TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ssenga akuleetedde by'osobola okukola okunyumirwa akaboozi mu bbubumu

Ssenga akuleetedde by'osobola okukola okunyumirwa akaboozi mu bbubumu

By Musasi wa Bukedde

Added 16th January 2018

Ssenga akuleetedde by'osobola okukola okunyumirwa akaboozi mu bbubumu

Yop2 703x422

Okusookera mu kinaabiro nga bano kisobola okubawonya ebbugumu eryandibakosezza.

“BANNANGE lino ebbugumu ly’ennaku zino kye linkola.... nnyumirwa nnyo akaboozi k’emisana era bulijjo ntera okudduka ku mulimu ne nzirayo awaka okufuna ku k’amangu naye kati nakitadde, simanyi mukazi ky’alowooza kuba mbadde nakimumanyiiza….” Eyo y’emboozi y’abaami be nnasanze mu ofi isi emu gye nabadde nkyadde nga banyumyamu.

Kino kitegeeza embeera y’ebbugumu eririwo mu kiseera kino tekosa mwami ono yekka eyabadde anyumiza banne wabula n’abantu abalala bangi. Akaboozi oyinza okukageraageranya ku mirimu emirala gyonna gye tukola. Kino kitegeeza nti keetaagamu amaanyi ag’enjawulo.

Ggwe ate omulimu ogukwetaagisa obukodyo obulimu okwesukunda, okukuyuuya n’okuwanika amagulu, oyinza obutasooka kufuna maanyi gamala ng’oketeekerateekera! Awo nno bwe kiba bwekityo kitegeeza nti toyinza kunyumya kaboozi ne katakukamulamu katuuyo.

Omukugu mu kubudaabuda abantu mu nsonga z’omukwano n’okubangula mu nsonga z’omu kisenge Justine Nantume akunnyonyola engeri gy’osobola okunyumyamu akaboozi mu biseera bino eby’ebbugumu erisusse ne mutafuna buzibu bwa bbugumu kutaataganya ssanyu lyammwe.

Manya nti mu biseera by’ebbugumu munno, mwembi musobola okutuuyana era bwe mutwala akaseera akawera nga mwekeja wayinza okubaawo aggwebwako emirembe nga munne afubutuka entuuyo. Bino bye biyinza okukuyamba okunyumirwa ensiitaano mu biseera by’ebbugumu.

EBISOBOLA OKUKUYAMBA

1 Okusooka okunaabako: Kino kireetera omubiri okukendeeza ku bbugumu ly’obadde nalyo ekitegeeza nti bw’osooka n’onaaba nga temunnaba kwegatta oba togenda kutuuyana mangu kubanga omubiri gubeera gukkakkanye bulungi. Kino mwembi mulina okukikola kubanga ssinga omu tanaaba yajja okuleetera omulala okutuuyana oba omubiri okukambira n’obutawunya bulungi.

 kusookera mu kinaabiro nga bano kisobola okubawonya ebbugumu eryandibakosezza Okusookera mu kinaabiro nga bano kisobola okubawonya ebbugumu eryandibakosezza.

 

Ate ne bwe muba mumaze ensiitaano esooka nga muli baakuddamu kyetaaga okuddamu okunaabako.

2 Sitayiro: Waliwo sitayiro z’okusinda omukwano ezitangira omubiri gw’omwagalwa wo okubeera ennyo ku gwa munne. Wano kitegeeza nti musaanye okwewala okukola sitayiro eziyitibwa mubiri ku mubiri. Mukozese ku sitayiro nga kabuzi oba ey’omukyala okubeera mu mitambo waggulu kubanga teyetaagisa kumalira mubiri gwo gwonna ku gwa munno. Kino era kitwaliramu n’entambuza y’omuzannyo. Mwewale ebintu by’okukozesa amaanyi ng’abali mu kigwo oba ku mpaka. Bw’okozesa amaanyi ag’ekigero kiyamba okwewala omubiri okubugujja.

3 Okwenoonya okusinga okwegatta: Olw’okuba ebbugumu lingi, okwenoonya oba okuteekateeka munno kwe kwandisinze okutwala obudde obungi. Bwe mukola kino kijja kubateeka mu mbeera ey’okutuuka amangu ku ntikko kubanga kijja kuba kibeetagisa akaseera katono nga mwegasse.

Ate nno waliwo abakyala abanyumirwa okubaweeweeta, okubanuuna oba okuzannyisa engalo era abamu kino kibatuusa ku ntikko.

4 Okwewala okukolera akaboozi ku bintu ebireeta ebbugumu. Ekimu ku bintu ebisinga okuleeta amangu ebbugumu gw’emufaliso oba bulangiti. Mu mbeera eno akaboozi k’omu bbugumu kandinyumidde wansi ku kapeti, tayiroozi oba ku sseminti. Bwe buba budde bwa kiro ng’amaka gammwe mwesiga obukuumi bwawo nti tewali ayinza kumala gabagwiikiriza wabweru w’ennyumba nawo wakolera ddala.

Ssinga ennyumba ebeera n’olubalaza olulungi musobola okukolerako akaboozi era ebbugumu teribakosa wadde akatono. Musobola okuteekako ekiwujjo (fan) wabula eno temusaanye kugyetunuzaamu olw’ensonga nti zifuuwa empewooluusi ekosa abantu abamu ne kibatataaganya nga babbinkana.

5 Ekifo: Waliwo ebifo ebitakuuma bbugumu okugeza mu kinaabiro kuba kitera okubeera ekinnyogovu. Kye musaanye okwegendereza kwe kuseerera ku tayiroozi nga mulina kwambala sapatu oba obugatto.

6 Okutambulamu ne muvaako awaka ne mugenda mu kifo ekirala nga ku bbiiki ne muwugamu oba mu wooteeri eziri ku mutindo nga mu bisenge mulimu ebyuma ebifuuwa empewo ennyogoga.

7 Okugogola ekisenga: Mu kiseera ky’ebbugumu nga kino ekisenge kisaana okugogola ne kyeta obutaleeta bbugumu.

OBULABE BW’OYINZA OKUFUNA Dokita Ismail Nkwanga okuva mu ddwaaliro lya Victory e Nateete annyonnyola obulabe bw’ebbugumu eringi mu kikolwa ky’okwegatta. Agamba nti waliwo endwadde ezikwatira mu kuwanyisiganya entuuyo.

Obulwadde obusinga okubeera obw’obulabe mu mbeera eno era omuntu bwe yandisaanye okwerinda ennyo ye Hepatitis B. Buno bukwatira mu kuwaanyisiganya entuuyo oba omusaayi. Ssinga weegatta n’omuntu alina obulwadde buno mu kiseera ky’ebbugumu eringi wadde mukozesezza obupiira kyongera emikisa gyo okukwatibwa obulwadde obwo nga buyita mu ntuuyo.

Oluwumu oba olusolo; Zino endwadde z’olususu zitera okukwata amangu nga mutuuyanye. Waliwo n’endwadde endala nga “Eczema”, Ebola, Marburg nazo ezikwatira mu ntuuyo, okuggyako ng’omuntu gw’ogenda okwegatta naye mu biseera by’ebbugumu eringi omumanyi nnyo bw’ayimiridde mu by’obulamu, tekyandibadde kirungi kumala geegatta mu mbeera gy’olaba nga mujja kutuuyana nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.