TOP
  • Home
  • Ssenga
  • By’okola okutangira omukozi w’awaka okukukwata mu liiso

By’okola okutangira omukozi w’awaka okukukwata mu liiso

By Musasi wa Bukedde

Added 5th December 2017

ABAKOZI b’awaka abayamba ku mirimu bangi baafuuka ssemusota guli mu ntamu, anti bw’otogutta tofumba ate era bw’ogutta entamu oyinza obutasigaza! Abakyala bangi naddala abakola nbeesanga mu kattu.

Missed1 703x422

Omuwala ng’ayoza ebintu. Abakozi abamu batuuka okweddiza amaka olw’ensonga ezitali zimu.

Wadde bangi tebandyagadde kuleeta bakozi mu maka gaabwe, olw’embeera gye batambuliramu beesanga babafunye.

Emu ku nsonga ebakyaya abakozi b’awaka kwe kuba nti ate oluusi bwe bayingirawo ate abasajja bannyinimu ne babaganza, olwo ekigendererwa ne kifa. Si buli musajja nti aganza bayaaya bano, wabula n’omuwendo ogubaganza teguyinza kubuusibwa maaso.

Abakyala abamu olw’obutayagala kuteeka ‘ddadi’ mu bikemo basalawo okukozesa abakozi abakadde, obwana obuto ennyo, ababi oba abasiiwuufu ennyo.

Wabula ate era kino oluusi tekiremesa musajja kumusuulayo kagambo, okukkakkana nga basse ekyama.

Omukyala omu kata omutima gumuveemu bwe yasangiriza bba ng’abuuza omukozi omuziro gwe yeddira!

Osanga alaba ku ngulu kino ayinza obutakitwala nga nsonga naye bwe weefumiitiriza ddala ‘ddadi’ omuziro gwa yaaya yali agwagaza ki?

Ebiseera ebisinga enkolagana wakati wa yaaya ne nnyinimu ‘mmami’ alwawo okugimanya era abamu batuuka n’okubazaalamu abaana ng’abakyala b’awaka tebakimanyi. Ebimu ku bintu kw’oyinza okulabira munno nti aganza omukozi w’awaka mulimu;

1 Omusajja atandika okumugulira obulabo. Omwami ayinza okusalawo okugulira buli w’awaka ekirabo olwo n’omukozi n’amugulira. Ggwe omukyala kino oyinza obutakitwala nga nsonga naye ng;ate kiyinza okuba nga kiraga nti balina enkolagana ey’enjawulo.

2 Okumuwolereza buli lw’azza emisango, oluusi omusango ate n’aguzza ku ggwe olw’obutafaayo kulambika bulungi omukozi.

3 Omwami ayanguwa okudda awaka naddala ng’akimanyi nti toliiwo. Kino akikola asobole okufuna akadde n’omukozi nga ggwe toliiwo.

4 Atandika okumuyisa ng’omuntu w’awaka era tayagala ayisibwe mu ngeri ndala yonna. Atandika okugamba ab’awaka okumuyamba ku mirimu gyonna.

5 Omukozi atandika okwambala mu ngeri esikiriza. Bw’aba ng’abadde tayambala mmini ogenda okulaba ng’atandika okuzambala naddala bw’amanya nti ‘ddadi’ anaatera okukomawo.

6 Omukyala w’awaka bw’abaako by’amugamba tamuwuliriza, olwo ng’awuliriza ebyo byokka ‘ddadi by’amugamba. Kino akikola kuba aba amanyi nti omwami y'asalawo ku nsonga z'amaka ate nga tayinza kumuvaamu.

7Atandika okuyingira ekisenge kyammwe kyere. Kino akikola kuba aba takyatya mukyala w’awaka kubanga ayinza okuba nga mu kisenge kyammwe era gye beesanyusiza ng’omukyala tali waka.

8 Omusajja bw’atandika okubojjerera omukozi olwo eby’okwegatta ne mukyala we ayinza okubivaako kuba byonna by’ayagala ayinza okuba ng’abifuna mu mukozi. Ate bwe kisanga omukyala nga buli kiseera abeera mukoowu, olwo kiyitirira.

9 Amukubira essimu buli kiseera. Kino akikola mu ngeri y’okumutangira ate okulabankana, wabula ayinza okuba nga yeerimbika mu ky’okuba ng’amubuuza ebiri awaka.

