TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eby'abadde mu musomo gwa ssenga tebiggwa malojjo;Tubikuleetedde mu bujjuvu

Eby'abadde mu musomo gwa ssenga tebiggwa malojjo;Tubikuleetedde mu bujjuvu

By Musasi wa Bukedde

Added 24th October 2017

Eby'abadde mu musomo gwa ssenga tebiggwa malojjo;Tubikuleetedde mu bujjuvu

Sen1 703x422

EDITH Mukisa y’omu ku baasomesezza mu musomo gwa Ssenga wa Bukedde ogwategekeddwa mukyala mukugu mu kubudaabuda abantu ku nsonga z’omukwano n’obufumbo.

Obuyonjo mu maka y’emu ku nsonga ezikuuma omwami ne batabaliga. Abakazi b’ebbali ekibawa enkizo okutwala abaami abafumbo, omwami n’abeera nga buli kiseera awulira ayagala kuba na mukyala oyo kuba buli lw’ageraageranya ekiri mu maka ge bw’atuuka ng’omukyala amusanga mu mujoozi mw’asiibye ne ki leesu ky’ebituli, taleeze mabeere, omwana yayonoonye mu kisenge ne batalongoosa atuuka ne yeetamwa awaka.

OMUKYALA ENGERI GYE YEEYONJAAMU

Omutwe; Abakyala tusiba enviiri wabula waliwo ekika ky’enviiri eziyitibwa (dread locks) soma duleedi. Enviiri zino omukyala bw’aba azisibye zitera okumalayo emyezi esatu oba mukaaga nga takyusizza era abakazi bazettanira kuba zikekkereza. Kino ku ludda mbeera y’omukwano kimalako omusajja obwagazi.

Enviiri ezo bwe ziba zimaze zitandika okuwunya. Munno agenda okukusemberera ng’ayagala okukunywegera enviiri ne zimuwunyirira ne yeetamwa era kino kitta mmuudu.

Akamwa; Kino kye kitundu ekisinga obucaafu ku mubiri naye abantu tebakimanyi. Bw’oba ogenda okwebaka wandisoose kusenya ate n’ekirala omukyala yenna kyandibadde kirungi mu nsawo yo ey’omu ngalo n’oteekamu eddagala ly’amannyo akatono n’akasenya akatono n’otambula nabyo okukuuma akamwa ko nga kayonjo essaawa yonna.

Ekikozesa ekyo, abaami baffe obwetaavu bwabwe gye tuli bubatuukako essaawa yonna. Okugeza osobola okuba ku mulimu n’akuyita mugende ku kyemisana era oluvaawo nga mulina okwegatta. Kale omukyala osaanye okubeera obulindaala. Amatu; Abantu abamu bafaayo okulongoosa mu matu munda ne beerabira wabweru waago sso nga nawo waba wacaafu.

Amatu gasaana kuyonjebwa ennyo kuba eyo watera okuvaayo ekisu era kino kyangu munno okukiwulira ssinga agezaako okukunuunako ku kutu kale wandifubye n’ogayonja. Enkwaawa; Omukyala w’omanyira nti enkwawa zo ncaafu olabira ku lugoye kubanga enkwawa encaafu ziteeka ekko erikola langi mu nkwawa z’olugoye. Enkwawa tezeetaaga kubaamu kooya konna.

Omukyala osaanidde okubeera n’akawoowo ka (deodorant) soma diyodolanti. Kano kayamba enkwawa okubeera enkalu n’otatuuyaanirira kubanga okutuuyana kuno kwe kuvaako okuwunya.

Wansi w’amabeere; ate nga si bwa matiiriyo ya ppamba. Kino kitegeeza nti buleeta mangu ebbugumu ate nga lingi. Abakyala bwe bamala okwambala obuwale obwo ate ku ngulu ne bateekako empale empanvu n’abeera ng’atuuyana munda naye nga n’ebbugumu terifuluma.

Bw’atuuka okweyambula awulira okusiiyibwa mu mbalakaso kubanga ebbugumu lino eryekuuma munda liba ng’erimubabula kale ekyo kisobola okuviirako omukyala oyo okuvaamu olusu wansi mu bukyala nga kiva ku bbugumu.

Ebitundu by’ekyama byetaaga okupepeta obulungi obudde bwonna; Waliwo ensekere eziyitibwa (pubic lice) lwakuba omuntu si kyangu kuziraba n’amaaso naye ng’abakugu bakiraga nti gyeziri. Kale omukyala wandyekuumye nga tobeera na nviiri ezo obudde bwonna kuba zooleka bucaafu. Okunaaba kw’abakyala; Abakyala abasinga balina endowooza nti obukyala buba bucaafu, wabula si bwe kiri.

Obukyala bwatondebwa nga buyonjo y’ensonga lwaki omuntu teyeetaaga kunaabisaayo ssabbuuni. Olina okumanya ekitundu ekyo bwe kyakula ng’okebera mu ndabirwamu, kikuyambye okukinaaba obulungi.

Olina okuba ng’amazzi agakuvaamu geefaanaanyiriza ag’akazigo ka ‘Lotion.’ Amazzi ago tegawunya, era bw’oba onaaba yisaayo olugalo ogaggyeyo era ogawunyeko. Bw’oba omucaafu amazzi ago gaba ga kiragala, kyenvu oba n’oluusi nga galimu olusaayisaayi kyokka nga toli mu nsonga.

Ate bwegaba galinga amata agafudde oyinza okuba ng’olinamu kandida era genda ew’omusawo omunnyonnyole. Olw’okuba obukyala bweyoza bwokka buli lwoteekayo ekintu ekirala kyonna kimanye nti awo obeera otaddeyo bucaafu bwereere. Obukyala bufaananira ddala akamwa k’omuntu.

Engeri gy’owulira ng’otadde ssabbuuni mu kamwa kye kimu ekituuka mu bukyala ng’obutaddemu ssabbuuni. Obuwale bw’omunda; Buno bwandibadde bwa langi njeru kuba eyoleka obuyonjo, lwakuba abawala ennaku zino bettanira langi nga enzirugavu, emmyuufu ne langi endala ezitalaga buyonjo.

Okubeera mu nsonga; Bw’oba mu nsonga kyandibadde kirungi n’okyusa paadi emirundi esatu olunaku. Buli lw’ejjula n’ogirekayo ojja kutandika okuwunya ate ofune n’obuwuka Obuyonjo bw’abakazi b’ebbali bwe budibya ab’awaka - Mukisa Edith Mukisa ng’asomesa mu musomo gwa Ssenga ku Lwomukaaga.

Omuwala nga yeesalira. ezisibwa ensangi zino lw’omusono kikola nnyo kyokka mu Wano waba wacaafu era watera okuvaayo akasu naddala ku bakyala abalina amabeere amanene kubanga watuuyaanirira nnyo. Omukyala bw’oba onaaba osaanye okuyisaayo ekyangwe n’okakasa nti watukudde bulungi. Obukyala; Ennaku zino waliwo ennyambala y’obuwale obukwata ennyo,bukuyingire. Y’ensonga lwaki abakazi n’abawala balwala kandida nga baakava mu nsonga, lwa bucaafu. Ekirala omukyala osaanye okwemanyiiza okugenda emmanju buli ku makya, kuba kikuyamba okumalako olunaku ng’oli muyonjo. Naye kubamu akafaananyi ng’omaze okulya ekyemisana n’ogenda mu kaabuyonjo, ate ng’ogenda kusisinkana munno nga temunnadda waka!

OBUYONJO MU BAAMI

Buvunaanyizibwa bwa mukazi okuyonja bba. Abasajja abatawaanyizibwa ekizibu ky’okuwunya ebigere, kisinga kuva ku kwambala sitookisi encaafu. Sitookisi zisaanye kwambalwa omulundi gumu n’ozooza era omukyala yandisaanye okutegekera omwami we sitookisi buli lunaku asobole okukyusa. Omukyala kikukakatako okwoza obuwale bw’omwami wo obw’omunda nga kw’ogasse ne sitookisi ate n’obimutegekera buli lunaku kuba bw’otomuyonja lw’alifunayo amuyonja tojja kukwasaamu. Omusajja bw’avaamu olusu abamumanyi beewuunya mukyala gw’alina awaka

OBUYONJO MU KISENGE

Ekisenge buvunaanyizibwa bwa mukyala. Omukyala olina okukyusa amasuuka buli lunaku. Kikyamu okuleka amasuuka ku buliri ne gatuuka n’okunnyogoga kuba ke kabonero akooleka nti galuddeko.

Abakyala abamu bamanyi okuterereka paadi ze bakozesezza nga bazisonseka wansi w’omufaliso. Tewali nsonga lwaki paadi ogitereka kuba teri musajja ayagala kugitunulako.

Obugoye bw’omu kisenge (enkumbi); Buno bwandibadde buwerako wabula osanga omukazi ng’alina kamu kokka ate n’akakozesa okumala ebbanga oluusi mwaka mulamba. Abamu bamanyi n’okubuwaanyisa ne kava ku musajja omu ne kadda ku mulala.

Kino kikyamu. Obugoye buno butundibwa, oba bw’oba tosobodde kumanya gye babutunda kale gula obugoye buno obw’abaana abato kuba bubeera bwa matiiriyo ya ppamba, kajja kukukolera bulungi.

Okwegatta; Kyandibadde kirungi ne musooka okunaaba n’okusenya nga mugenda okwegatta kuba ekikolwa kino oluusi kireeta olusu naye nga lwa butonde. Ssinga ensu zino zeegatta n’olusu lw’entuuyo nga tewasoose kunaaba embeera eyinza okwonooneka era munno ajja kukwetamwa.

Ku bantu abanywa omwenge ne sigala munno muyambe osooke osenye oba bw’oba tosobodde kukikola eby’okumunywegera bireke kubanga oluusi munno ayinza obutagaana naye ng’awulira ekizibu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...