TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja bw’atandika obuteesiga mukyala we ng’akabi kazze

Omusajja bw’atandika obuteesiga mukyala we ng’akabi kazze

By Musasi wa Bukedde

Added 10th October 2017

OMUSAJJA okutandika obuteesiga mukyala we kitera kuva ku musajja nga yafunyeeyo omukazi ow’ebbali.

Mistrust 703x422

OMUSAJJA okutandika obuteesiga mukyala we kitera kuva ku musajja nga yafunyeeyo omukazi ow’ebbali.

Atandika okulaba ow’awaka ng’ekisiraani nti era amuloga wamu n’okuloga omukyala oli omugole.

Era oluusi n’oli omugole n’ayongeramu n’omunnyo ng’ategeeza nga bw’atandise okugwirwa ebimbe naddala okuvaanu embuto.

Jjukira abakazi bano ab’ebbali batera okuba bamalaaya abamanyi obukodyo bw’okulya ensimbi z’abasajja era nga bamanyi nti okwongera okubasikamu ssente balina kulaga nabo bwe baagala okubazaalira abaana naye ng’omukazi ow’awaka abakoledde eddogo eribaggyamu embuto. Kino nno kitera okutabula abasajja era gye bikkira nga batandise okulaba abakyala b’awaka nga ba ‘aduuyi’!

Batandika okulangira abakyala b’awaka bano obulogo ne batandika n’okwekengera emmere gye balya awaka. Omukazi ne bw’ateeka omunnyo mu nva, batandika okugulaba ng’eddogo.

Era oluusi gye bikkira nga n’entalo zibaluseewo mu maka. Abamu bakoma okulya emmere awaka olw’okutya eddogo lya mukyala mukulu, olwo ate olw’okuba tebakyalya waka olwo nga n’emmere bakoma okugigula anti nga tebakyalaba nsonga ebaguza mmere gye batalya.

Era mu nnaku enkulu abakazi bangi ab’awaka abatafuna wadde akanyama oba olugoye olw’okubalanga obulogo.

Omusajja eyeeyisa mu ngeri eno ayinza okumala ebbanga nga talinnyeeko waka, obudde bwonna abumalira wa mugole mu ngeri y’okunyweza omukwano n’okwewala okutambuza eddogo lya mukyala mukulu okulireeta ewa mukyala muto.

Era omugole okwongera okwefunza omusajja assaawo embeera eraga nti omusajja buli lw’agendako mu maka ge avaayo n’ebimbe mukyala mukulu by’asindikira omugole asobole okumudibya.

Ekyewuunyisa, ate ssinga omusajja ssente zitandika okukeewa, olwo omugole aba takyalaba buzibu bwonna ssinga omusajja obudde obusinga aba abumalira mu maka ge era olwo ng’amujjukiza nga bw’atateekeddwa kusuulirira buvunaanyizibwa bwe obw’okulabirira abaana be n’omukyala, kubanga bw’abasuulawo olwo bajja kwetikka ye (omugole).

Omanyi ye malaaya tayagala bwavu; era bwezikuggwaako ng’atandika okukulaba ng’omuziina!

Ate abasajja bano olwo ng’atandika okuvaabira emmere gye yalangiranga omukazi w’awaka nti amuteereddemu eddagala!

Oyo ye sitaani nga yakyadde! Atuusa omusajja okwekengera buli mukazi ky’akola awaka. Ne bwe kuba kumwoleza ngoye ze, alaba ng’omukazi akikoze lwa kwagala kumuteeramu ddagala limuloga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Looya1 220x290

Lukyamuzi ne Bwanika basabye kkooti...

EYALI omubaka Ken Lukyamuzi atutte akakiiko k’ebyokulonda mu kkooti Enkulu ng’ayagala ekalagira kayise ekiragiro...

Kasimba 220x290

Abeddira akasimba basonda za kuzimba...

Yategeezezza nti ekika kirina enteekateeka y’okuzimba ekizimbe gaggadde ekituumiddwa 'Akasimba Plaza' okukolerwa...

Seb1 220x290

Hanson Baliruno akubye abawagizi...

Hanson Baliruno akubye abawagizi be omuziki ne yeebaza Katonda olw'ekirabo eky'obulamu

Cot1 220x290

Abalamuzi bayimirizza akeediimo...

ABALAMUZI bakyusizza obukodyo bw’okusaba Gavumenti ebongeze emisaala ne bayimirizza n’okwekalakaasa kwe babadde...

Fdc1 220x290

Salaamu Musumba alangidde ababaka...

OMUMYUKA wa Ssabawandiisi wa FDC Salaamu Musumba alangidde ababaka ba Palamenti ‘’obufere’’ n’ategeeza ng’ekibiina...