TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyantwalira omukazi ammazeeko emirembe

Eyantwalira omukazi ammazeeko emirembe

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2017

NZE Yeko Balisanyuka, nali mbeera ne mukazi wange naye ng’ebyabasajja bimusingira buli kimu.

Wulira1 703x422

Nateranga okudda awaka nga nva ku mulimu ekiro ne nsanga nga taliwo ate bwe namubuuzanga gy’ava nga tanziramu olwo ne nsirika.

Kino yakikola emirindi mingi era nalaba kinsusseeko kwe kumugamba anviire naye omwana wange amuleke.

Kino teyakiwuliriza n’akwata omwana wange n’amutwala ewa maama we kati mwaka mulamba. Wabula nasigala mutwalira eby’okukozesa n’okutuusa kati.

Natandika okubeera mu bulamu obw’omu wabula ekyanneewunyisa mu wiiki emu, yali afunye omusajja omulala ng’atandise okubeera naye.

Kino saakifaako kuba nali saagala kumanya bimukwatako anti nange nnali njagala kufuna muntu mulala.

Wabula ku kyalo kwe mbeera, n'omukazi ono kw’abeera n’omwami we, tulinako ekkanisa mwe nsabira era bantwala ng’omuntu w’awaka kuba banyambako mu kukula kwange nga nange nakula mmanyi nayo waffe kuba gye nabeeranga era nga gye nsabira.

Lumu mba ηηenze okusaba, omuwala ono n’ajja ne bba gwe yafuna nga bagamba nti bazze kusaba naye wabula ekiruubirirwa kyabwe kyali kya kuncokooza era olwamaliriza okusaba ne nfuluma olwo abaagalana bano ne banvaako emabega ne bajja nga balinga abambuuzaako.

Saabafaako wabula ne baneemerako nga bwe boogera ebigambo ebinsoomooza nga balinga abaagala nnyombe nabo. Nalaba kinsusseeko, kwe kukwata omusajja ne mukuba, ne bantwala mu mbuga z’amateeka.

Bwe nnannyonnyola aba poliisi abantu bano ye baali bankoze, olwo ne balaba nga sirina musango era ne bansumulula. Baagenda mu maaso nga banjogerera n’okunvuma nga baagala nnyiige mbeeko ne kye nkola wabula ne nkuuma obusungu.

Mbadde njagala banneesonyiwe bakomye okuntambulirako nga bannemesa eby’okukola n’okummalako emirembe naddala ku kkanisa kuba nze omukazi sikyamwagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wa 220x290

Muka Kayihura ayogedde ku by’okukwatibwa...

Muka Kayihura ayogedde ku by’okukwatibwa kwa bba

Panda1 220x290

Ochola atandise okubala Abapoliisi...

Ekitongole kya Poliisi ekikwatisa empisa ekya ‘Police Professional Standards Unit’ kitandise okubala n’okuwandiisa...

Dpcwembararajafarimagyezieyakwatiddwaabacmi 220x290

Amagye gakutte DPC w'e Mbarara...

Aduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Mbarara, ASP Jafari Magezi akwatiddwa ab’ekitongole ky’Amagye ekya CMI nga...

Kola 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUBIRI ALIMU BINO...

Mulimu omuserikale eyeesowoddeyo okulumiriza Kayihura ku bya Kaweesi. Muninkini wa Kaweesi gwe baakwata bamutaddeko...

Atuwadde 220x290

Eya basketball erwanira z'Afrika...

ABAZANNYI ba ttiimu y'eggwagga ey'abali wansi w’emyaka 18 mu muzannyo gwa basketball, bataka mu kibuga Dar- Es-...