TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Yakumpanya ssente ze naggya ku kyeyo

Yakumpanya ssente ze naggya ku kyeyo

By Musasi wa Bukedde

Added 8th September 2017

Ebyaddirira byali bingi kubanga omukazi ono twatuuka n’okugenda ku poliisi ebintu ne bigaana.

Ssegawa1 703x422

Ssegawa

Basajja bannange, omutonzi bw’akuwanga omwagalwa nga mukwatagana omwebazanga.

Nze Joseph Ssegawa ow’e Nateete nga ndi musajja mulokole era munnabizinensi.

Bwe nnamala okusoma nasooka ne nfuna akalimu naye nga temuvaamu ssente zeegasa.

Nafunayo munnange era twayagalana okumala emyaka esatu. Mu kiseera ekyo yali abeera wa muganda we.

Oluvannyuma napanga ne ngenda e Bungereza wabula twasigala twogeraganya ng’abaagalana.

Lwe nnasooka okukomawo natuula naye ne twogeera bingi era namusaba atandike okunoonya poloti mmuweereze ssente agisasule.

Bwe naddayo ne muweereza ssente ssaako n’ez’okuzimba. Yankakasa nti buli kimu kitambula bulungi era ennyumba eneetera okuggwa.

Yampeereza n’ebifaananyi by’ennyumba ne nkakasa nti ddala munnange ebintu abikutte bulungi.

Bwe nakomawo ogwokubiri, ne mugamba antwale awali ennyumba, wabula yasooka kungamba nti yalina gy’agenda era nange ne muwuliriza.

Ebyaddirira byali bingi kubanga omukazi ono twatuuka n’okugenda ku poliisi ebintu ne bigaana.

Yatuuka n’okugamba nti sirina kye mubanja era n’ebyessente tabimanyi.

Wano we yambuuliza nti kiki ekiraga nti nnali muwadde ku ssente.

Embeera eno yankosa nnyo era okuddamu okunyirira nneebaza Katonda eyasobola okundokola. Bwe naddayo ku kyeyo ne nnoonya ssente endala mwe nsobodde okuzimba ennyumba.

Ekyanneewuunyisizza nnakyala ono akomyewo ng’ayagala tuddingane.

Pauline Namulembwa omuwabuzi ku nsonga z’abantu ku ddwaaliro lya Life Care Unit e Makindye agamba nti abakyala bangi bwe batyo bwe babba abasajja naddala ng’omuwala amanyi ennyingizaayo.

Oyo tomuganya kukusemberera kuba olaba yakwegaanira mu maaso ga poliisi kitegeeza tewali ky’atya.

Naye laavu ne ssente bintu bya njawulo ssinga owulira nga ku mutima okyamwagala, osobola okumuddira naye ssente toddamu kuzimulaga kubanga akyasobola okukutega akamasu akalala n’akuddamu kye yakola mu kusooka.                          

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba