TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abavubuka bye bakola mu laavu ne bibakosa mu bukulu

Abavubuka bye bakola mu laavu ne bibakosa mu bukulu

By Musasi wa Bukedde

Added 20th September 2017

Ate bwe kituuka mu mukwano, abavubuka bagukoleramu ebintu bingi okusobola okusanyusa abaagalwa baabwe oba okubalaga nti babali ku mitima.

Musimenta1 703x422

Hellen Musimenta; Omukwano gw’ekivubuka gwo gutuma ebintu bingi gamba ng’okufuna embuto ekiddirira kuziggyamu oluusi ekivaako n’omuntu obutazaala okutuusa okufa.

BWE muba mu myaka  gy’ekivubuka, buli omu aba  alowooza nti ye mugezi asinga era  bw’otoba mwegendereza nnyo  ate nga n’abazadde bo baabuvunaanyizwa, oyinza okweyonoonera  ebiseera byo eby’omu maaso.  

Kino kirabikira ku bintu  bingi abavubuka bye bakola mu  buvubuka bwabwe olw’ensonga  ez’enjawulo kyokka ne babyejjusa  mu bukulu.  

Ate bwe kituuka mu mukwano,  abavubuka bagukoleramu  ebintu bingi okusobola okusanyusa  abaagalwa baabwe oba okubalaga  nti babali ku mitima.

Bino bye bimu  ku bintu bye bakola ne byonoona  ebiseera byabwe eby’omu maaso.

1 Okwesala emisale oba okwekuba  zi ttatu;  Abavubuka abamu bwe bafuna  abaagalwa, bafuba okulaba nga  bakola ebyo ebisobola okukirizisa  abo be baagala. Muno mulimu  okwekubya ebifaananyi by’abo  be baagala ku mibiri gyabye oba  okwewandiikako amannya gaabwe  ate emirungi mingi nga tebisobola  kuvaako wadde nga baba bakyawaganye.  Kale omuntu n’asigala  nga yejjusa eky’amukoze ekintu  bwekityo.  

2 Okuteeka ebifaananyi  oba okwekwata ku butambi  bw’obuseegu ku mikutu gya  yintaneeti;  Abavubuka abamu balina  omuze gw’okwekubisa ebifaananyi  naddala nga bali mu kisenge nga  bali bukunya oba nga bali mu  kikolwa ky’omukwano ku mikutu  nga Facebook, whatsapp n’emirala  kyokka nga tebisobola kuvaayo.  Kino kitegeeza nti ne bwe bafuna  obutakkaanya n’omuntu yenna aba  asobola okukozesa ebifaananyi bino  okukwonoona wadde ng’okuze.

3 Okwetuuma amannya gabaagalwa  baabwe;  Omuntu okweyita erinnya ly’oyo  gw’aba ayagadde kyandibaddewo  nga bamaze okugattibwa mu bufumbo  obutukuvu nga bafuuse muntu  omu naye abavubuka abamu kino  tebakifaako. Batuuka n’okugakozesa  mu biwandiiko ate tebalwa nga  baawukana nga n’abantu baakumanyiira  era nga tokyayiza kulyeggyako  kale n’osigala ng’olumwa naye  nga tolina kya kukola.  

4 Okutta omukago.  Abavubuka abamu omukwano  gubamalamu ne batuuka n’okutta  omukago nga tebamaze kusalawo  oba ddala omuntu gw’akikoze naye  ye mutuufu. Ekivaamu nga baawukana  sso nga omukago kitegeeza  kugatta musaayi ewatali kwawukana  ekitegeeza bwe mwawukana walina  okubaawo okunyigirizibwa kuba  mulina kwagalana okutuusa okufa.

5 Okuganza abaagalwa abangi;  Abavubuka balina eηηombo  naddala abalenzi y’okugamba nti  bavumbula oba balambuzi era bwe  batyo ne baganza abawala abawerako  nga beerabidde nti abantu baba  babalaba. Abamu bagenda okutuuka  okwagala okuwasa be baagadde nga  balwadde ate ne bw’aba akyusizza  era basigala bamwogerako nga  bw’ali omwenzi ng’ate kavubuka ye  yalinga akuwaga.

