TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okulabankana mu mukwano kimalamu munno amaanyi

Okulabankana mu mukwano kimalamu munno amaanyi

By Musasi wa Bukedde

Added 10th October 2017

Bw’obeera owugulwa abantu abalala gw’oli naye n’omuggyako ebirowoozo osiiga ekifaananyi ekibi nti tojja kusobola kumunywererako era ayagala omubeezi ow’obuvunaanyizibwa atandika okukuba ttooki mu biseera by’omukwano gwammwe ogw’omu maaso oba onoosobola okubeera omukyala oba omwami omutuufu.

Bantu1 703x422

Bano baabadde mu kivvulu kya Walukagga e Makindye.

ENSISINKANO esooka nga mugenda okutandika omukwano ebeera nkulu nnyo. Ebintu by’okola ku nsisinkano esooka munno w’ayinza okutandikira okumanya omuntu gw’atandiseeko bw’anaabeera.

Waliwo boolabirawo nga bayinza okuvaamu omulamwa mu nsonga z’omukwano oba obufumbo bwennyini ate omulala nga ddala ssi wa buvunaanyizibwa olwo n’atya okukwetantala.

Ekimu ku bisinga okumalamu amaanyi kwe kubeera ne munno ku nsisinkano esoose ate n’odda mu kulabankana n’abantu abalala.

Bbo abasajja balina omuze gw’okugobereza amaaso buli mukazi ayitawo naddala nga bali mu kifo eky’olukale ng’ebbaala, ekirabo ky’emmere n’awalala.

Abamu babeera mu kwetegereza bubina bw’abakazi ababayitako, siriiti eziri ku ngoye ze bambadde, obulungi, engeri gye ‘babiipinze’ amabeere n’ebirala.

Abamu nno kye babeeredde batera okubiwereekeza ebigambo okugeza omuwala ng’asibye ‘ddiifu’ oba aliko ekikolo, abalala nti aliko ffi ga so ng’abamu batuuka ne ku nnyambala naddala ng’oli ali mu mmini n’omulabira ddala nga bamututte ebirowoozo.

Omukazi gw’obeera osisinkanye ku mulundi ogusoose bw’akulaba ng’omaguka na buli mukazi ayitawo kimumalamu amaanyi n’akulabira ddala ng’omusajja atayisa sikaati. Kino kitandika okumweraliikiriza ne yeebuuza omusajja gw’ali naye oba anaasobola okuwangaala naye mu mukwano.

Ne ku bakazi nakyo kiwa ekifaananyi ekibi ssinga otandika okwegomba omusajja omulala oba obutamuggyaako liiso ku mulundi ogusoose nga musisinkanye n’omuntu gwe mutandika okukola naye omukwano.

Omuwala nga yafunye omusajja amusanyusa naddala ng’ayambadde bulungi, alina ffi ga ennungi tatera

Okulabankana mu mukwano kimalamu munno amaanyi kumuggyako liiso era emirundi egisinga abeera yebbirira amutunuleko.

Embeera eno amalamu amusajja gw’oli naye amaanyi n’akulaba ng’ebirowoozo byo bwe bitwaliddwa omusajja oli omulala. Wano abamu we bapimira omuntu gw’atandiseeko ky’amusuubiramu.

Bw’obeera owugulwa abantu abalala gw’oli naye n’omuggyako ebirowoozo osiiga ekifaananyi ekibi nti tojja kusobola kumunywererako era ayagala omubeezi ow’obuvunaanyizibwa atandika okukuba ttooki mu biseera by’omukwano gwammwe ogw’omu maaso oba onoosobola okubeera omukyala oba omwami omutuufu.

Abuulirira abaagalana ku nsonga z’omukwano, John Ddamulira owa Nana Counselling services e Kireka agamba nti olina okuwa ekitiibwa omuntu gw’osazeewo okusisinkana nga mutandika omukwano n’otodda mu kulabankana na balala.

Agamba nti okulabankana n’abantu abalala kiwa ekifaananyi nti omuntu gw’oli naye kyangu okuwuguka omutima n’agenda n’abalala ssinga mubeera mutandise omukwano oba nga mufuuse abafumbo.

Agamba nti leka munno gw’oli naye ayogere ku muntu okugeza omukazi ayogere ku mukazi munne ku lugoye lw’ayambadde oba akabina k’asibye olwo naawe olyoke okatunuleko oba okoogereko.

Ddamulira agamba nti ate omuntu gw’oli naye bw’abeera nga y’akyogeddeko leka kukirwako nnyo kuba abamu babeera bakema okumanya obugumu bw’omutima gwa munne gw’ali naye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Looya1 220x290

Lukyamuzi ne Bwanika basabye kkooti...

EYALI omubaka Ken Lukyamuzi atutte akakiiko k’ebyokulonda mu kkooti Enkulu ng’ayagala ekalagira kayise ekiragiro...

Kasimba 220x290

Abeddira akasimba basonda za kuzimba...

Yategeezezza nti ekika kirina enteekateeka y’okuzimba ekizimbe gaggadde ekituumiddwa 'Akasimba Plaza' okukolerwa...

Seb1 220x290

Hanson Baliruno akubye abawagizi...

Hanson Baliruno akubye abawagizi be omuziki ne yeebaza Katonda olw'ekirabo eky'obulamu

Cot1 220x290

Abalamuzi bayimirizza akeediimo...

ABALAMUZI bakyusizza obukodyo bw’okusaba Gavumenti ebongeze emisaala ne bayimirizza n’okwekalakaasa kwe babadde...

Fdc1 220x290

Salaamu Musumba alangidde ababaka...

OMUMYUKA wa Ssabawandiisi wa FDC Salaamu Musumba alangidde ababaka ba Palamenti ‘’obufere’’ n’ategeeza ng’ekibiina...