TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebyokulya omukazi by’alina okwewala ng’agenda mu kisenge

Ebyokulya omukazi by’alina okwewala ng’agenda mu kisenge

By Musasi wa Bukedde

Added 10th October 2017

Mu mbeera yaffe eyobuwangwa omukyala bw’aba agenda okusisinkana omwami asaanidde okweteekerateekera ekiseera ekiwanvuko okugeza alina okulya n’atwala obudde bwa ssaawa nga bbiri ate ebyokulya ebimu ng’ebyennyanja n’amagi ag’empogola alina kubirya misana bw’aba waakumusisinkana kiro.

Hamidah1 703x422

Ssenga Hamidah

“MUKYALA owange okuvaamu olusu mu mbugo kye kyampaliriza okufuna omukyala owookubiri ne ntuuka n’okugaba ebiyungu.

Okukola kino nabulwa engeri gye mugambamu ekizibu ky’alina kubanga nalaba nga kinene kiyinza okutuviiramu okutabuka ssinga mugamba nanyiiga.”

Eyo y’emboozi y’abasajja be nagwiikirizza mu tonninyira emu akawungeezi mu Kampala.

Embeera y’okuvaamu olusu mu mbugo kizibu kya maanyi mu bakyala era abasajja bangi abalemeddwa amaka nga babuliddwa engeri y’okukyogerako.

Ekizibu kino kiva ku bintu bingi ng’abakugu mu nzijanjaba y’ekizungu bannyonyola kwe kiva kyokka ate ne mu buwangwa waliwo abiwanuuzibwa nti oluusi kiva ku bika bya mmere omukyala gy’alya.

Hamida Namatovu omukugu mu kubuulirira abantu ku nsonga z’omukwano agamba nti waliwo ebyokulya ebitasaanidde kuliibwa mukyala ssinga aba agenda mu kikolwa ky’omukwano, kubanga ebimu bimanyi okufuluma omubiri mu mpunya etali nnungi okutuukira ddala mu mbugo.

 kyennyanja ekisiike Abantu bangi bawoomerwa nnyo kyennyanja ekisiike

 

“Ebimu ku byokulya omukazi by’atasaanidde kulya ng’agenda okwegatta mulimu ebyo byonna ebivaamu akawoowo okugeza amagi ag’empogola, ffene ebyennyanja, ebinyeebwa n’ebirala bingi.

Bino bw’omala okubirya okugeza ebinyeebwa buli lw’oyogera ovaamu olusu ekitamya munno embeera naddala bw’aba nga tabiriddeeko,” bwatyo Namatovu bw’agamba.

Agattako nti; Omukyala assa emirundi ebiri, ng’okusooka gwe gw’omu kamwa, ate omulala kwe kw’omu bitundu by’ekyama.

Kino kitegeeza nti ssinga abeera alidde ekintu ekivaamu olusu ng’eggi ly’empogola atuuka ekiseera akasu ako ne kafulumira mu bukyala, era bw’aba yeegatta ne munne akasu ako akawulira.

Ekirala, mu mbeera yaffe eyobuwangwa omukyala bw’aba agenda okusisinkana omwami asaanidde okweteekerateekera ekiseera ekiwanvuko okugeza alina okulya n’atwala obudde bwa ssaawa nga bbiri ate ebyokulya ebimu ng’ebyennyanja n’amagi ag’empogola alina kubirya misana bw’aba waakumusisinkana kiro.

Wabula Namatovu yagambye nti okugeza bw’oba olidde ekyennyanja mu kiseera ng’ogenda okusisinkana munno, nywerako omubisi ogukamuddwa mu nniimu, ejja kusaabulula olusu lw’ekyennyanja.

Agattako nti amazzi g’omujaaja nago gakola kinene mu kusaabulula olusu lw’ekintu kyonna ky’oba olidde. Fumba omujaaja nga muka ogunywe nga gukyabuguma.

W’onootuukira mu kisenge embeera ejja kuba eteredde. Wabula ku ludda lw’ebyobulamu Dr. Baker Kalema okuva mu ddwaaliro lya Victoria e Nateete yagambye nti okuwunya kw’obukyala kuva ku bintu bya njawulo nga mwebyo ebyokulya tebiriimu.

Agamba nti obukyala bwatondebwa mu ngeri ya njawulo era ng’enkula yaabwo tekwatagana na byenda omuyita emmere eriibwa.

“Ebyenda ebitambuza emmere tebirina we bikwataganira na nkula ya bukyala kubanga ekyenda ekitambuza emmere kigukkira mabega ate enkula y’obukyala ekwatagana na bitundu nga nnabaana era bino byeyawulidde ddala n’ekyenda kale tewali muntu mmere gy’alidde bweyinza kufulumiza mukka mu bukyala.

