TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ensonga lwaki omukazi omufumbo talina kusuulirira ensonga z’ekisenge

Ensonga lwaki omukazi omufumbo talina kusuulirira ensonga z’ekisenge

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd October 2017

Ensonga lwaki omukazi omufumbo talina kusuulirira ensonga z’ekisenge

Ex1 703x422

Omukazi bwe yeegatta omubiri gwe n’obwongo bikkakkana.

OMUZANNYO gw’abafumbo mpagi nkulu mu maka, era ssinga abafumbo balemwa okugituukiriza obufumbo butandika okuyuuga. Wabula ng’oggyeeko okunyumirwa n’okwesanyusa, bannassaayansi bazudde nti ssinga omukazi asuulirira omuzannyo guno, ayinza okufuna obulwadde obukosa obukyala bwe.

Embeera eno emanyiddwa nga “Vaginal Atrophy”. Ereetera obukyala okukalira ddala, ebisenge ebiri mu bukyala nabyo bikogga era nga kino kibaawo olw’ekirungo kya “estrogen” okukendeera mu mubiri.

Ekirungo kino kye kivunaanyizibwa okukola ebirungo ebiyamba omukyala mu nsonga z’okwegatta n’okuzaala. Embeera eno wabula esinga kubaawo mu bakyala abatakyagenda mu nsonga (menopause) wadde ng’oluusi yeeyolekera ne mu bakyali abato naddala ssinga ekirungo ekyo ekya “estrogen” kiba kikendedde mubiri gwe. Oluusi ebaawo mu bakyala abajjanjabwako obulwadde bwa kookolo naddala abo abajjanjabwa kookolo w’amabeere.

Okunywa sigala nakyo kitaataaganya entambula y’omusaayi mu mubiri ekiremesa obukyala n’ebitundu by’omubiri ebirala okufuna omukka gw’obulamu (oxygen) nga kino kikaza obukyala.

Omukyala afunye ekizibu kino buli lw’agezaako okwegatta alumizibwa, afuna okusiiyibwa mu bukyala ssaako n’okubabuukirirwa nga n’oluusi asobola okufuna endwadde ezikwatagaana n’akawago.

Asobola n’okufuna obuzibu mu kufuyiisa olw’enkwatagana eri wakati w’obukyala n’akawago. Noolwekyo olw’okuba ebinywa ebifuga ebitundu bino biba tebikola y’ensonga lwaki afuna obuzibu bw’ekika kino.

Ekizibu nti abakazi abafuna embeera eno balowooza nti bulwadde bwa kikaba era nga babuggye mu kwegatta sso nga kino kiba kikyamu. Dr. Isma Jjuuko ajjanjaba abakyala bw’alwawo okwegatta kizibuwala okufulumya ebicaafu byonna ebiyinza okuba mu bukyala.

Yagambye nti, omukazi bwe yeegatta, amazzi agafulumizibwa omusajja wamu n’omukazi gayambaako okulongoosa munda mu bukyala era nga gafuluma n’obuwuka bwonna obwandibadde buwagamira munda mu bukyala. Mu mbeera eno omukyala eyeegatta abeera muyonjo okwawukanako kw’oyo ateegatta kuba aba tafulumya bicaafu biri munda mu ye ekiyinza okumulwaza.

Newankubadde abantu abamu balowooza nti embeera eno esobola okukuggya ku kwegatta lubereera, kino kikyamu kuba okutuuka ku ntikko kisobola okukuyamba okweggyako obubonero obwoleka obulwadde buno. Kino kiri bwe kityo kuba okutuuka ku ntikko kwongera ku sipiidi omusaayi kwe gutambulira naddala mu bitundu by’ekyama era okutuuka ku ntikko kigeraageranyizibwa n’okukola dduyiro.

Okusinziira ku Louis Mazanti ow’e Bungereza, kiba kirungi okuba n’obulamu obulungi mu nsonga z’okwegatta ne bw’otoba na mubeezi wa buli lunaku, ssaako okwewa essanyu kuba kiyamba okugoba obubonero buno.

