TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri okunyooma abasajja gye kulemesezza abawala okufumbira

Engeri okunyooma abasajja gye kulemesezza abawala okufumbira

By Musasi wa Bukedde

Added 5th December 2017

ENNAKU zino abawala bangi balwawo okufumbirwa abamu ne batuuka ne ku myaka egikuliridde ng’abasajja bababuuze sso ng’oluusi bayinza n’okubeera ne baganzi baabwe ababaagala kyokka bwe kituuka ku ky’okubatwala mu bufumbo ne babakyusiza amaaso.

Ra 703x422

Bwatyo mwana mulenzi ono bw’alabika okugamba nnakyala ono bwe baabadde ku Square nga banyumirwa obulamu.

Kyokka bwe wayita ekiseera, abawala bano nga tebafunye basajja be baali baagala, batandika okunoonya abo be baali banyooma olwo nga balaba nti kati babasaana kyokka oluusi nga nabo baafuna dda abaagalwa abalala.

EBIREMESA ABAWALA OKUFUMBIRWA OLW’OKUNYOMERERE ABASAJJA

1 Okusuubira ebingi okuva eri omuntu oyo: Abawala abamu baba basuubira okufuna ebintu bingi okuva mu basajja okugeza bw’abeera tavuganga ku mmotoka, aba ayagala omusajja agimugulire n’atasooka kwebuuza nti omusajja gwe njagala afuna ssente mmeka omwezi kati bwa beera tabisobola, omuwala ng’amwegobako kubanga abeera tasobola kwagala musajja atasobola kutuukiriza by’ayagala.

2 Obutatunuulira bya mu maaso: Abawala batunuulira nnyo omuntu mu mbeera ey’obuliwo ne batatunuulira biseera bya mu maaso. Omuwala ayinza okufuna omusajja nga mutetenkanya era ng’ayagala okwezimba naye olw’okuba mu kiseera ekyo aba tannafuna ssente, omuwala n’amunyooma era n’agaana okumufumbirwa.

3 Okweyagaliza: Ebiseera ebisinga abawala babeera beeyagaliza birungi byokka nga ssinga omusajja tatuukana na mutindo, amukwana abeera alaba nga talina gy’amulaza kubanga aba yeeyagaliza musajja nga mugagga, yeevuga ate nga yazimba. Kale ggwe bw’omukwana, nga tobirina akunyooma era tasobola kukufumbirwa n’asigala ku luggya nga bw’alinda oyo omugagga kyokka oluusi natamufuna.

4 Okwegomba: Kino kireetedde abawala bangi okudibira ku mpya kubanga babeera beegomba mikwano gyabwe okugeza singa mukwano gwe alina omusajja nga mugagga naye abeera ayagala kufuna musajja mugagga kale ggwe bw’ojja nga tolina ssente, aba akunyooma ne yeerabira nti n’abali obulungi balina abakazi ababayambye okufuuka ekyo kye bali.

5 Okwetwala nti oli wa bbeeyi: Abawala bangi beetwalira waggulu nti babbeeyi era ng’omusajja okumukwana asooka kumupimaapima kyokka ng’oluusi si wa bbeeyi kati n’ateekawo obukwakkulizo okugeza omusajja bw’ataba na mmotoka tamwagala, bw’abeera takola mu ofi isi tamwagala kati buli musajja n’abeera ng’amutya n’atandika okulirira mu myaka nga talinaayo wadde amugamba.

6 Obwavu bw’omusajja: Abawala abamu batunuulira nnyo abasajja abalinawo ne beerabira nti osobola okukola ng’oli ne munno nammwe ne mwenkana n’oli gw’olaba ng’asinga ku munno.Abamu balina enjogera egamba nti tebaagala basajja ‘batwezimbe’ kubanga babeera batunulira embeera y’omuntu ey’obuliwo sso si ey’ebiseera by’omu maaso. Ekyewuunyisa balemererwa okufuna abagagga be babe baagala ne badibira ku nzigya.

7 Okwagala nnyo ebingi: Abawala bangi balemereddwa okufumbirwa kubanga baba baagala ebintu bingi omusajja by’atasobola okugeza omuwala ayinza okwagala omusajja ng’afuna emitwalo 700,000/- omwezi kyokka ye omuwala abeera asuubira nti omusajja ajja kusasula ewaabwe obukadde 30,000,000/- ekintu omusajja kyatasobola era ekivaamu, omuwala kutandika okumunyooma nga bw’ataasobole kumulabirira ekiva mwekyo ng’omusajja afuna omukyala omulala amutegeera, ggwe ng’akwesonyiwa.

8 Ekikula ky’omusajja: Eno nayo nsonga kubanga omukazi ayinza okubeera ng’ayagala musajja mweru nga muwanvu n’atuuka n’okugamba ayagala kigero ky’Abamerika ne weesanga ng’omusajja abadde amwagala muddugavu ate nga si muwanvu nga bw’ayagala ekimuleetera okumunyooma n’oluusi okumuleka ng’asuubira nti osanga alifuna ow’ekigero kye wabula ate n’atamufuna.

9 Obuyigireze bw’omuntu: Abawala abamu olw’okuba bayivu, balowooza nti omusajja atasomye aba amuswaza mu banne ne kimuleetera okugaana omusajja oluusi eyandimulabiridde ng’amuwa buli ky’ayagala olw’okuba teyasoma.

10 Empisa: Abawala abamu batunulira nnyo enneeyisa y’omuntu ggwe ky’otokola, obeera oyagala omulala akikole okugeza omuwala abeera yeeyisa bubi n’asuubira munne okweyisa obulungi kyokka nga ye takola by’ayagala banne bamukolere.

11 Omulimu: Abawala abamu baagala nnyo abasajja abakolera mu ofi isi kubanga baba balowooza nti be balina ssente, okugeza omusajja akolera mu katale bw’amukwana, amunyooma ng’alowooza nti talina ssente ate bwe wayita ebbanga ng’omusajja gwe yali ayagala owa ofi isi tamufunye, ng’atandika okwegayirira oli oluusi nga yafuna dda omukazi omulala.

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abantu agamba nti buli bw’otunuulira omusajja oba omukazi, tunuulira busobozi bwe, totunuulira mbeera gy’alimu mu kiseera.

Mukisa ayongerako nti obufumbo bwakwerekereza, okugumiikiriza n’okwagala si bwa kuvuganya oba kweyagaliza kubanga waliwo omusajja nga mwavu naye ng’ebikolwa bye biraga nti alina obusobozi obukugaggawala.

Akubiriza abawala okukomya okunyooma abasajja kubanga gw’ogaanyi okufumbirwa leero, olw’okubanga mwanvu, wayinza okuyitawo ebbanga ttono n’agaggawala kyokka nga ggwe omugagga gwe wali oyagala tonnamufuna.

ENNAKU zino abawala bangi balwawo okufumbirwa abamu ne batuuka ne ku myaka egikuliridde ng’abasajja bababuuze sso ng’oluusi bayinza n’okubeera ne baganzi baabwe ababaagala kyokka bwe kituuka ku ky’okubatwala mu bufumbo ne babakyusiza amaaso. Kyokka bwe wayita ekiseera, abawala bano nga tebafunye basajja be baali baagala, batandika okunoonya abo be baali banyooma olwo nga balaba nti kati babasaana kyokka oluusi nga nabo baafuna dda abaagalwa abalala. EBIREMESA ABAWALA OKUFUMBIRWA OLW’OKUNYOMERERE ABASAJJA 1 Okusuubira ebingi okuva eri omuntu oyo: Abawala abamu baba basuubira okufuna ebintu bingi okuva mu basajja okugeza bw’abeera tavuganga ku mmotoka, aba ayagala omusajja agimugulire n’atasooka kwebuuza nti omusajja gwe njagala afuna ssente mmeka omwezi kati bwa beera tabisobola, omuwala ng’amwegobako kubanga abeera tasobola kwagala musajja atasobola kutuukiriza by’ayagala. 2 Obutatunuulira bya mu maaso: Abawala batunuulira nnyo omuntu mu mbeera ey’obuliwo ne batatunuulira biseera bya mu maaso. Omuwala ayinza okufuna omusajja nga mutetenkanya era ng’ayagala okwezimba naye olw’okuba mu kiseera ekyo aba tannafuna ssente, omuwala n’amunyooma era n’agaana okumufumbirwa. 3 Okweyagaliza: Ebiseera ebisinga abawala babeera beeyagaliza birungi byokka nga ssinga omusajja tatuukana na mutindo, amukwana abeera alaba nga talina gy’amulaza kubanga aba yeeyagaliza musajja nga mugagga, yeevuga ate nga yazimba. Kale ggwe bw’omukwana, nga tobirina akunyooma era tasobola kukufumbirwa n’asigala ku luggya nga bw’alinda oyo omugagga kyokka oluusi natamufuna. 4 Okwegomba: Kino kireetedde abawala bangi okudibira ku mpya kubanga babeera beegomba mikwano gyabwe okugeza singa mukwano gwe alina omusajja nga mugagga naye abeera ayagala kufuna musajja mugagga kale ggwe bw’ojja nga tolina ssente, aba akunyooma ne yeerabira nti n’abali obulungi balina abakazi ababayambye okufuuka ekyo kye bali. 5 Okwetwala nti oli wa bbeeyi: Abawala bangi beetwalira waggulu nti babbeeyi era ng’omusajja okumukwana asooka kumupimaapima kyokka ng’oluusi si wa bbeeyi kati n’ateekawo obukwakkulizo okugeza omusajja bw’ataba na mmotoka tamwagala, bw’abeera takola mu ofi isi tamwagala kati buli musajja n’abeera ng’amutya n’atandika okulirira mu myaka nga talinaayo wadde amugamba. 6 Obwavu bw’omusajja: Abawala abamu batunuulira nnyo abasajja abalinawo ne beerabira nti osobola okukola ng’oli ne munno nammwe ne mwenkana n’oli gw’olaba ng’asinga ku munno.Abamu balina enjogera egamba nti tebaagala basajja ‘batwezimbe’ kubanga babeera batunulira embeera y’omuntu ey’obuliwo sso si ey’ebiseera by’omu maaso. Ekyewuunyisa balemererwa okufuna abagagga be babe baagala ne badibira ku nzigya. 7 Okwagala nnyo ebingi: Abawala bangi balemereddwa okufumbirwa kubanga baba baagala ebintu bingi omusajja by’atasobola okugeza omuwala ayinza okwagala omusajja ng’afuna emitwalo 700,000/- omwezi kyokka ye omuwala abeera asuubira nti omusajja ajja kusasula ewaabwe obukadde 30,000,000/- ekintu omusajja kyatasobola era ekivaamu, omuwala kutandika okumunyooma nga bw’ataasobole kumulabirira ekiva mwekyo ng’omusajja afuna omukyala omulala amutegeera, ggwe ng’akwesonyiwa. 8 Ekikula ky’omusajja: Eno nayo nsonga kubanga omukazi ayinza okubeera ng’ayagala musajja mweru nga muwanvu n’atuuka n’okugamba ayagala kigero ky’Abamerika ne weesanga ng’omusajja abadde amwagala muddugavu ate nga si muwanvu nga bw’ayagala ekimuleetera okumunyooma n’oluusi okumuleka ng’asuubira nti osanga alifuna ow’ekigero kye wabula ate n’atamufuna. 9 Obuyigireze bw’omuntu: Abawala abamu olw’okuba bayivu, balowooza nti omusajja atasomye aba amuswaza mu banne ne kimuleetera okugaana omusajja oluusi eyandimulabiridde ng’amuwa buli ky’ayagala olw’okuba teyasoma. 10 Empisa: Abawala abamu batunulira nnyo enneeyisa y’omuntu ggwe ky’otokola, obeera oyagala omulala akikole okugeza omuwala abeera yeeyisa bubi n’asuubira munne okweyisa obulungi kyokka nga ye takola by’ayagala banne bamukolere. 11 Omulimu: Abawala abamu baagala nnyo abasajja abakolera mu ofi isi kubanga baba balowooza nti be balina ssente, okugeza omusajja akolera mu katale bw’amukwana, amunyooma ng’alowooza nti talina ssente ate bwe wayita ebbanga ng’omusajja gwe yali ayagala owa ofi isi tamufunye, ng’atandika okwegayirira oli oluusi nga yafuna dda omukazi omulala. Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abantu agamba nti buli bw’otunuulira omusajja oba omukazi, tunuulira busobozi bwe, totunuulira mbeera gy’alimu mu kiseera. Mukisa ayongerako nti obufumbo bwakwerekereza, okugumiikiriza n’okwagala si bwa kuvuganya oba kweyagaliza kubanga waliwo omusajja nga mwavu naye ng’ebikolwa bye biraga nti alina obusobozi obukugaggawala. Akubiriza abawala okukomya okunyooma abasajja kubanga gw’ogaanyi okufumbirwa leero, olw’okubanga mwanvu, wayinza okuyitawo ebbanga ttono n’agaggawala kyokka nga ggwe omugagga gwe wali oyagala tonnamufuna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Debby2 220x290

Kasalabecca n'olugambo olwokya...

Debbie Sempaka ayogedde lwaki awoomerwa okukunama

Waka 220x290

Sseguya ne Chameleon batabaganye...

JOSEPHAT Sseguya owa Bukedde adding'anye ne Jose Chameleone abaagugulana bwe baali mu kwanjula kwa Catherine Kusasira...

Lead 220x290

Omulangira Ssuuna akutudde ddiiru...

OLUVANNYUMA lw’ebbanga ng’omuyimbi OS (Omulangira Ssuuna) alwana okudda engulu mu nsiike y’okuyimba omubadde n’okufulumya...

Justice 220x290

Olwazaala omusajja n’andeka mu...

NZE Phiona Kevin Nalubwama 27, ndi munnamawulire omutendeke nga nina abaana babiri.

Uni 220x290

Bagudde ku butambi 16 okuli amaloboozi...

AMAGYE agali mu kufeffetta abawamba n’okutta abawala, gakutte obutambi 16 okuli amaloboozi g’abatemu.