TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyanoonyeza mu Bukedde mu August 2017 akubiddwa embaga

Eyanoonyeza mu Bukedde mu August 2017 akubiddwa embaga

By Musasi wa Bukedde

Added 5th December 2017

SULAYINA Nansereko 22, omutuuze w'e Lyantonde eyalabikira mu Banoonya ba Bukedde nga August 15 nga yeetaaga omusajja ow'ekirooto kye afunye eddya.

Wata 703x422

Ramanthan ne Sulayina nga beeraga amapenzi.

Emboozi ye aginyumya bwati; Olunaku lwe nalabikira mu Banoonya ba Bukedde nafuna essimu ezisukka mu 250 okuva mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo kuba bonna baali bannegwanyiza olw'endabika yange n'ebigambo ebyali binvaamu.

Nasisinkanako abantu kkumi kyokka ne nondamu Ramanthan Byaruhanga eyalina ebisanyizo bye njagala.

Bwe twasiimagana twasookera mu kwekebeza musaayi e Kazo era ebyavaamu byali birungi ddala nga tebitulobera kugenda mu maaso olw'omukwano omungi gwe twalina.

Bazadde ba baze baamuwerekerako gye banzaala okuzuula oba ddala nnali nsazeewo okufumbirwa omulenzi ono.

Olwandabako bansiimirawo ne bandaganya olunaku lw'okugenda ewa Ssenga. Twakyala ewa Ssengange nga October 26, 2017 e Lyantonde omusajja ne bamusiima ne balaga olw'okwanjula nga November 26, 2017.

Baze okubeera nga mulema tekiηηaana kumwagala kuba obulema ssi buteesobola ate asinga abalamu bangi ddala, bwatyo Sulayina Nansereko bwe yakkaatirizza.

Okwanjula bwe kwawedde, bazzizzaako omukolo ogw'okuwoowa nga gwakulembeddwa Muwalimu Yahaya Nkonge eyakubirizza abagole okukulembeza Katonda mu buli nsonga.

Ate Byaruhanga omutuuze w'e Nsambya mu Keviina Zooni ate nga musuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe agamba nti musanyufu okufuna omukazi ne yeebaza Bukedde okumufunira omukazi gwe yalootanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bo1 220x290

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti...

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti y'Amagye

Index 220x290

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa...

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa kkooti y'amagye lwa kulya mu nsi ye lukwe

39248881101567630827890782826876916504461312n 220x290

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola...

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola n'amakerenda g'eyise enjaga ewa Bobi Wine:'Twabisanze mu wooteri mw'abadde...

Shecranes03 220x290

She Cranes ekubye Malawi mu za...

SHE CRANES ttiimu y’eggwanga ey’okubaka enkya ya leero eyongedde okulaga nga bw'eri emmalirivu okusigaza engule...

Hip1 220x290

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza...

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza amaka ne bamubba