Annyonnyola nti ssinga obusimu (cells) tebufuna mukka omulamu (oxygyen) ogumala tebusobola kufulumya bucaafu era nga kino kisobola okuvaako obuzibu ng’okukaza ebisenge by’obukyala. Agamba nti ssinga obucaafu obungi bukuηηaanira mu bukyala nakyo kiremesa omukka guno ogwa “oxygen” okutuuka mu bukyala ekiviraako ebinywa okukogga n’okukendeera amaanyi.

Mazanti agattako nti okubulwa obwagazi obwegatta tekikosa mubiri gwokka, wabula n’obwongo. Yagasseeko nti ssinga obwagazi bw’okwegatta bukendeera, kikyusiza ddala embeera z’omuntu kuba abeera yeebuuza oba akyali mukazi atuukiridde ekiyinza okukosa obwongo bwe olwa situleesi.

OBUBONERO BW’OBULWADDE BWA (VAGINAL ATROPHY)

Okukala obukyala.

Okubabuukirirwa naddala ng’ofuuyisa.

Okubundula amazzi.

Okusiiyibwa.

Okwagala okufuuyisa buli kiseera,

Endwadde eziva mu musulo (Urinary Tract Infections)

Okuvaamu olusaayisaayi oluvannyuma lw’okwegatta. Obutaba na mirembe nga weegatta.

Obutaba na mazzi ga kyama nga weegatta

Okuyimpawa n’okufunda kw’obukyala.

ENZIJANJABA Osobola okukozesa ebintu ebigonza olususu n’okwongera amazzi mu bukyala okugeza (moisturisers ne lubricants) n’onyumirwa okwegatta. Bino obikozesa buli luvannyuma lw’ennaku bbiri oba ssatu era kino kisobola okuyamba ebbanga eriwerako okusinga ‘lubricator’.

Bwe watabaawo nkyukakyuka, genda mu ddwaaliro ne bakuteeka ku “oestrogen therapy” ng’eno eyamba omubiri okuddamu okuzaala ekirungo kya ‘oestrogen’. Ebizigo (creams) bisobola okuteekebwa mu bukyala buli lunaku okuzzaawo ebinywa mu bukyala ne bufuna omubiri ogumala.

Waliwo n’amakerenda agakomyawo ekirungo kya “oestrogen” ssinga ogamira.

EBIZIBU EBIRALA EBIVA KU BUTEEGATTA Bernah Nalwoga omukugu mu kubudabuda abantu ku Uganda Cares agamba nti abakyala abasinga bwe balwaawo okwegatta beesanga nga balumwa omugongo kyokka okulumwa omugongo kuno kuva ku kuggaana kwa mazzi ga kyana (semenal fl uids) nga mangi nga tegalina wegafulumira era puleesa ebeera mu kitundu wegakuganidde yeviraako obulumi buno.

Ayongerako nti singa omukyala amaala ebbanga eddene nga teyegatta namala naddamu okwegatta asobola okulwaawo okuleeta amazzi gekyaama agasooka agayamnba omwaami okuyingira munda.

Omukyala ategatta abeera ne situleesi nyingi okusinga oyo ayegatta kuba aba talina ssanyu liyinza kumuyamba kuwumuza birowoozo.

1Omukazi bw’aba tafuna kaboozi kikosa enkolagana ye ne munne era oluusi enjawukana eyinza okuva wano amaka ne gafa. Wabula ssinga omukyala atuuka mu mbeera nga munne takyasobola bya kwegatta, bayinza okukola ebintu nga okwenywegera, okweweeweeta, okwegabira ebirabo ne kalonda omulala abayamba okusigala nga bali mu mukwano wadde okwegatta kuyinza obutabaawo.

2 Abakazi bwe balwawo okwegatta batandika okwekubagiza.

Bannassaayansi bagamba nti enkwaso z’abasajja zirimu ekirungo ekiyamba okucamula abakazi ne baba basanyufu.

3 Obuteegatta kireetera omukazi okulwala sennyiga kuba akaboozi kayamba omubiri okulwanyisa endwadde.

4 Omukyala bw’ateegatta ebirowoozo tebimubeera wamu ekimulemesa okweyagala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono