TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abooluganda lwa baze bankweka amalaalo ge

Abooluganda lwa baze bankweka amalaalo ge

By Musasi wa Bukedde

Added 11th January 2018

OBULWADDE bw’omutwe bwe nnalwala bwaviirako ne baze okumbulako n’andekera abaana wadde nga abooluganda lwe baagamba nti yafa. Nze Oliva Namagembe 35, mbeera Ndejje mu disitulikiti y’e Wakiso.

Yoola 703x422

Nalina omwami wange Munnakenya era twabeeranga Mombasa - Kenya nga namala naye emyaka 10 mwe twazaalira n’abaana babiri.

Bwe twali e Kenya nafuna obulwadde bw’omutwe bwe saamanya gye bwava era nga bwe bunkuba ne mpunga ne nfuna kammunguluze era nga sikyalaba bulungi. Baze yagezaako okujjanjaba wabula n’atuuka ekiseera n’alemererwa.

Yali atandise okukola ebintu ebiraga nti ankooye era nga kirabika afunyeeyo omukazi omulala kale bwatyo n’andagira nkomewo e Uganda nsooke nzijanjabwe era najja n’abaana bange.

Mu Uganda nnamalamu omwaka gumu hhenda okudda e Kenya abooluganda lwa baze ne bantegeeza nga baze bwe yafa wabula baagaana okundaga we baamuziika.

Bano baayagala okunzigya we twabeeranga ne baze bantwale eyo mu bwalo obw’omunda nti gyemba mbeera naye ne hhaana kuba nalaba nga baagala kunsiraanyiza eyo n’abaana bange bwentyo ne nsalawo nkomewo mu Uganda.

Bwe natuuka eno, obulwadde bweyongera ne hhenda mu ddwaaliro e Butabika ne bakikakasa nga bwe nnina obuzibu ku bwongo era kati ndi ku ddagala.

Ndi mweraliikirivu eri abaana bange kuba sisobola kubalabirira naddala omuto eyeetaaga okusoma ate n’omuwala omukulu kati ayolekedde bwamalaaya okulaba nga yeebeezaawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gab1 220x290

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku...

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku lwomukaaga atadde bazadde be ku bunkenke

Man2 220x290

Ebireetera omusajja okusuulawo...

Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

Deb1 220x290

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’...

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’ n’egiremeramu

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina