TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi asobola okutetenkanya buli kika kya musajja

Omukazi asobola okutetenkanya buli kika kya musajja

By Musasi wa Bukedde

Added 29th November 2017

MU nsonga z’omukwano, abakazi batono abalowooza ku sayizi y’enkasi ya munne. Naye watya nga munno gw’osiimye yatuukirira mu byonna naye ng’enkasi tewera?

Byagaana 703x422

Abaagalana nga bali mu mukwano mu kifo ekisanyukirwamu gye buvuddeko.

Ayinza okuba ng’alina bumpi, butono ng’akagalo ka nnasswi, bwawanvuwa oba nga bwagejja ne buwola. Bino byonna obiraba mumaze kutuuka e Namboole.

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abantu yagambye nti sayizi terina kubaawukanya kubanga obukyala busobola okugyaamu sayizi yonna.

Mu ngeri y’emu obukyala busobola okuwanvuwa oba okugaziwa ekibusobozesa okumira ekikula ky’obusajja bwonna ate ne buddawo okwewumba.

OBUKYALA BUWANVUWA?

Mukisa annyonnyola nti omuwala bw’aba akula, obukyala bwe buba bufunda, wabula bw’atandika okwegatta ng’akyali muto, agaziwa nga tebusobola kuddawo kwewumba bulungi kubanga laasitiika z’obukyala bwe ziba tezinnakula ekiziremesa okuddawo.

Naye bw’atuuka mu myaka gy’ekivubuka, obukyala bwe bugenda bukula ne bufuna ne laasitiika ekibuyamba okuwanvuwa n’okugaziwa.

Omukyala gy’akoma okukula, obukyala bweyongera okukula era busobola okugaziwa n’okuwanvuwa ne butuuka ku yinci musanvu ekibusobozesa okugyaamu sayizi y’obusajja yonna.

Ne bw’oba ozaala, bukola kye kimu okusobola okuyisaawo omwana.

ENGERI GY’OYIIYA OMUNENE

Mukisa yagambye nti abasajja abamu balowooza nti bw’atuuka mu kisaawe, obusajja bwe bwonna bulina okuggwerayo mu bukyala sso ng’obeera olumya munno.

Olina okwewala sitayiro ezirumya naddala eya kabuzi oba ez’okugaziya ennyo amagulu.

Zino zireetera omumwa gwa nnabaana okusembera okumpi ekikuleetera obulumi buli bwebamukoonako.

Wadde okwenoonya kikulu mu nsonga z’omukwano, naye ate bwe kituuka ku musajja omunene ate kiba kyetaagisa nnyo kubanga kiyambako obukyala okukola akasiisira ‘vaginal tenting’.

Mukisa yannyonnyodde nti omukazi bw’afuna obwagazi era ng’ayidde bulungi, ebinywa by’omu bitundu by’obukyala byesika nnabaana ne yeeyongerayo waggulu.

Kino kiyambako obukyala okugaziwa n’okuwanvuwa ekibusobozesa okumira obusajja obunene n’obuwanvu nga tafunye buzibu.

Naye omukazi bw’atafuna bwagazi, n’omusajja akaluubirizibwa okuyingira ekireeta obulumi.

Bwe muba mwemanyidde bulungi, omusajja ayinza okumasaaginga omulyango gw’obukyala okumala ekiseera kuba kitebenkeza embeera y’omu kitundu ekyo omukazi n’awulira bulungi, ekiyamba omusajja okuyingira obulungi.

Ekirala essira muliteeke ku bifo by’obukyala eby’ebweru okusinga munda kuba kyongera omukazi obwagazi n’asigala ng’alina ag’emugga.

Dr. Tracey Cox, omukugu mu kubudaabuda abaagalana okuva mu yunivasite y’e California yagambye nti baakola okunoonyereza ku kikula ky’abasajja mu 2016 ne kizuulibwa ng’abakazi abasinga baagala obusajja obunene okusinga obuwanvu.

Bagamba nti obusajja obunene bubugaana bulungi mu bukyala ekibuleetera okunyonyoogera amagulu g’akakukufa okusibuka abalongo nga bukakoonako ekyongera okukanyonyoogera olwo omukazi n’ayongera okufuna obwagazi obumutuusa ku ntikko.

Ate nga bbo abakyala abeegatta n’abasajja abalina obusajja obuwanvu ennyo, kyazuulibwa nga batuuka mangu ku ntikko ng’afuna okunyonyoogerwa kw’obusajja okuva mu bukyala munda.

OBUSAJJA OBUWANVU OBA OBUNENE BULINA OBULABE ?

Dr. Achilleo Kiyimba okuva mu Infectious Diseases Institute e Makerere University yagambye nti mu maaso g’abalabi, okubeera n’obusajja obunene oba obuwanvu ennyo abasinga kibeewaanya mu bannaabwe era abasajja Mukama be yagonnomolako ekkula lino baba bamativu kuba balowooza nti kimala okusikiriza n’okusumulula omukyala ne batatawaana kukozesa bukodyo bwa kubanoonya.

Sso nga ku mubiri gw’omuntu obwongo kye kitundu ekisinga okufuga okwegatta, naye bw’ofuna omusajja ng’obusajja bwe bumpi nnyo, bunene nnyo oba nga butono nnyo nga tomwagala, kiyinza okukosa obwongo bwo n’otonyumirwa kaboozi.

Naye bw’oba omwagala, omubiri gwo gwanukula mangu ku ngeri gy’aba akukwatamu n’ofuna obwagazi.

Obusajja obunene ennyo butaataaganya akabubi ababisse obukyala ekiyinza okuleetamu amabwa ekiviirako obuwuka okubulumba.

Era omukyala gy’akoma okwegatta n’omusajja ng’obusajja bwe bunene nnyo, agaziwa kuba obukyala butuuka ne bumanyiira ekipimo ky’obusajja bwo.

Oluusi n’afuna obulumi, amabwa oba ensalika mu bukyala ekyongera ku mikisa gy’omukazi egy’okufuna akawuka ka siriimu.

SITAYIRO Z’OLINA OKWETTANIRA

Mu mbeera eno, kiba kirungi okwettanira sitayiro ez’okuzannyira ku ngulu kw’obukyala oba okuyingirako katono. Muyinza n’okukozesa ey’okwetunuulira, oba omukazi okudda waggulu.

Omukazi ayinza okwevuunika omusajja n’amudda ku mugongo. Mu mbeera eno, omukazi asobola okumiima amagulu okulemesa munne okutuuka ewala.

OWOOBUTONO NGA BUMPI

Omukazi bw’ofuna omusajja ng’alina obusajja obutono ennyo, olina kukanya kukola dduyiro w’omu bukyala.

Omiima ebinywa by’obukyala nga bw’obita mpolampola n’okyemanyiiza buli w’oyagalide okumala emirundi 20 olunaku. Kino kiyambako okuddaabiriza ebinywa ne laasitiika z’obukyala ekibisobozesa okukwata n’okumiima obusajja obulungi.

Mukisa yagambye nti omusajja ow’ekikula kino, essira alina kulissa ku kunyonyoogera bitundu by’obukyala eby’oku ngulu naddala akakukufa okusibuka abalongo.

Ekirala ennyonyoogeze z’omukazi ziba mu yinci bbiri ez’obukyala era y’ensonga lwaki kiba kirungi ne musooka okwenoonya kubanga kwe kusibuka obwagazi bw’omukyala. Omukazi gatta amagulu go kuba kiyamba okufunza obukyala ekibusobozesa okukwata n’okumiima obulungi obusajja olwo bulyomu n’awulira munne.

Bwe muba temukoze ebyo, omukazi oyinza okwebaka kyabugazi amagulu n’ogassa ku bibegabega bya munno ne mwesanyusa. Kino nakyo kiyamba okufunza obukyala.

William Kitonsa omukugu mu kubudaabuda abaagalana okuva mu Bbakitonsah Research and Beauty Centre e Mengo yagambye nti bw’ofuna omwami ng’alina obusajja obutono ennyo oba nga bumpi nnyo, olina okumunoonya era n’odda ku ngulu anyumirwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cana 220x290

Abakyala temusirikira ebibaluma...

Abakyala n’abaana bawereddwa amagezi obutasirikira ebibaluma mu maka ne mu bulamu obwa bulijjo

Kayi 220x290

Kayihura avuddemu omwasi: 'Bankijjanya,...

OMUSASI wa Bukedde ayogedde ne Gen. Kale Kayihura ku kkoligo lye baamutaddeko obutaddamu kulinnya kigere mu Amerika...

Ssaavabugingonakiwala4 220x290

Nakiwala atadde ku Bugingo obukwakkulizo...

MINISITA w’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi atadde ku Paasita Aloysius Bugingo obukwakkulizo ku ngeri...

Lobe 220x290

Owa bbooda eyalaba eyatemula Nagirinya...

OWA boda eyavuganga ddereeva wa Nagirinya, Ssaalongo Ronald Kitayimbwa, ayogedde bwe yayitibwa poliisi y’e Katwe...

Twala 220x290

Kayihura nnatti za Amerika zimunyize...

GEN. Kale Kayihura alaajanye ku nnatti za Amerika, bw’ayise mu bannamateeka be ne bakola enteekateeka okusisinkana...