzi ago abasajja ge bamala nabo gabanyumira anti galina engeri gye gabasensera ne bafuna obulumi obuwoomu ng‛obwo bw‛owulira ng‛otakula awali akavunza akato!

Kati nno abakugu bagamba nti embeera eno ey‛okulemererwa okumalamu akagoba eyinza okuva ku bintu bingi omuli na bino; Okumanyiira okwemazisa oluusi kye kireeta embeera eno anti nga bw‛obeera n‛omukazi emirimu tegitambula bulungi.

Waliwo abatuuka mu mbeera eno olw‛okukozesa ebiragalalagala, bano nabo bayinza okufuna ekizibu nga kino.

Oluusi n‛eddagala ly‛omira naddala ng‛olina obulwadde nga ssukaali, puleesa, n‛endala, nalyo liyinza okukukosa n‛olemwa okutuuka ku ntikko y‛omukwano.

Okuyingira akaboozi ng‛ebirowoozo tebitebenkedde bulungi nayo nsonga nkulu eyinza okukulemesa okumalamu akagoba.

Waliwo abayingira ensiike nga batamidde era ne batuuka mu mbeera eyo.

Abakugu era bagamba nti waliwo n‛eddiini eyinza okusiga embeera eno mu basajja naddala ng‛eddiini eno eyigiriza nti okwegatta n‛omuntu bo gwe batakusiimidde kya bulabe.

Embeera eno okugivumula abasawo bano baazudde nga kikwetaagisa kuyingira kaboozi ng‛oli musanyufu nga munno omwesunga.

Era akaseera kano n‛okakozesa okwerabira ku bizibu byo, naawe ofune ku ssanyu. Era n‛ekirala kwewala ebyo bye bamenye ekivaako embeera eno okweyongera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye