MWANA wange weebale emirimu gy‛okola era nkusiima byonna by‛otukolera.
Naye nafunye ennyiike bwe nakizudde nti mukulu munnaffe akuzaalira ddala tomufaako nga bw‛otufaako era n‛okufa ku bantu b‛omukyala gw‛oli naye.
Mwana wange nkimanyi bulungi nti maama wo teyakukuza naye embeera yonna ogimanyi nti kitaawo yamugaana okulinnya awaka era n‛okukulabako.
Era okimanyi bulungi nti omukyala oyo olw‛omukwano yagendanga ku ssomero n‛akulabako. Kati kiki ekikugaana okumulabirira?
Ekisookera ddala, oli muntu mukulu saagala oyingire mu ntalo za bazadde bo. Balina we baasobya naye omukyala oyo asigala nga maama wo era tolinaayo mulala.
Ekirala, kyannaku nti ffe abataakuzaala otufaako nnyo kyokka Kikyamu okusuulirira omukadde akuzaala ng‛omuzadde ayakuzaala tomufaako.
Sirowooza nti kituyisa bulungi kubanga olina obusobozi okulabirira maama wo. Ate era ne bw‛otandibadde na busobozi bumala, omuzadde kintu kikulu nnyo mu bulamu.
Kino tekitegeeza nti nnyoko alina kufuuka mukwano gwo, nedda era tukimanyi nti tekisoboka kubanga temwakula mwenna.
Naye olina okumuyisa ng‛omwana yenna bw‛alina okuyisa nnyina.
Wano jjuuzi baabadde bamukwatidde mu ddwaaliro nga talina ssente za bujjanjabi, kyokka omukadde akuzaalira omukyala wasobola okumujjanjaba mu ddwaaliro ery‛ebbeeyi era ssente zaali nnyingi.
Mwana wange ky‛osobola okukolera omuzadde omulala gw‛olabye ng‛okuze kikolere owuwo ate oyiseewo.
Ate bw‛oba tokimanyi kino kisinga kugasa ggwe. Okimanyi nti amasimu gaatuuka ne ku mulimu olwa maama okumukwatira mu ddwaaliro era mmanyi banno abaabimanyaako baasigala bakusunga.
Ye olwo kifaananyi ki ky‛owa abaana bo, nga balaba tolabirira jjajjaabwe? Omukyala ono newankubadde wa mu kyalo ye maama wo era tolina mulala.
Mwana wange ensonga eno gifeeko kuba tuswala ate n‛eddiini zonna zigulumiza okulabirira abazadde mu ngeri yonna esoboka era n‛okubassaamu ekitiibwa.