TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Bwe nafuna olubuto omusajja n’angoba

Bwe nafuna olubuto omusajja n’angoba

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd September 2017

Yatandika obutaleka ssente za mmere waka, ennyumba nga tagisasula. Yanzira mu kisenge nga n’oluusi asula wansi.

Nassozi1 703x422

Nassozi

NZE Racheal Nassozi 22, mbeera Maganjo. Mu kusooka okusoma kwange tekwali kwangu kuba muka kitange yakunnemesa era n’angobesa n’awaka.

Nafuna omulimu gw’obwa yaaya era emirimu nnali ngikola bulungi okutuusa mukama wange bwe yangoba ng’anteebereza okuganza bba.

Embeera yankyukira naye waliwo omuvubuka eyali ansaba omukwano mu kiseera ekyo eyasalawo n’antwala ewaabwe kuba gye yali akyabeera, n’annyanjulayo nga mukyala we. Kyokka maama we teyansiima naye ye taata we n’atugamba tubeerewo kuba mu kiseera ekyo nnalina olubuto.

Nabeera mu maka gano naye nga ndi ku maggwa era bwe nnamala okuzaala omulenzi wange n’afuna ssente ne tupangisa omuzigo.

Obulamu bwatandika okutambula obulungi kuba omwami wange yafuna n’omulimu ogutubeezaawo. Mu mukwano omungi nafuna olubuto olwokubiri era ebbanga teryalwa ne nzaala omwana waffe owookubiri.

Bwe nnamala okuzaala, omwami wange n’angamba hhende ku famire pulaaningi, nti abaana ababiri batumala. Nakkiriza ne hhenda mu ddwaaliro ne bankuba empiso ya famire pulaaningi.

Bwe natandika enkola eno, ng’oluusi mbuukamu ennaku. Nagenda ew’omusawo ne munnyonnyola nti sikyagenda mu nsonga n’ahhamba nti ndabika ndi lubuto.

Natya ne mugamba ankebere era ebyavaamu byalaga nti ndi lubuto. Nanoonya engeri gye ngambamu omwami wange, kwe kufuna mukwano gwaffe ne musaba amuhhambire. Olwamugamba yatabuka n’anvuma era okuva olwo yakyusa empisa.

Yatandika obutaleka ssente za mmere waka, ennyumba nga tagisasula. Yanzira mu kisenge nga n’oluusi asula wansi.

Yalaba tekimumalidde n’atandika okungoba mu nnyumba hhende n’abaana bange. Twamuviira ne tufuna akayumba ka 20,000/- naye ekyokulya kyempa abaana oluusi kimbula.

Ntambula ku kyalo nga njoza engoye nsobole okufuna ssente z’okulya.

Kale embeera mbi nnyo naye mu byonna omwami wange nkyamwagala kubanga olubuto nga sinnalufuna twali mu mbeera nnungi.

Ssinga akimanya nti saagenderera kufuna lubuto osanga anaafuna omutima ogunsonyiwa ne tusobola okukuza abaana baffe.

Kati omwana omukulu atuuse okusoma kyokka sirina gye nnyinza kuddukira kufuna buyambi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...