6 Ennyambala embi;  Abavubuka k’abeere muwala oba  mulenzi balina enjogeera egamba nti  nze nsanyusa bbebi wange era nkola  by’ayagala, olwo ne bakola ebintu  ebitasaana gamba nga okwambala  enkunamyo ezisusse olw’okuba  omulenzi gw’ayagala mu kiseera  ekyo z’ayagala ate tebalwa nga  baawukana n’asigala ng’abantu  baamumanyidde mu kiti ekyo ne  bw’aba akyuse.

7 Okuggyamu embuto;  Wadde ng’okuggyamu embuto  kimanyidwa nti musango eri  Omutonzi, abavubuka abamu kino  tebakitwala ng’ekikulu nti kibi  okuggyamu embuto ng’ate waliwo  engeri endala ze bayinza okwetangiramu  okufuna embuto zino. Abamu  bakikola lwa butamanya ate abalala  lwa kinyumo ate ne bejjusa mu  biseera by’omu maaso.  

 

ENGERI EBIKOLWA BINO GYE  BIKOSAAMU ABAVUBUKA

1 Okulemwa okufuna eddya;  Abantu abasinga balemeddwa  okuwasa oba okufumbirwa  olw’ebikolwa bye baakola mu buvubuka.  Ky’ova olaba nga ku mikolo  gy’embaga egimu omu ku bagole  asobola obutajja, okugeza omuntu  bw’aba yategese okuwasa oba okufumbirwa  munne ne bamuleetera  ekifaananyi kye nga yeeyambudde  n’omuntu omulala aggwaamu  amaanyi kuba aba akulabira mu  kifaananyi kibi sso nga olumu oba  wakikola lwa buvubuka nga kati  wakula.

2 Okubulwa ezzadde;  Olw’okuggyamu embuto eziwera,  weekanga nga kino kibakosezza  mu butonde era bamu balemererwa  n’okuddamu okuzaala ng’ate omuntu gwe wabikolera yakusuulawo  dda. Kitegeeza ne gw’ofunye  tajja kusobola kugumiikiriza nga  tozaala olw’ensobi ze wakola mu  mukwano gw’ekivubuka.

3 Okwetamwa omukwano;  Abamu baba baagala nnyo bannaabwe  kyokka ate ne babamenya  emitima ekivaako omuntu okwekyawa  n’okukyawa omukwano  nga buli amukwana amulabanga  eyamumenya omutima ekintu  ekitali kirungi. Abamu balemwa  n’okufuna omuntu gw’abeera naye  mu bukulu bwe kuba alaba nga buli  omu muyaaye.

4 Okulemwa emisomo  n’okuzaala kw’oteeteegekedde;  Mu mukwano gw’ekivubuka, kyangu  okulemwa emisomo naddala  ku ludda lw’abawala. Abamu bafuna  embuto ze bateetegekedde ate  nga n’abalenzi abaabibatuusaako  baabasuulawo dda. Kale n’emikisa  gy’okufuna abantu abali ssiriyaasi  giba mitono.

5 Okufuna endwadde;  Abamu bafuna endwadde mu  mukwano gw’ekivubuka nga kino  kiva ku kuganza bawala bangi nga  n’olumu, omuvubuka aba yaakatuuka  ate mu bufumbo obwa nnamaddala  ng’alwala n’abamu okufa.  

Kansala Rebecca Naluyima e Kasubi  omukugu mu kubuulirira abavubuka  wamu ne mbeera zaabwe  agamba nti abavubuka ebikwolwa  bingi bye bakola ebifaananako  ng’ebyo waggulu naye ng’abasinga  babikola lwa kubulwa kubuulirirwa  wadde ng’ebiseera ebisinga ebizibu  byabyo babisanga bamaze kuva mu  myaka gya kivubuka.  

Naluyima alabula abavubuka  okukwata empola ensonga  z’omukwano kuba omukwano  gw’ekivubuka gwandikozeseddwa  kusobola kuzuula muntu mutuufu  ow’okubeera naye mu biseera  by’omu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...