TOP

Baze yeegaana omwana

By Musasi wa Bukedde

Added 6th September 2017

NNINA abaana basatu naye baze yeegaana omwana asembayo. Ssenga omwana wuwe ate agaanyi n’okugenda mu musaayi.

Newsengalogob 703x422

NNINA abaana basatu naye baze yeegaana omwana asembayo. Ssenga omwana wuwe ate agaanyi n’okugenda mu musaayi.

Omusajja ono aludde nga yeekwasa obusonga ate alinayo omukyala omulala eyazaala n’omwana era ali lubuto.

Balamu bange bambuulira. Kati n’awaka tasulawo. Nkole ntya? Omusajja mwesonyiwe?

OMUSAJJA bw’aba agaanye okugenda mu musaayi, alabika ayagala kwekwasa nsonga eno akuleke.

Ogambye alina omukyala omulala, kino kitegeeza nti ayagala kwekwasa nsonga akwesonyiwe.

Kyandibadde kirungi oleme kumwesonyiwa. Gwe ng’omukyala embeera eno mulina okugyogerako kuba oli mukyala we ddala.

Abasajja abamu bwe bafuna abakyala, kiba kizibu okubuulira abakyala b’awaka era baba balina kwekwasa busonga olwo omusango ne gudda ku ggwe.

Ekirala oba bamulamu bakugamba, nsuubira y’abagamba kale abeeyambisa bakutuuseeko obubaka.

Mulina okwogera ku nsonga eno mu kifo ky’okusirika kuba okusirika kitegeeza maka kufa okuggyako nga takyakwagala ate ekyo nakyo kirungi okumanya.

Era embeera ogiraba anti kuba balo bw’aba tasula waka olwo omukwano guli wa?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba