TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Bw’obeerako obwereere mu kisenge kikwongera okwekkiririzaamu

Bw’obeerako obwereere mu kisenge kikwongera okwekkiririzaamu

By Musasi wa Bukedde

Added 5th December 2017

ABANTU abamu batya obwereere bwabwe era abamu ne bw’aba mu buliri era atya okweggyako engoye zonna. Abakyala bangi batya okwetunuulira mu ndabirwamu nga bali bwereere olw’obutayagala kulaba engeri emibiri gyabwe gye gikyuseemu naddala oluvannyuma lw’okuzaala.

1 703x422

Wabula abakugu mu byomukwano bagamba nti omuntu okubeerako obwereere kirina emigaso mingi omuli;

 Bwe weemanyiira otandika okwagala omubiri gwo nga bwe gwakula. Ssinga otuuka ku ssa eryo, ne munno ajja kugwagala. Kizibu okwagala ky’otomanyi y’ensonga lwaki kirungi ofune ku kadde ogulabeko.

 Kyongera ebbugumu mu mukwano era ne weesunga okwegatta kuba bw’olaba omubiri gwo n’ogwagala otandika okulaba nga gutuukiridde era ne munno ajja kukulaba bwatyo.

 Kiyamba ebitundu byekyama okufuna empewo ennungi ekibiyamba obutalumbibwa ndwadde naddala eziva ku bbugumu.

 Bwe weebaka ng’oli bwereere kikuyamba okufuna otulo ate kiyamba n’omubiri okukolaobulungi emirimu ne guba mulamu bulungi.

 Kikufuula waddembe ebiseera byonna naddala ng’omanyidde omubiri gwo.

 Kikuyamba okusiima ekyo ky’oli so si okusiima engoye z’oyambadde., kubanga bw’oba tolina lugoye ku mubiri oba weeraba nga bwe wakula era n’osiima ekyo ky’olina.

 Kikuyamba okwekkiririzaamu kubanga obeera omanyi awaatuukirira, ate awaba wabulamu osala amagezi g’okujjuzaawo. Okugeza bw’oba tolina kabina omanya engoye z’onooyambala n ‘omyuma.

Bw’oba olina amakudde oba olubuto olunene , omanya by’onooyambala n’olabika bulungi. Kikumalako situleesi kubanga kikuyamba okukkakkana bulungi n’obeera bulungi.

Buli lugoye lw’oggya ku mubiri oba olina situleesi gy’osala mu mbeera eyo, kikuyamba okukkakkana.

Buli lw’oggya engoye ku mubiri kirina engeri gye kikyusa omubiri ne gufuna obuweerero ssaako okufuna empewo eyobulamu ne guba bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndege 220x290

Poliisi ekutte n'eggalira Kamagu,...

POLIISI ekutte munnamawulire Richard Kasule amanyiddwa ng’omugagga Kamagu, akolera ku Top Radio mu Kampala.

Fub1 220x290

Akulira abadiventi mu nsi yonna...

Akulira abadiventi mu nsi yonna asiimye omulimu ogukolebwa ekkanisa

Mag2 220x290

Madagasacr eyingiddewo okuttunka...

Madagasacr eyingiddewo okuttunka ne KCC

Deb1 220x290

Obuvune busubizza Sadam Jjuma ogwa...

Obuvune busubizza Sadam Jjuma ogwa Madagascar

Hob1 220x290

Villa ento efuuse kimpe nkyekubire...

Villa ento efuuse kimpe nkyekubire