TOP

Ntya okukwana abakazi

By Musasi wa Bukedde

Added 1st September 2017

SSENGA ntya nnyo abakyala nkole ntya okukwana?

Ssenga1 703x422

MWANA wange nsuubira nti buli muvubuka atya okukwana. Kya butonde okutya okukwana ekisookera ddala obeera otya okugaana ekirala tolina bumanyirivu kukwana.

N’ekirala si bavubuka bokka be batya okukwana, wabula n’omusajja omukulu atya okukwana.

Okuggyako abasajja abatalina nsonyi oba abo abakwana ng’ekigendererwa kya kwegatta naye kumpi buli musajja akwana naye ng’alina okutya.

Naye ng’abasajja abasinga balowooza nti olina kukwana ng’okozesa bigambo. Naye okukwana okusinga obulungi era okw’amagezi kwe kw’okukozesa ebikolwa.

Ebikolwa biraga nti okwanisa magezi ate omuwala atakwagala omumanya n’otomala budde na bigambo bingi ate ng’oluusi ebigambo bisobola n’okukubula.

Ennaku zino ekirungi waliyo empuliziganya nga whatsapp, face book, gy’osobola okulaga nti omuntu omwagala.

Okukwana okw’amagezi teweetaaga kutandika na bigambo binene.

Wabula kulaga nti ofaayo ku muwala gw’okwana, oluvannyuma omuwala ono amanya nti omukwana era n’akukkiriza nga tokozesezza kigambo.

Ate era bw’olaba nga takuliiko olina kumuleka kubanga n’abawala oba abakyala balina ebisaanyizo bye baagala.

Kale bw’oba olina ensonyi kozesa bikolwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...