EKIVAAKO ABAKOZI OKWEFUNZA AMAKA

 Baba n’obudde bungi awaka kubanga bwe bamala emirimu olwo ng’ekisigadde kwerabirira na kwerongoosa.

 Batwala obuvunaanyizibwa bw’omukyala omuli okubajjulira emmere, okubategekera engoye, okubateerayo amazzi mu kinaabiro ne kalonda omulala. Omusajja bw’alaba ng’omukozi ebintu abikola bulungi, talaba nsonga lwaki n’ensonga z’okwegatta tazigattako.

 Oluusi abakazi b’awaka bayisa bubi abakozi olwo abasajja ne babakwatirwa ekisa okukkakkana nga babaganzizza.

Abakozi bano oluusi bava mu maka amanaku ennyo, olwo bw’atuuka gy’afunye omulimu nga walungi aluma n’ogwengulu okulaba nga yeddiza amaka ge bamuleeseemu okukola.

BY’OKOLA OKUTANGIRA OMUKOZI OKUBATABULA

 Musasule mu budde aleme kuwankawanka ekiyinza okumuleetera okutega omwami w’awaka obumasu, asobole okumuwaayo ku kasente.

 Muyise ng’omuntu w’awaka. Kino bwe kiba kitandikidde ku mukyala omukozi ayinza okufunamu akafansonyi okuganza omwai w’awaka. Wabula bw’omuyisa obubi ate ng’omwami w’awaka amuyisa bulungi, we wajja okuva okutabuka.

Tomumalaako mirembe. Omukozi yenna alinga omuntu omulala era naye akoowa, fuba okulaba nti omuwa akadde n’awummulamu era tomukozesa mirimu mizito gy’atasobola olwokuba ogenda kumusasula.

 Tomuganya kwambala nkunamyo. Omukozi alina okukimanya nti yajja kukola so si kwolesa misono. Era fuba okulaba nti ayambala engoye ez’obuvunaanyizibwa zireme kuleeta bikemo waka. Kino kikola nnyo ssinga naawe obeera ekyokulabirako awo amaka obeera ojja kugasobola.

 Tomusembereza nnyo okulaba nti ebaako weekoma. Tomuwa mwagaanya okukola emirimu gy’ekisenge kyo ng’okwala obuliri, okusiimuula ekisenge, okutwalirayo omwamiwo amazzi mu kiyigo n’emirala. Kino kijja kukuyamba okuteeka olukomera ku mwagalwa wo n’omukozi.

 Bw’abaayo n’omuntu we muwe obudde agende amulabeko. Kino kijja kukukkakkanya kubanga naye muntu alina omusaayi era eyeetaaga okusanyusibwa.

Christine Nabukenya omukugu mu kubuulirira abafumbo e Wakiso yagambye nti abaagalana tekyandibadde kirungi kwesembereza nnyo mukozi oba omupakasi w’awaka kuba osobola okugwa mu bikemo nga totegedde olw’ensonga nti waliwo abakozi abajja n’ebigendererwa byabwe era ng’olumala okutuuka bafuba okulaba nti bituukirira okukkakkana ng’amaka bageddizza.

Kyandibadde kirungi bwe muba muleeta omukozi awaka ne musooka mukyogerako mwembi era omunnyonnyole ensonga lwaki mwandyetaaze omukozi awaka.

Bwe mumala okukkiriziganya, omukozi bw’atuuka musooke mumuteerewo amateeka kw’alina okutambulira era kyandibadde kirungi n’omubuulira ebikusanyusa n’ebitakusanyusa era naawe fuba okulaba nti omukozi omuyisa ng’omuntu wo era mulage nti wamugaso nnyo gy’oli. Musasule mu budde aleme kwetamwa n’okukola ebintu ng’akwesasuza.

Fuba okulaba nti omwagalwa wo tomuwa mwagaanya kwesembereza oba okubeera okumpi n’omukozi musobole okwewala ebikemo ebiyinza okuvaamu okusattulula omukwano gwammwe.

Naye ekisinga mu byonna buli muntu kwekuumira munne n’obwesigwa awo amaka mujja kugasobola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda

Hot1 220x290

Minisita amazzi gatutabukidde

Minisita amazzi gatutabukidde