TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Owewange muwa obulabo obumussa mu muudu

Owewange muwa obulabo obumussa mu muudu

By Musasi wa Bukedde

Added 30th August 2017

HARRIET Nankumba 35, omusomesa ku Kyamundu Islamic Center e Lukaya mu Kalungu, alaze obumu ku bukodyo bw’omukwano bw’akozesa okukuumira omukwano gwe ne bba ku ntikko, era abinnyonnyola bwati;

Sala1 703x422

Nankumba

“Nakimanya nti obuyonjo bw’omukyala si kunaaba kwokka, wabula neeyonja okuviira ddala ku njala, enkwawa n’ebifo by’ekyama omwami wange n’abulwako ky’ayinza okunnenyinyalako naddala mu bwe tuba mu kigwo ky’omukwano.

Ekyokubiri, nteeka ddole ennungi mu kisenge kyange naddala ezo eza langi ya ppinka n’enjeru ezisikiriza amaaso.

Akakodyo ako kankolera kubanga bwe tuba n’omwagalwa wange tumanyi okuzizannyisa nga bwe tuzeekasukira ekyongera okututeeka mu muudu.

Waliwo olumu bwe tuba nga tutudde mu ddiiro ne ntandikira ku mwana, nga ηηamba omwami wange nti laba omwana ono bwe yakufaanana ebigere n’akumalayo, ekyo nkyogera bwe mbikwatako mu ngeri y’okumunyonyoogera, we tumalira okusaagamu bwe tutyo, obuswandi buba bumutta era ekiva awo kwesogga kisenge.

Teri mukyala atasobola kufi ssa kasente k’asobola kuguliramu mwagalwa we kalabo, ka kabeere katono katya tayinza butakasiima naddala ng’abadde takasuubira.

Owange oluusi mugulirayo obuntuntu naddala obutambaala, obuwale bw’omunda n’obumuli kino kimuzzaamu amaanyi n’akimanya nti eriyo omuntu amufaako.

Omwagalwa wange nfuba okumulaga nti simwagalako nsimbi na byakulya ng’enkola y’abakyala b’ennaku zino abamu, kubanga bangi bafumba n’azaala n’abaana naye ng’abaza kimu kugabana bintu ne musajja.

Ekirala ndi mwanjulukufu gyali era omusajja bw’ankwana n’annemerako muloopa ewa baze, era mwekyo anneesiga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191122at145535 220x290

Amataba gasazeeko enkulungo y'oku...

Enkuba efudembye mu Kampala n'emiraano mu budde bw'amalya g'ekyemisana egootaanyizza entambula ku nkulungo y'oku...

Mosesmagogo 220x290

Ebya Moses Magogo bibi!

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’Ebyemizannyo, Janet Kataha Museveni ayingidde mu nsonga za Pulezidenti wa FUFA, Ying....

Klezia etegese okusabira Novena...

NGA Uganda yeetegekera okukuza olunaku lwa siriimu olukuzibwa mu nsi yonna nga December 1, Klezia etegese Novena...

Film1 220x290

Embooko z’abawala ezongedde ebbugumu...

Endabika y’abawala bano (okuba abalungi mu ffeesi) n’okuba ne ffiga ennungi tebikomye ku kubatunda nga bbo mu bantu,...

Nnasale 220x290

Omusomesa wa King Fahad asobezza...

POLIISI ekutte omusomesa w’essomero lya King Fahad Islamic Primary School e Nateete nga kigambibwa nti yasobezza...