TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Mukyala wange namukwata ne muliraanwa ne mugoba

Mukyala wange namukwata ne muliraanwa ne mugoba

By Musasi wa Bukedde

Added 19th January 2018

Essanyu lyali lingi mu maka wabula lyali lya kiyita mu luggya kuba embeera za munnange zaatandika okukyuka ne nfuna n’endowooza nti osanga yafunyeyo omusiguze.

Maato 703x422

Matovu

OMUYIMBI Willy Mukaabya yabiraba nti omwenzi omusiru ayenda ku muliraano olw’amaddu amangi.

Kale ddala kiki ekyatwala mukyala wange gwe nnali mpa buli kimu okwagala muliraanwa n’atuuka n’okumugabira ebyalo! N’okutuusa kati ekintu kino kimbobbya omutwe kuba neebuuza ebibuuzo bingi kyokka ng’ebyokuddamu sirina.

Nze Robert Matovu, nnina emyaka 35, nga mbeera Kawotto mu Town Council y’e Kajjansi. Ndi muvuzi wa bodaboda era nga nkola n’ogwa ‘crime preventer’.

Emyaka egiyise, natuuka ekiseera ne njagala okufuna omuntu ow’okubeera naye awaka tutandike okwezimba n’okufuna obuvunaanyizibwa.

Bwentyo nagendako ewa mukulu wange e Munyonyo era engeri mukoddomi wange bwe twali aboomukwano, yalina mwannyina era wano we namwegombera ne ntandika okumwogereza okutuusa lwe yakkiriza ne tutandika okubeera ffena e Kajjansi.

Embeera teyali mbi mu kusooka kuba twali tussa kimu nga nkuyege nga n’omukwano awaka we guli.

Mu myaka esatu gye namala naye, yafuna olubuto n’azaala omwana omuwala.

Essanyu lyali lingi mu maka wabula lyali lya kiyita mu luggya kuba embeera za munnange zaatandika okukyuka ne nfuna n’endowooza nti osanga yafunyeyo omusiguze.

Wabula saamanya nti omusiguze yali muliraanwa bwe twawula embalaza! Nagenda mu maaso n’emirimu gyange wabula nga bwe bagamba nti ennaku ziba 40.

Lumu nakomawo awaka mu budde munnange bw’atasuubira era nasanga taliiwo.

Wabula nagenda okuwulira ng’ekiri ewa muliraanwa kifumba mutuku ηηenda okukonkona nga mukyala wange ali bute yeerigomba ne muliraanwa.

Kino kyankuba wala kuba muliraanwa twali tukola mulimu gwe gumu nga ne siteegi tuli kw’emu wabula nga yazannyira ku mukyala wange bwe twatoba era teyannyega kigambo n’okutuusa kati era nange namwesonyiwa.

Nnali sisobola kusigala na mukyala oyo era wano twayawukana naye nga sikyamuwuliza.

Ekinnuma yagenda n’omwana wange kye manyi omwana ali nga mu myaka kati etaano ng’atuuse n’okusoma.

Omwana wange ayinza n’okuba nga tasoma kuba nnyina tasobola wadde okusasula fi izi kyokka nga kitaawe ndi mulamu.

Wano emmundu nasooka ne ngizza ku ggombololsa eby’abakyala ne nsooka mbiwummula nnoonye ssente nezimbe kuba abakazi babbi nga ne kye baagala tebakimanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata