TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri gy’okozesa enkasi munno n’asanyuka

Engeri gy’okozesa enkasi munno n’asanyuka

By Musasi wa Bukedde

Added 16th November 2017

“NZE omusajja wange simutegeera tammatizangako!” “Nze kale owange afuba naye simuwulira bulungi kuba mutono!” “ Hmm, mwe nno mukyali kwebyo, nze owange yakula n’awola naye tantuusangako ku ntikko era simanyi na bwe kibeera..”

Funa1 703x422

Dr. Mpanga ng’asomesa mu musomo gwa Ssenga ku Freedom City gye buvuddeko.

Bwe batyo abawala be natudde nabo mu musomo gwa Ssenga ku Freedom City e Namasuba bakira bwe beemulugunya.

Okwemulugunya okwekika ekyo kwonna kutambulira ku kintu kimu, ‘Enkasi’. Bwe njogera ku nkasi nkakasa nti mukitegeera bulungi.

Ssenga Hamida Namatovu omukugu mu kubudaabuda abaagalana mu nsonga z’obufumbo annyonnyola bw’ati ku nkasi.

“Enkasi z’abaami zirimu ebika ebiwerera ddala. Ekirungi buli kika kya nkasi kisobolera ddala okusaabaza omukazi n’atuuka ku ntikko.

Wabula enjawulo ebeera mu nnannyini nkasi n’obukodyo bw’ateekamu okugisobozesa okutuukiriza obulungi omulimu gwayo.

Empanvu nga ntono.

Ekika ky’enkasi bw’eti oyinza okugigeraageranya ku kkalaamu. Buli lw’omanya nti omusajja alina enkasi ey’ekika kino olina okumanya enkwata yaayo.

Ono kiba kitegeeza bw’ayingira atuuka wala, kale ggwe omukazi olina okukiteeka mu bwongo nti omuteerawo embeera emuleetera okukoma okumpi naawe osobole okunyumirwa.

Mu mbeera eno muyambeko bwe muba mugenda kuyitako ku lw’e Mbarara ogikwate ggwe obeera okyekolerako era bw’aba ayingira fuba okulaba nga taggweerayo.

Ennyimpi nga nnene.

Ey’ekika kino abakyala abasinga bagyagala nnyo olw’ensonga bamanyi tebatuuka wala kyokka omusajja era alina okumanya enkozesa yaayo.

Eno ebeera n’enkizo kubanga olw’okuba nnene bulungi obukyala buginyweza bulungi era omukyala n’awulira bulungi omusajja n’omusajja bwatyo nawulira ng’anywezeddwa.

Ennene nga mpanvu.

Eno ebeera nnungi ng’omusajja amanyi ky’akola wabula bwe kigwa kw’oyo atategeera muzannyo aleetera omukazi okukuba emiranga ng’alumya mulumye era mu mbeera eno omukyala ayinza okukaaba amaziga ag’obulumi munne ng’alowooza nti embeera ya bulijjo naye ng’akaabira ddala.

ENKOZESA Y’ENKASI

Mu mbeera y’ebika byenkasi zonna omwami asaanidde okumanya nti eby’akaboozi tebiba bya kulaga mukyala ky’olinawo. Kale kino kitegeeza nti oba olina mpanvu oba nnyimpi oba nnene tekyetaagisa kuyingira kuggweerayo olw’ensonga obusimu bw’okunyumirwa buli awo ku mumwa gw’obukyala.

Kitegeeza nti omutwe gw’enkasi w’eyawulira w’osaanidde okukoma ng’oyingidde wabula sikufuba kulaba ng'oggweerayo.

Ekirala omusajja yenna asaanidde okukimanya nti enkasi mu ssaawa y’akaboozi togibeerako na buyinza. Olina okuleka omukyala n’agikola ky’ayagala kyonna.

Okugeza; bwe kituuka ku k’e Mbarara abakyala oluusi baba baagala okwekwatiramu oluusi nga ye amanyi w’ajja okutuuka ggwe omusajja awaakulema. Oba oluusi nga bw’ogendawo ovaawo mangu n’omulekamu looko.

Kale omukyala bw’olaba ng’omusajja takoona w’oyagala kwata enkasi ogimuggyeeko obeere mu mitambo.

ENKASI ENNENE EKAZA AG’EMUGGA

Enkasi ennene ate nga mpanvu ebiseera ebisinga ekaza ag’emugga. Kino kiva ku nkozesa enkyamu, naddala ng’omusajja ayagala okugimalira munda ate n’abeera nga tafuluma n’abeera eyo okumala ebbanga ddene.

Kino kireetera amazzi okulekera awo okujja kubanga obunene bw’enkasi bulina engeri gye bukendeeza ku bwagazi bw’omukyala kuba atuuka n’awulira ng’alumwa mu kifo ky’okunyumirwa ne kireetera amazzi okulekera awo okujja.

ABALINA ENKASI ENTONO

Okunyumirwa kw’akaboozi oba okutuuka kw’omukyala ku ntikko tekuva ku bunene oba obutono bw’enkasi wabula enkozesa. Ssinga okimanya nti omwami wo enkasi ye ntono muyambeko.

Bw’oba ng’osobola okwetuusa ku ntikko oluusi nga tomaze kufuna musajja kitegeeza ate bw’obeera n’omusajja buvunaanyizibwa bwo okumulaga awali obusimu bwo n’akoonawo n’otuuka ku ntikko.

Ekirala waliwo sitayiro eziyamba ku mbeera eno era omukyala olina okufuba okulaba ng’okigamba munno nti ze zisinga okukunyumira, okugeza ey’okukutaamiriza ng’abali mu kazannyo ka kibugga tonkutulakutula.

Endala omukyala okwebaka n’afunya amagulu nga yeezinze olwo omwami n’abeera ku mugongo.

Eno nayo nnungi ku mwami omutono kubanga mu mbeera eyo obukyala buba bufunze kubanga abeera abunyizeemu era awo omwami oba ojja kumuwulira.

Sitayiro endala omukazi okuwanika amagulu n’agateeka ku bibegabega by’omusajja nayo eyamba omukyala okufunda obukyala n’asobola okunyweza munne omutono ekireeta okunyumirwa.

Sitayiro endala bw’omanya nti munno mutono fuba okulaba nga tomuganya kufuluma nnyo, wabula tomugamba nti okikola lwakuba mutono, wabula mugambe nti kye kikunyumira.

OMUSAJJA OWOLUBUTO OLUNENE

Okubeera n’olubuto olunene kisobola okufuukira omusajja ekizibu mu kaboozi ssinga omusajja aba teyeefuddeeko n’amanya ekyokukola.

Olubuto ebiseera bingi buli lwe lugejja ennyo omusajja alina engeri gy’akendeeramu enkasi kubanga ekisooka enkasi yeesika n’edda munda olw’olubuto okuyiika ne kireetera abakazi oluusi okusanga obuzibu mu baami bano.

Okufaananako n’owenkasi entono ow’olubuto naye sitayiro y’omukazi okukutama ng’azina kibugga tonkutulakutula emukolera nnyo kubanga abeera n’obusobozi okusitula ku lubuto lwe n’omukono ogumu bweruba nga luyiikayiika nnyo n’asobola okunyumirwa akaboozi.

Omukyala waggulu; Eno sitayiro nayo ekolera omusajja w’olubuto kubanga bw’aba agalamidde olubuto teruyiika nnyo wansi kusindiikiriza nkasi kale omukyala abeera asobola bulungi okutuuka ku nkasi n’asaabala bulungi ng’olubuto teruleese kutaataaganya mbeera.

Okwewala ekitanda ne munyumya akaboozi mu mbeera ekusobozesa okukabeeramu ng’ofukamidde nakyo kiyamba kinene.

Okugeza omukyala asobola okubeera mu ntebe ku nsonda yaayo omwami w’olubuto n’afukamira oba bwe kiba kitanda omwami ng’afukamidde wabula ng’omukyala agalaamiriza ku nsonda y’ekitanda ng’amagulu galengejja wansi.

OMUKYALA OMUGAZI

Dr. Jonathan Mpanga annyonnyola nti abakyala abamu bagaziwa obukyala. Okugaziwa kuno kubeera ku ngulu wabula si munda.

Ekigaziya omukyala by’ebinywa okwereega oba okukutuka. Kino kituukawo mu biseera naddala eby’okusindika omwana ng’omukyala azaala.

Oluusi kisobola okutuukawo nga kivudde ku bunene bw’omusajja obusukkiridde ennyo naye kino kisobola kutuukawo ng’omusajja oyo omunene yeegasse ku mwana muto ateebakangako na musajja yenna. Okusinziira ku nzijanjaba y’ekizungu teri kirala kisobola kugaziya bukyala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...