TOP

Kw’olabira omuwala omukoowu

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2018

ABASAJJA n'abavubuka be babadde basinga okumanyika okuba abakoowu bwe kituuka ku nsonga z'okuganza abaagalwa. Wabula ennaku zino, kizuuliddwa nti n’abakyala bangi bakoowu era y’emu ku nsonga lwaki tebakyafaayo ku bantu be baganza.

Couplefightinggrckqs 703x422

Ssaalongo Augstine Matovu ow’e Ndejje - Lubugumu ono ng’abudaabuda bafumbo mu nsonga z’omukwano n’amaka agamba nti abakyala abakoowu bangi nnyo ensangi zino era nga bano bali wonna mu Kampala n'ebitundu by'eggwanga eby'enjawulo.

Matovu agamba nti abawala abakoowu ababakwana abasinga babasanga ku mitimbagano gy’ebyempuliziganya omuli Face book, Twitter, Watsapp n’ebirala. Buno bwe bumu ku bubonero kw’olabira abakyala abaakoowa.

1 Abakyala bano ebiseera ebisinga olw’okuba basangibwa ku mitimbagano gya yintaneeti, tebagaba nnamba ya ssimu wabula bakanya kukusindikira bifaananyi byabwe. Kino kibanguyira kuba baba bakimanyi nti omukwano gammwe tebagutwala wala era tojja kubalemerako ng’obakubira essimu buli kiseera nga bakukooye.

2 Bazannyisa abasajja be baba baganzizza naddala bwe kituuka mu nsonga z’okwegatta mu mukwano. Bateeka omusajja mu “muudu” y’okunyuma akaboozi k’ekikulu kyokka n’akuleka ng’oyaayaana. Kino kibanyumira naddala nga bakufudde emboozi nga bali ne bannaabwe.

3 Abakyala bano tebalaga mikwano gyabwe era tolibasisinkana nabo. Kino bakikola okukulemesa okubalondoola ng’oyita mu mikwano gyabwe ssinga baba bakukooye. Abawala bano bbo mu bwongo baba bakimanyi nti tebajja kukubererawo era nga tebalaba nsonga lwaki bakulaga ab'emikwano gyabwe.

4 Baba beeyagaliza bokka era mu ngeri y'emu tosuubira kufuna kintu kyonna kuva gye bali. Ayagala nnyo okumuwa kyokka nga bbo tebalina ke bavaako.

5 Bw’aba akwogerako mu mikwano gye, ajja kukuyita mukwano gwe owa bulijjo, oba ono omusajja gwe mmanyi. Kizibu okukuyita muganzi we kuba tayagala muntu yenna wadde mikwano gye kumanya nti mulina omukwano ogw’enjawulo. Kano ke kamu ku bubonero obukakasiza ddala nti omuntu gw’oli naye mu mukwano mukoowu.

6 Abawala abakoowu tobasuubira kukwesooka kukuweereza bubaka ku ssimu oba whatsApp nga ggwe tonnabaweereza kuba beemanyi era bamanyi n’okwematira. Mu kwemanya kwe balina, tebasobola kutandika mboozi naddala ng’emboozi gye mwasembyeyo okunyumya ku mikutu be baabadde bagikomekkerezza. Naye bw’olemerako ate n’omuweereza obubaka buli kiseera, takuddamu otegeera butegeezi nti bakukooye tebaagala basajja babalemerako.

7 Bw’oganza omuwala omukoowu, mujja kusisinkana omulundi gumu oba ebiri gyokka mu wiiki, egisukka mw’egyo giba mingi ku ye kuba pulogulaamu ze ziba mpaavu ng’alina ab’okusisinkana bangi. Wabula kino kiyinza obutakweraliikiriza kuba ebifo mw’atera okucakalira bye bimu era oba ojja kuddamu okumusangayo.

8 Abakoowu baliwo okulemesa buli mbeera eri oyo abeera abaganzizza n'okubeeyisizaako ng’emisege, kyokka tebafaayo kuddiηηana naawe ssinga mubeera mwawukanye. Abawala bano tebafaayo oba oli wekka oba ne mikwano gyo bbo bakulumba mu buli mbeera muddi- ηηane ate tebasiba busungu ku mutima.

9 Abawala abakoowu bapepeya n'abasajja abalala nga tebafuddeeyo oba w’oli oba toliiwo. Tabafaayo kuba tebalina buggya, mu ngeri y’emu era nabo tebawubira basajja nga babalabye n’abakazi abalala. Abakoowu bano tebalina buzibu kukubuulira basajja balala be bapepeyezza nabo n'okubaganza.

10 Bbo kye basinga okwagala kwe kufi ibwako okuva mu basajja. Tebafaayo oba gwe ogibawadde oba basajja balala bbo kye banoonya ly’essanyu. Baganza abasajja bangi okutuusa bbo lwe beezuulira nti omuwala gwe baliko mukoowu ne bam- Ssaalongo Augstine Matovu. uleka nga nabo bakkirizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...