TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebintu ebireeta obunkenke mu bufumbo ne bufa

Ebintu ebireeta obunkenke mu bufumbo ne bufa

By Musasi wa Bukedde

Added 10th October 2017

OBUFUMBO bw’ensangi zino okubuwangaaza abaagalana bateekwa okuba abagumiikiriza.

Bunkenke1 703x422

Aboomukwano mu kifo ekisanyukirwamu gye buvuddeko.

OBUFUMBO bw’ensangi zino  okubuwangaaza abaagalana  bateekwa okuba abagumiikiriza. 

Waliwo ebintu ebibaawo  mu bufumbo ne bibussa  ku minzaani okukkakkana  ng’oluusi obufumbo busaanyeewo.    

1 Abasajja okusuula  obuvunaanyizibwa bw’awaka,  okugeza obutagula mmere,  obutalabirira baana, okusasula  ennyumba ne kalonda  omulala. Omusajja bino  bw’atabikola aba asindise  mukyalawe mu bikemo  by’abasajja abalala asobole  okufuna ssente eziyimirizaawo  amaka.

2 Okuyombayomba nayo  nsonga nnene eteeka obufumbo  ku minzaani era bwe mutaba  beegendereza obufumbo  buyinza okusaanawo naddala  oyo atayagaka bya kuyomba  bw’asalawo okutambulamu.

3 Okusomba abeηηanda.  Ssinga kino mwembi muba  mukikkiriziganyizzaako kiyinza  obutaba na buzibu, wabula  obuzibu we bijjira y’omu  okuba ng’asomba abantu be  abajjuza awaka ate ng’omulala  talinaawo wadde omu. Famire  buli lw’egejja erina engeri  gy’ekosa mu nsawo n’oluusi  ekivaamu oyo atalina bantu  waka okubeetamwa oluusi  n’atandika okubayisa obubi.

 

 

4 Abakazi abaleeta  abeηηanda zaabwe abawala  awaka nabo oluusi bateeka  abaami baabwe mu  bikemo okukkakkana  nga babaganzizza,  ekireeta  empalana mu  famire.

5 Obutasirikira  bya mu nnyumba  nakyo kireeta  obutabanguko mu  maka era oyo atatambuza  bigambo  atandika okwetamwa  munne n’oluusi obufumbo  n’abwetamwa.

6 Obutabaawo mpuliziganya  mu maka. Omukwano  gwetaaga naye abafumbo  abamu beefuula abakola  ennyo ne batafaayo kumanya  bifa ku bannaabwe olunaku  lwonna. Ow’ekika kino  bw’afunayo omuntu afaayo  okumanya ebimukwatako  kyangu okuwuguka.

7 Obutakkiriza nsobi  kye kimu ku bitabula abaagalana  era bangi beetwamwa  abaagalwa baabwe lwa  kubasobya ate ne bagaana  okukkiriza ensobi zaabwe.

8 Okuleka munno  awaka olubeerera ng’ogenda  okucakala nakyo kimussa mu  bikemo n’atandika okunoonya  engeri naye gye yeesanyusaamu.  Oluusi mu kunoonya  b’asanyuka nabo gy’asobola  okugwira ku balina ebigenderwa  ebikyamu ne bamutuusaako  obulabe.

9 Okusuula obuvunaany ibwa bw’omu kisenge. Abaagalana  bonna kasita omu ku  bbo abeera ng’ebyokwegatta  si by’aliko kitegeeza abeera  tamwagala era kino kimussa  ku maggwa ng’alaba talina  mugaso gy’ali.

10 Obwenzi kye kimu  ku biteeka obufumbo ku  minzaani naddala ng’omu  ategedde nti munne alinayo  abalala b’apepeya nabo  ebbali. Oluusi ekivaamu  nga n’ono abadde teyeenyigira  mu bwenzi abutandika  mu ngeri y’okwesasuza.  Ekivaamu ge maka okufi ira  ddala.

11 Okwagala ennyo  ssente. Kino kiri nnyo ku  bakazi. Omukazi ayitiriza okwagala  ssente ateeka munne  ku magwa n’atandika okumweraliikirira  era nga bwabeera  talina ssente n’awaka  atya okuddayo kubanga  ajja kumusaba ssente nga  tazirina.

12 Omwenge  n’okukozesa ebiragalalagala  nabyo oluusi bissaawo  okusika omuguwa mu bufumbo  naddala nga munno  takombako. Abamu bwe  batamiira olwo ab’awaka  basula ku tebuukye, sso nga  bwe baba tebanyweddeemu  baba bantu balamu.

13 Okuyingiza emikwano  mu nsonga z’amaka  gammwe nakyo kireetawo  obukuubagano mu bufumbo,  naddala nga buli ekibatuukako  mukitegeeza mikwano  gyammwe. 

Joyce Mbatudde Nakakaawa  akola ku nsonga z’amaka  e Kibiri, Busaabala agamba  nti ebintu ebisinga ebiteeka  abaagalana ku bunkenke  byewalika ssinga buli omu  afuula omwagalwa we mukwano  gwe asooka.

  Agamba nti bw’oba oyagala  munno oteekwa okukola  ebyo byokka ebitaamunyiize.  Ekirala mufune ekiseera  okubeerako mwembi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Looya1 220x290

Lukyamuzi ne Bwanika basabye kkooti...

EYALI omubaka Ken Lukyamuzi atutte akakiiko k’ebyokulonda mu kkooti Enkulu ng’ayagala ekalagira kayise ekiragiro...

Kasimba 220x290

Abeddira akasimba basonda za kuzimba...

Yategeezezza nti ekika kirina enteekateeka y’okuzimba ekizimbe gaggadde ekituumiddwa 'Akasimba Plaza' okukolerwa...

Seb1 220x290

Hanson Baliruno akubye abawagizi...

Hanson Baliruno akubye abawagizi be omuziki ne yeebaza Katonda olw'ekirabo eky'obulamu

Cot1 220x290

Abalamuzi bayimirizza akeediimo...

ABALAMUZI bakyusizza obukodyo bw’okusaba Gavumenti ebongeze emisaala ne bayimirizza n’okwekalakaasa kwe babadde...

Fdc1 220x290

Salaamu Musumba alangidde ababaka...

OMUMYUKA wa Ssabawandiisi wa FDC Salaamu Musumba alangidde ababaka ba Palamenti ‘’obufere’’ n’ategeeza ng’ekibiina...