TOP

Omusajja eyangobya awaka mwevuma

By Musasi wa Bukedde

Added 20th January 2018

NZE Ritah Namutebi 22, mbeera Kawempe. Gye buvuddeko twalabagana n’omusajja e Buikwe gye nnali mbeera ne bazadde bange.

Toola1 703x422

Mu kiseera ekyo nnali mu S2 era namatiza mu buli kimu okukkakkana nga tugudde mu laavu. Yandaga omukwano era nga sirina kye njula.

Okusinziira ku bwe yampisaamu, namanya nti nfunye omuntu omutuufu atandabye nnaku.

Twapepeya ne mwanamulenzi ono okukkakkana ng’amawulire gano gagudde mu matu ga bazadde bange.

Kino kyabanyiiza era ne bantabukira. Okumanya baanyiiga, baatuuka n’okugaana okuddamu okumpeerera ku ssomero nga bagamba nti bakooye okubonoonera ssente zaabwe.

Bino byonna okubaawo, nnali mmalirizza ebibuuzo byange ebya S4 eby’akamalirizo. Bandagira ηηende ew’omusajja ampeerere n’okunyongerayo okusoma.

Omusajja namuyitiramu ku byali bintuseeko wabula olwabitegeera naneefuulira ng’agamba nti ye yali tannatuusa kuzaala mwana wa kuweerera mu ssomero era yali talina ssente yonna gye yali agenda kunkombyaako.

Bazadde bange beeyongera okunteekako akazito ng’awaka sikyakwatagana nabo okugyako okungobaganya n’okunnangira obwenzi kyokka nga n’omusajja anvumaganya yaneefuulira dda.

Nalaba embeera eneemeredde ne nsalawo okuva awaka okutandika obulamu obupya okutuusa bwe nafuna omulimu e Kampala.

Wabula Katonda yankwatirako n’ankolera ekyamagero kuba nafuna omusajja omulala eyanaazaako ennaku gye nalina ku mutima.

Twasiimagana ne tutandika obulamu obw’obufumbo era ebintu bitambula bulungi kuba tubufuniddemu ebirungi bingi omuli okwekulaakulanya n’ezzadde.

Omusajja amanyi omukwano era tanjuza. Musuubiza okwongera okumulaga omukwano omuli n’okumuzaalira abalongo nga Katonda ye mubeezi waffe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Netherlands1 220x290

Budaaki ewadde Uganda obuwumbi...

EGGWANGA lya Budaaki likubye Uganda enkata ya buwumbi bwa ssente bubiri, ziyambe mu kutumbuka eby’obulambuzi mu...

Mus12 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Masasi1 220x290

Bakutte omujaasi ku kutta aba Mobile...

BULIJJO abantu bamulaba n’ekidomola ky’amazzi ekya kyenvu, nga balowooza nti aguliramu mmere ya bisolo.

Top31 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Det1 220x290

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu...

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu ku kyeyo