TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ensonga ezivaako omuwala okwegatta n'omulenzi nga yaakamukwana

Ensonga ezivaako omuwala okwegatta n'omulenzi nga yaakamukwana

By Musasi wa Bukedde

Added 5th December 2017

ENSANGI zino omuwendo gw’abawala abatannafumbirwa gweyongedde okulinnya olw’okubulwa abo be basuubira nti be balina ebisaanyizo bye baagala. Wadde nga guno guli gutyo abasajja nabo bafubye okulaba nti babatetenkanya okusobola okuwangula emitima gyabwe mu bwangu.

Bigstockcoupletoastingwithwine6856598 703x422

Abawala abamu batuuka ne ku ssa ery’okwegatta nabo omulundi gwabwe ogusoose okubalaba nga basinziira ku nsonga nga zino wammanga:

Basikirizibwa ensimbi

Abawala abamu bw’afuna gaayi n’amulaga nti alina ensimbi oba ebyobugagga byonna, batera okucamuukirira n’alowooza nti afunye omusajja ow’ekirooto kye era abamu bafuba nnyo okulaba nti batuukako n’awaka omulenzi ono amukwanye gy’asula era olutuukayo ng’ebiriyo by’abadde asuubira tebalonzalonza, w’omugambira nti wandyagadde mwesanyuseemu k’olwo takuwa buzibu.

Ennyambala.

Waliwo abavubuka abeemanyi obulungi ne bassaako n’okwerabirira naddala mu kwambala. Omulenzi ng’amanyi bulungi okwambala ebintu naddala engoye eziri ku mulembe abawala bamwettanira nnyo era ebiseera ebisinga ogenda okumugambako nga ye yakyagala dda kubanga by’oyambala bimukolera nga bwe batera okwogera. Abalenzi abakikula kino tebabonaabona nnyo kumatiza muwala ono na bigambo era mu lunaku lumu aba yakuwadde dda ebyalo kuba alowooza muli nti oli mulungi mu buli kimu.

Enjogera.

Waliwo abalenzi abamu nga bakkakamu mu buli kimu okutandikira ddala ku njogera ate Katonda bw’aba yamuwa ebigambo ebikwana ng’amanyi okubisengeka obulungi asobola okulalula omuwala mu lunaku lumu nga tayagala amale kwogera era wano abawala abamu batera okukkiriza amangu, era mu lunaku lumu ayinza okukuloza ku bisooboza.

Ekifo waakusanze.

Abawala abamu naddala gw’osanze mu bifo ebisanyukirwamu nga mu bbaala, mu kiraabu, ku bbiici, ku bubaga bw’amazaalibwa n’emikolo emirala egigwa mu kiti ngekyo banguwa mangu okugabula ebyalo byabwe. Ebiseera ebisinga bagenda ne banywa ebitamiiza ne bibaggya mu mbeera era bw’osanga omuvubuka omukujukuju asobola asindika asitamye era mu lunaku lumu osobola okukuwa ku ssukaali we.

Akawoowo n’endabika.

Waliwo ggaayi atuuka ku muwala nga mu butuufu takomye mu kulabika bulungi wabula agasseeko n’okuwunya obulungi. Kino ebiseera ebisinga kikuba nnyo abawala n’akwagala nga tonnaba na kumwatulira nti omwagala. Omulenzi bw’abeera amanyi okwogera obulungi mu lunaku lumu asobola okuwangula omutima gw’omuwala era ne bw’amusaba okugenda okwesanyusaamu talonzalonza.

Omulimu gw’okola.

Abawala abasinga baagala bagaayi abakola emirimu egisasula ssente ennyingi ng’abayimbi, badokita, abapoliisi abalamuzi, abakozi ba bbanka, n’emirimu emirala egy’amaanyi era wano omulenzi bw’aba amanyi bulungi okukozesa omulimu gwe asobola okumatiza omuwala. Ono amukubaganya n’omukakasa nga bw’amwetaaga kuba aba talabika nti muyaaye okukkakkana nga ssukaali we amunuunye mu lunaku lumu.

Erinnya n’ettutumu.

Abawala abasinga baagala ate beegomba nnyo abasajja abalina amannya mu ggwanga okugeza ng’abakozi ba ttivvi, abayimbi, bannabyamizannyo, bannakatemba, bannabyabufuzi n’abalala abagwa mu kiti ng’ekyo. Era bano waafunira omukisa n’amugambako tamukaluubiriza kuba abeera yamwegomba dda era mu lunaku lumu asobola okumusoosootolera oluwombo lwe.

OKULABULA

Naye abawala bwe muba munoonya bufumbo tekyandibadde kirungi kwegabangula, kubanga omulenzi bw’amala ekizibu kye aba akulaba nga malaaya. Amanya nti buli musajja akukwana omuweerawo ebisooboza byo mu lunaku lumu. Era bangi bw’amaliriza toddayo kumuwuliza.

Ate n’ekirala endwadde nazo nnyingi eziyinza okubakwata omuli siriimu n’ezekikaba bwe muba nga temukozeseza kondomu. Noolwekyo bwe muba nga munoonya bufumbo mwewale okumala gagaba bisoobooza byammwe, mwewe ekitiibwa lwe mujja okuwangula.

Ye mwerabidde oluyimba lw’omuyimbi, Geoffrey Lutaaya olugamba nti namufuna ku sipiidi era yagenda ku sipiidi, noolwekyo mwekuume mujja kufuna abantu abatuufu be musobola okufumbirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nakisekka703422 220x290

Nakisekka eyawambibwa abazigu n'attibwa...

'Ntunze ebintu byangu omuli n'okusinga ennyumba mpeeyo ensimbi eri abatemu okununula muwala wange naye tekyasobose....

Debby2 220x290

Kasalabecca n'olugambo olwokya...

Debbie Sempaka ayogedde lwaki awoomerwa okukunama

Waka 220x290

Sseguya ne Chameleon batabaganye...

JOSEPHAT Sseguya owa Bukedde adding'anye ne Jose Chameleone abaagugulana bwe baali mu kwanjula kwa Catherine Kusasira...

Lead 220x290

Omulangira Ssuuna akutudde ddiiru...

OLUVANNYUMA lw’ebbanga ng’omuyimbi OS (Omulangira Ssuuna) alwana okudda engulu mu nsiike y’okuyimba omubadde n’okufulumya...

Justice 220x290

Olwazaala omusajja n’andeka mu...

NZE Phiona Kevin Nalubwama 27, ndi munnamawulire omutendeke nga nina abaana babiri.