TOP

Tayagala ndabe mutabani wange

By Musasi wa Bukedde

Added 11th November 2017

NZE DN, mbeera Bulenga mu Wakiso. Nafuna omukazi gwe mbadde naye okumala emyaka 15. Bwe twali tutandika omukwano yaηηamba nti talina musajja.

Laba 703x422

Omusajja ng’ayogera ne mutabani we.

Naye oluvannyuma nakimanya nti yali alinayo omwana ow’emyaka ebiri naye teyabinnyegako.

Oluvannyuma lw’okumala emyaka ena nga twagalana, yafuna olubuto naye teyaηηamba.

Kino kyandekera ebibuuzo bingi ne ntandika n’okubusabuusa oba nga ddala lwange. Olw’omukwano omungi gwe nalina gyali ne mu nnaku ze ezaasembayo alyoke azaale era twali tukyeraba ng’abaagalana.

Yazaala omwana mulenzi ekyansanyusa era nga muyisa bulungi wamu n’omwana waffe. Mu 2015, ng’omwana awezezza emyaka kkumi ,omukyala yamala n’aηηamba nti nze taata w’omwana ono naye n’ankuutira nti nkikuume nga kyama kuba mu biseera we twayagalanira yali akyakwatagana ne taata w’omwana we omukulu.

Mu kiseera kino omwana asoma P6, naye gye buvuddeko nnyina yaηηaanye era n’andabula obutaddamu kugenda ku ssomero kumukyalira olw’ensonga ze saategedde.

Bwe nnaleeta ekirowoozo nti omwana wange mutuume erinnya ly’ekika kyange omukazi yanvuma buvumi kata ankube era okuva olwo n’ennamba yange n’agibulookinga, bwe mmukubira teyitamu.

Kati tetukyawuliziganya kubanga taata w’omwana we eyasooka yamuwasa dda mu butongole.

Naye mpulira binsobedde nninga atakyategeera kuba n’ekiro sikyafuna tulo mpulira njagala okulabirira omwana ono bw’aba wange baleme kunnenya nti saamulabirira naye sirina we muweera buyambi kuba sikyamulabako ate ne nnyina siyogera naye.

Oluusi ndowooza nti osanga omwana ono si wange nnyina kye yava aηηaana okumutuuma erinnya ly’ekika kyange n’okuηηaana okuddamu okumukyalira, naye ate erudda omutima guηηamba nti wange kuba afaananamu abaana bange abalala.

Mbadde saagala kumutawaanya bwongo nga mutwala mu by’okumukebeza omusaayi naye eky’okukola kimbuze.

Nsaba kumpa magezi. Omukugu mu kubuulirira abantu Yasin Ssewankambo yagambye nti okusookera ddala bwe muba mwayawukana ng’okimanyi nti omwana wuwo kijja kumulumiriza yekka abuulireko mikwano gye ng’agibuuza ekyokukola, noolwekyo weekwate nnyo mikwano gye ojja kumanya ekituufu.

Omwana tosooka kumussaako nnyo mwoyo kuba kijja kusiba emirumu gyo n’emmere ekuleme okulya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka 220x290

Mayiga atongozza olukiiko olutegeka...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga alagidde akakiiko akagenda okutegeka olunaku lw’abantu ba Kabaka ababeera ebweru...

Lab1 220x290

Omusolo gutabudde aba Takisi bakubaganye...

Omusolo gutabudde aba Takisi bakubaganye katono battingane!

Mariach5 220x290

MC Mariach akiggadde! Kabiite we...

MC Mariach akiggadde! Kabiite we Mirembe Lydia Bogere amwanjudde mu bakadde be

Kaba 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO AFULUMYE...

Tukulaze ebyakoleddwa okumatiza amagye okuyimbula muka Mugabe. Ate agenda okusikira Mugabe bamulagidde annyonnyole...

Mak1 220x290

Buganda esiimye emirimu gya AD...

Obwakabaka bwa Buganda busiimye emirimu gya AD Lubowa