 

EBIREETA AKASU

Ebintu bitaano ebivaako empunya embi mu bukyala nga kuliko; 1 Yinfekisoni (infections);

Zino zirimu ebika nga “Tricomonas Vaginalis” era abulwadde bumuleeta amazzi aga kyenvu era gano ge gabeera gawunya. Waliwo ekiyitibwa ‘Clamedia ‘nga mu mbeera eno amazzi agava mu bukyala gabeera mu langi ya kiragala era gano nago gabeera gawunya.

Waliwo ‘Candida’ ng’ono y’asinga okutawaanya abakyala abasinga era naye aviirako okuwunya kw’obukyala. 2 Ebizimba bya nnabaana nabyo ensangi zino biri nnyo mu bakyala ne bawunya nga tebamanyi buzibu we buva ekigoba abaami.

3.Okunaaba ssabbuuni mu bitundu by’ekyama; Obukyala bwatondebwa nga bulimu obuwuka obulwanyisa obucaafu munda eyo nga buyitibwa “Candida Albicans”. Ssinga omukyala anaabayo ne ssabbuuni kireetera obuwuka obwo okudduka ne wasigala ng’obucaafu obuyingirayo tewali kibulwanisa ekireetera okuvaamu olusu.

4. Okugenda mu nsonga; Kino kireeta okuwunya ssinga omukyala alemererwa okweyonja obulungi ng’ali mu mbeera eno. Enneeyonja entuufu yandibadde nti omukyala akyusa paadi waakiri emirundi esatu olunaku oba okusingawo okusinziira ku ngeri gy’ayisibwamu. Oli bw’aba tafuddeeyo kiyinza okumuviirako okuwunya ng’amaze okuzivaamu kale kisaana okwegendereza.

5 Okwekapika mu bugoye obukwata ennyo ate oli n’abubeeramu okumala ekiseera ekiwanvu n’atuuka okubuggyamu ate n’alemererwa okunaaba obulungi nakyo kiyinza okuvaako okuwunya naddala ssinga kituuka ku muntu ayambala engoye ezimukwata.

6 Obutayagala kunaaba nakyo kireeta okuwunya mu bakyala. Omukyala yandibadde anaaba emirundi ebiri olunaku eri abakola naye ssinga aba asiibye ewaka waakiri gyandibadde esatu nga kino kiva ku ntondebwa yaabwe eyawukana ku basajja.

7 Obuteesalira bulungi; Kino nakyo kireetawo akasu kubanga amazzi g’ekyama bw egeegatta mu ntuuyo, kiba kizibu omuntu obutafuna lusu.

ENGERI EBYOKULYA GYE BIREETA OLUSU

Dr. Kalema agamba nti okusinziira ku butonde bw’abakyala tewali ngeri lusu lwa byakulya gye luyinza kufulumira mu bukyala wabula ssinga omukyala abeera akutte ku kintu ekiwunya n’atuuka okutawaaza nga tasoose kunaaba bulungi ngalo kutukula kiyinza okumuviirako okuwunya kye yakutteko.

Waliwo ebintu ebirina olusu olw’amaanyi nga teruva mangu ku ngalo okugeza obutungulu, empuuta, ffene, bino omukyala bw’aba abiridde yandibadde asooka kunaaba yenna era n’akakasa nti atukudde bulungi engalo olwo n’alyoka atawaaza.

Namatovu agamba nti okuwunya mu bukyala kulina eddagala eriwerako ng’erimu ku lino kuliko; okunywa ennyo emicungwa oba enniimu, akadagala akamanyiddwa nga mubiri, ekibwankulata nga kino bakyambala bwambazi n’okukinywa, nabbigira n’eddala lingi erivumula ekizibu kino.

Ebirala ku nsonga eno ojja kubiyigira mu musomo gwa Ssenga wa Bukedde ogunaabaawo nga October 21, 2017 ku Freedom City e Namasuba nga Ssenga wa Bukedde wamu ne bassenga abalala okuli ne Hamida Namatovu nga bawagala laavu yo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Burn 220x290

Gen. Kayihura ayagala amateeka...

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura asabye okuyusa mu mateeka okusobola okuvunaana muntu akwatiddwa...

Xlarge514749 220x290

Omuzungu eyali ne munne n'afiira...

OMUZUNGU munnansi wa Finland Suvi Linden, eyali ne munne Terasvouri Tuomas Juha Patteri, eyasangibwa ng’afiiridde...

Linda1 220x290

Abadde yeerimbika mu banene n’abba...

POLIISI ekutte omuvubuka abadde yeerimbika mu byokwerinda n’okweyita owooluganda lw’abantu ababa bategese emikolo...

Pala 220x290

Omujulizi aguddemu ekidumusi omusango...

OMUJULIZI abadde azze okulumiriza Abasiraamu mu musango gw’obutujju n’okulya mu nsi olukwe alumbiddwa embiro kkooti...

Kabi 220x290

Abajaasi bakkirizza okwagala okuwamba...

BANNAMAGYE bana abavunaanibwa omusango gw’okulumba enkambi y’amagye e Kabamba ne Kalama n’ekigendererwa ky’okuwamba...