TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obuntu obutono obulaga okufaayo eri omwagalwa wo

Obuntu obutono obulaga okufaayo eri omwagalwa wo

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2017

Waliwo obuntu obutono ng’omuyimbi Judith Babirye bwe yayimbako n’agamba nti, ‘‘...obuntu obwo obutonotono bw’okola....” nga ssinga ossaayo omwoyo n’obukolera munno akakasa nti akuli mu musaayi era omufaako nnyo.

Ddiya1 703x422

LYAKO DDIYA...Peter Matovu amanyiddwa nga Peter Ssereebu ng’aliisa ku munne okumulaga omukwano.

MU mukwano oluusi tekyetaagisa kusaasaanya ssente nnyingi okulaga munno nti omufa bitole era w’atali tolya.

Waliwo obuntu obutono ng’omuyimbi Judith Babirye bwe yayimbako n’agamba nti, ‘‘...obuntu obwo obutonotono bw’okola....” nga ssinga ossaayo omwoyo n’obukolera munno akakasa nti akuli mu musaayi era omufaako nnyo.

Rebecca Naluyima abudaabuda abafumbo ng’abeera Kasubi agamba nti waliwo obuntu 20 obutonotono omukyala n’omuwala alina omwagalwa bw’alina obutabuusa maaso omuli;

1 Mugulire obuntu obutono naddala obw’okwejalabya bw’olaba nti tabuteekako mutima. Mu buntu obutono bw’osobola okuwa omwami wo n’amanya nti omufa era ofaayo gyali mulimu ka kalifuuwa, obugoye bw’omunda, essaawa y’oku mukono n’ebirala.

Description:  mukyala ngaliisa bba okumulaga omukwano Omukyala ng’aliisa bba okumulaga omukwano.

 

2 Bw’owulira ng’omumiisinga kimubuulire. Abakyala abamu balina omuze gw’okusirika nga bamiisinga basajja baabwe. Bw’aba ku mulimu musindikire mesegi emutegeeza nti omumiisinga oba mukubire essimu okimugambe. Kino kijja kumuteeka mu muudu era ajja kukomawo awaka nga musanyufu.

3 Mufumbire kacaayi era okamutabulire mu kiseera nga takasuubira. Okugeza oyinza okukeera n’omutegekera caayi n’omutwalira mu kisenge nga takisuubira.

4 Akafuba akamwaniriza n’akamusiibula tokeerabira, tomukkiriza kugenda ku mulimu nga tomuwadde kafuba era ne bw’akomawo tokeerabira ojja kuba omumaze nga teweerabidde ka kkiisi k’omu kyenyi.

5 Mubuulire nti wanjawulo nnyo gy’oli. Abasajja abasinga balinga baana bato buli lw’omuwaana engeri gy’ali ow’enjawulo gy’oli ng’omumaze. Okugeza mugambe nti, ‘oli kitundu ku bulamu bwange mu nsi muno..’

6 Musiime w’olaba atadde amaanyi ag’enjawulo era mulage nti amaanyi ge ogasiima. Okugeza bw’asasula ffi izi z’abaana oba bw’aba alina ekipya ky’aguze mwebaze ku ssaawa eyo ate era oddemu mu kiseera nga takusuubira. Oyinza n’okumuddiza nga mulya n’omugamba nti ‘mukwano ako ka kukwebaza olw’okusasula ffi izi..’

7 Oyinza okumugulira akatambi ka firimu gy’ayagala oba ak’ennyimba z’ayagala okuwuliriza, omuteeremu mu biseera bye eby’eddembe.

8 Bw’aba ayogera naawe muwe ebirowoozo byo byonna. Bw’oba okutte essimu osobola n’okugiteeka ebbali n’osooka omuwuliriza, ajja kumanya nti bw’abaawo ebirala byonna obissa ku bbali.

9 Olw’olumu mufumbire ekyokulya ky’asinga okwagala omuteere ku mmeeza, wansi w’essowaani omuteereyo akapapula k’owandiiseeko obugambo obumuwaana era omutegeeze nga bw’omufa, omukwano ojja kuba omaze oguteekamu ebirungo.

10 Mubuulire engeri gy’akuwaamu essanyu. Abakyala abamu munne ne bw’akola akamusanyusizza takimugamba era n’omusajja tamanya. Bw’okimugamba nti akusanyusizza kimwongera amaanyi n’omukwano ne gweyongera.

11 Balo bw’aba akeera nnyo okugenda ku mulimu fuba okulaba ng’omusooka okuzuukuka omufumbire ekyenkya agende ku mulimu ng’akiridde oba akitwale ku mulimu, kijja kumuwa essanyu era ajja kumanya nti omufaako.

12 Bw’aba n’ebimunyiizizza naddala ku mulimu kola buli ekisoboka okulaba nga byonna abyerabira era omukkakkanye ng’omubuulira nga bw’ali owamaanyi okusinga ebyo ebimutawaanyizza era nti oli naye mu mbeera yonna.

13 Mubuulire nti akukuba era omuwaane. Abakyala abasinga balowooza nti omusajja yekka y’alina okubuulira omukyala nti amufa naye naawe bw’okimugamba kimuleetera okukuteeka mu kifo eky’enjawulo mu mutima gwe ne mu bulamu bwe okutwaliza awamu.

14 Muweeweeteko naddala mu mutwe. Ng’abakyala bwe banyumirwa okukwatibwako mu nviiri, n’abasajja bawulira bulungi ng’obaweeweeseeko mu mutwe kuba kyongera okulaga nti naawe onyumirwa ky’okola ate nga naye kijja kumunyumira.

Description:

 

15 Olumu fumbayo ekyeggulo eky’enjawulo ky’atasuubira. Kino osobola okukikola okugeza ssinga omwami ku kameeza aba yaleseeko ssente za binyeebwa kozesa ku z’obadde otereka ofumbe enkoko gy’oba omuwa era mubuulire ezaagiguze gye zivudde. Ate bw’oba olina omulimu kijja kukubeerera kyangu okumuyiiyizaayo eky’enjawulo.

16 Abalina ebinaabiro omuli endabirwamu, olw’olumu oyinza okumugera ng’anaaba n’owandiika obugambo bw’omukwano ku ndabirwamu ng’okozesa ebyovu. Bw’anaabisoma kijja kumwongera amaanyi n’omukwano gweyongere.

17 Fuba okulaba nga bwe muba mutuddeko mwembi omukwatako nga ku mukono, engalo, mu kifuba oba awantu wonna. Omuntu buli lw’omukwatako kyongera ebbugumu mu nkolagana yammwe, era bannassaayansi bagamba nti abaagalana abafuna obudde okwekwatako buli lunaku omukwano gwabwe guwangaala, okusinga abo abeekwatako nga bali mu kitanda wokka.

18 Bw’oba ogenda ku lugendo oluwanvu, leka ng’omukoleddeyo ka juyisi okateeke mu fi riigi oba mu jaaga era omulekere akawandiiko ku mmeeza, bw’anaakomawo ajja kumanya nti wadde toliwo omufaako.

19 Buli lw’omulaba muteereko akaseko. Kino kikola nnyo ng’akomyewo awaka n’akusangawo. Ne bw’oba n’ebikunyiizizza, muteereko akaseko akamwaniriza, olwo olyoke omutegeeze ebikunyiizizza ng’amaze okukkakkana.

20. Abasajja abanywa ku kabbiya, omukyala fuba okulaba ng’okuumira kabbiya ke k’asinga okwagala mu fi riigi. Kino kijja kumulaga nti ofaayo okumuwa ebimusanyusa era ajja kukusiima.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dygkzrkx0aed3xr 220x290

Ababaka beekozeemu ekibina ekirwanyisa...

OMUSUJJA gw’ensiri gutta Bannayuganda 16 buli lunaku era ababaka ba Palamenti beekozeemu ekibiina ekigenda okugulwanyisa...

Wattu 220x290

Abadde ategeka embaga afudde banne...

STEVEN KIZZA yasoose kwekubya bifaananyi nga yaakatuuka ku biyiriro. Oluvannyuma yataddeyo ebigere mu mazzi, nga...

Rib2 220x290

Enteekateeka z'omupiira gw'amasomero...

Enteekateeka z'omupiira gw'amasomero ga ssiniya ez'omwaka guno ziwedde

Bada 220x290

Akubye munne ekikonde ekimuttiddewo...

POLIISI y’e Kitintale mu munisipaali y’e Nakawa eri ku muyiggo gw’omuvubuka akubye mutuuze munne ekikonde n’afa....

Kib2 220x290

Crested Cranes etandise okwetegekera...

Crested Cranes etandise okwetegekera world cup