TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Gwe naggya mu bwamalaaya yali anjagalako ssente

Gwe naggya mu bwamalaaya yali anjagalako ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2018

OMUKYALA gwe naggya mu bwamalaaya ne mufuula omuntu ow’ekitiibwa ne muteeka mu mbeera ez’abantu yali antamizza abakazi era kati ndi ku mukisa gwange ogusembayo, kwono gwe nnafunye.

Wna 703x422

Nze Paul Kavuma ow’e Lungujja mu munisipaali y’e Lubaga. Ku myaka 38 gye nnina, obulamu bwange buvudde wala, era ensonga z’abakazi nzifuniddemu ebizibu bingi.

Nasooka ne mbeera n’omukyala gwe nazaalamu abaana babiri naye nga kavubuka tamuggwamu ng’abuukabuuka buli kaseera ne mwesonyiwa nga ndaba siimusobole.

Nalina mukwano gwange Namutebi, naye ng’omulimu gwe, kuzannya gwa nsimbi ng’akolera Makindye.

Ono nnalowooza nti osanga ennaku gy’alabyeko bwe muggya mu bwamalaaya asobola okutereera n’afumba ssinga afunye w’awummulira.

Namuwasa ne mmulabirira n’adda mu mbeera ez’abantu era n’ewaabwe ne tukyala ne mu bazadde be.

Bwe yazaala omwana asooka, embeera n’entabukako olwo ssente ne zikendeeramu omukyala yasalawo okunzirukako.

Natetenkanya nga bwe nsobola ne nfuna ku ssente embeera n’eddamu okutereera ne mmukomyawo.

Bwe yakomawo, yaddamu okufuna olubuto n’azaala omwana owookubiri. Embeera era yaddamu okunnyigamu ssente ne ziggwawo omukyala n’addamu okudduka n’addayo ewaabwe.

Nnawulira ennaku kuba nnali mmwagala okukamala. Kale ne nsigala mu bulumi nga ne ssente zange aziridde, nfuuse mwavu. Kino yalaba tekimumalidde n’ansuulira abaana ne mbonaabona nabo ate ng’ankalizza.

Nga wayiseewo emyaka, kirabika omutima gw’abaana gwamuluma era mba ndi awo ng’azze n’abatwala era kati bazadde be be babalina.

Natuuka ekiseera ne mpulira nga nkooye abakazi era embeera eno nagimalamu emyaka ena, naye nali ndyawo Katonda n’ansaasira ne nfuna omukyala omulala gwe nnaakamala naye emyezi etaano.

Mu kiseera kino ono omukyala gwe nnina nga ndi ku mukisa gwange ogusembayo bwe birema siddamu kuwasa kubanga eby’abakazi bizibu si buli gw’olaba nti mutuufu era sibuli gw’olaba nti mukyamu naye kansabe Katonda asaasire angumiikirize.

Ekirungi nali nzadde bulungi, omukyala eyasooka yazaala bawala bokka ono gwe nnaggya mu bwamalaaya n’anzaalira balenzi, sikyalina kye njagala ssinga abakyala babeera banneesambye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be