TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebintu kw’olabira omuwala atakusiimye

Ebintu kw’olabira omuwala atakusiimye

By Musasi wa Bukedde

Added 14th November 2017

BW’OSISINKANA omuwala omulungi n’omwegomba olowooza nti yaakusaanira era gwe obeera mweteefuteefu okumwagala oba okumuwasa wabula ekyebuuzibwa ye abeera alowoozaako kye kimu?

Couplefight 703x422

Osobola okumuwa omutima gwo, ebirowoozo n’obudde wabula nga ye byakola bikulaga kirala.

Bino bye bimu ku biyinza okukulaga omuwala atakwagala;

1 Tasobola kukuweereza bubaka oba kukukubira ssimu. Omuwala atakwagala tasobola kukuweereza bubaka obulaga nti akwagala oba okukukubira essimu ng’akulowoozako okuggyako nga gwe amukubidde. Ate oluusi bw’omukubira ayinza okugaana okukwata ate bw’omuweereza obubaka ayinza obutakuddamu.

2 Ebiseera ebisinga abeera bbize buli w’omwetangira. Buli lw’omusaba okumusisinkana akulaga nti alina eby’okukola ebyamaanyi era ali bizze kino kibeera kikulaga nti takutwala ng’ekikulu era talina budde bwo kati gwe oba olina okwesootinga.

3 Yeefuula atajjukira wadde n’ekintu ekitono ky’omukoledde. Omuntu bw’aba takwagala yeefuula abeera tajjukira ekitono ky’obeera omukoledde n’okusiima ekintu ky’obeera omukoledde kubanga gwe by’okola ng’obiraba ng’ebirungi ye tabifaako.

4 Akulaga nti tayagala muntu waakubeera naye mu bufumbo. Gwe bw’omulaga nti oli mweteeteefu okubeera naye mu mukwano ye akulaga nti tayagala muntu ali siriyaasi nnyo nti era ye ayagala muntu agenda okumuwa obudde yeerowooze nga tannaba kupapira bya mukwano.

5 Akusaba ssente buli kadde ng’ayagala kukwegobako. Omuwala ataakwagale aba akusabiriza ssente buli kadde asobole okukulemesa weegobe wekka kyokka bw’olemerako nga omuwa ssente atuuka ekiseera ate n’akusaba ezisingawo. Ayinza okusaba ensimbi eza bizinensi kati gwe bw’olaba nga toobisobole ng’omwesonyiwa.

6 Abeera tayagala mwogere ku mukwano gwammwe. Omuntu atayagala mwogere ku mukwano gwammwe engeri gye mujja okugutambuzaamu, bye musuubira okukola ssinga mufumbiriganwa, aba yeewala okukusuubiza oba okukulumya kubanga aba akimanyi nti tajja kukwagala.

Buli lw’oleeta emboozi eyeekusa ku mukwano ng’aleeta endala. Naye ate waliwo n’abakuusa aboogera ku mukwano gwammwe naye nga takikakasa.

7 Takwanjula mu mikwano gye n’abeηηanda ze; Bw’oba ow’omugaso eri munno ebiseera ebisinga abeera akwanjula mu mikwano gye ng’omuntu gw’ayagala.

8 Akulimba; Buli kintu kyakugamba kibeera kyabulimba kyokka oluusi ne yeerabira kyakulimbye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...